< Makko 14 >
1 Embaga ey’Okuyitako, kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte.
Ἦν δὲ τὸ πάσχα καὶ τὰ ἄζυμα μετὰ δύο ἡμέρας, καὶ ἐζήτουν οἱ ἀρχιερεῖς καὶ οἱ γραμματεῖς πῶς αὐτὸν ἐν δόλῳ κρατήσαντες ἀποκτείνωσιν·
2 Ne bagamba nti, “Si mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”
ἔλεγον γάρ, Μὴ ἐν τῇ ἑορτῇ, μή ποτε ἔσται θόρυβος τοῦ λαοῦ.
3 Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu.
Καὶ ὄντος αὐτοῦ ἐν Βηθανίᾳ ἐν τῇ οἰκίᾳ Σίμωνος τοῦ λεπροῦ, κατακειμένου αὐτοῦ ἦλθεν γυνὴ ἔχουσα ἀλάβαστρον μύρου νάρδου πιστικῆς πολυτελοῦς, καὶ συντρίψασα τὴν ἀλάβαστρον κατέχεεν αὐτοῦ τῆς κεφαλῆς.
4 Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki?
ἦσαν δέ τινες ἀγανακτοῦντες πρὸς ἑαυτοὺς [καὶ λέγοντες], Εἰς τί ἡ ἀπώλεια αὕτη τοῦ μύρου γέγονεν;
5 Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.
ἠδύνατο γὰρ τοῦτο τὸ μύρον, πραθῆναι ἐπάνω δηναρίων τριακοσίων, καὶ δοθῆναι τοῖς πτωχοῖς· καὶ ἐνεβριμῶντο αὐτῇ.
6 Naye Yesu n’abagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi.
ὁ δὲ Ἰησοῦς εἶπεν, Ἄφετε αὐτήν· τί αὐτῇ κόπους παρέχετε; καλὸν ἔργον εἰργάσατο ἐν ἐμοί.
7 Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo.
πάντοτε γὰρ τοὺς πτωχοὺς ἔχετε μεθ᾽ ἑαυτῶν, καὶ ὅταν θέλητε δύνασθε αὐτοῖς εὖ ποιῆσαι, ἐμὲ δὲ οὐ πάντοτε ἔχετε.
8 Akoze ky’asobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta ag’akaloosa nga bukyali, ng’aguteekateeka okuziikibwa.
ὃ ἔσχεν [αὕτη] ἐποίησεν, προέλαβεν μυρίσαι τὸ σῶμά μου εἰς τὸν ἐνταφιασμόν.
9 Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”
ἀμὴν δὲ λέγω ὑμῖν, ὅπου ἂν κηρυχθῇ τὸ εὐαγγέλιον εἰς ὅλον τὸν κόσμον, καὶ ὃ ἐποίησεν αὕτη λαληθήσεται εἰς μνημόσυνον αὐτῆς.
10 Awo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi n’ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu alabe bw’anaalyamu Yesu olukwe amubawe.
Καὶ Ἰούδας Ἰσκαριώτης, ὁ εἷς τῶν δώδεκα, ἀπῆλθεν πρὸς τοὺς ἀρχιερεῖς, ἵνα αὐτὸν παραδοῖ αὐτοῖς.
11 Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.
οἱ δὲ ἀκούσαντες ἐχάρησαν καὶ ἐπηγγείλαντο αὐτῷ ἀργύριον δοῦναι· καὶ ἐζήτει πῶς αὐτὸν εὐκαίρως παραδοῖ.
12 Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”
Καὶ τῇ πρώτῃ ἡμέρᾳ τῶν ἀζύμων, ὅτε τὸ πάσχα ἔθυον, λέγουσιν αὐτῷ οἱ μαθηταὶ αὐτοῦ, Ποῦ θέλεις ἀπελθόντες ἑτοιμάσωμεν ἵνα φάγῃς τὸ πάσχα;
13 N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere.
καὶ ἀποστέλλει δύο τῶν μαθητῶν αὐτοῦ καὶ λέγει αὐτοῖς, Ὑπάγετε εἰς τὴν πόλιν· καὶ ἀπαντήσει ὑμῖν ἄνθρωπος κεράμιον ὕδατος βαστάζων· ἀκολουθήσατε αὐτῷ,
14 Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’
καὶ ὅπου ἂν εἰσέλθῃ, εἴπατε τῷ οἰκοδεσπότῃ ὅτι Ὁ διδάσκαλος λέγει, Ποῦ ἐστιν τὸ κατάλυμά μου, ὅπου τὸ πάσχα μετὰ τῶν μαθητῶν μου φάγω;
15 Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”
καὶ αὐτὸς ὑμῖν δείξει ἀνάγαιον μέγα ἐστρωμένον ἕτοιμον· καὶ ἐκεῖ ἑτοιμάσατε ἡμῖν.
16 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.
καὶ ἐξῆλθον οἱ μαθηταὶ [αὐτοῦ], καὶ ἦλθον εἰς τὴν πόλιν, καὶ εὗρον καθὼς εἶπεν αὐτοῖς, καὶ ἡτοίμασαν τὸ πάσχα.
17 Obudde bwe bwawungeera n’atuuka n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri.
καὶ ὀψίας γενομένης ἔρχεται μετὰ τῶν δώδεκα·
18 Bwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”
καὶ ἀνακειμένων αὐτῶν καὶ ἐσθιόντων εἶπεν ὁ Ἰησοῦς, Ἀμὴν λέγω ὑμῖν, ὅτι εἷς ἐξ ὑμῶν παραδώσει με, ὁ ἐσθίων μετ᾽ ἐμοῦ.
19 Ennaku n’ebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”
οἱ δὲ ἤρξαντο λυπεῖσθαι καὶ λέγειν αὐτῷ εἷς καθ᾽ εἷς, Μή τι ἐγώ;
20 N’abagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi n’ababiri, akoza nange mu kibya.
ὁ δὲ εἶπεν αὐτοῖς, Εἷς [ἐκ] τῶν δώδεκα, ὁ ἐμβαπτόμενος μετ᾽ ἐμοῦ εἰς τὸ τρυβλίον.
21 Omwana w’Omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”
[ὅτι] ὁ μὲν υἱὸς τοῦ ἀνθρώπου ὑπάγει καθὼς γέγραπται περὶ αὐτοῦ· οὐαὶ δὲ τῷ ἀνθρώπῳ ἐκείνῳ, δι᾽ οὗ ὁ υἱὸς τοῦ ἀνθρώπου παραδίδοται· καλὸν [ἦν] αὐτῷ, εἰ οὐκ ἐγεννήθη ὁ ἄνθρωπος ἐκεῖνος.
22 Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”
Καὶ ἐσθιόντων αὐτῶν, λαβὼν [ὁ Ἰησοῦς] ἄρτον εὐλογήσας ἔκλασεν, καὶ ἔδωκεν αὐτοῖς καὶ εἶπεν, Λάβετε· τοῦτό ἐστιν τὸ σῶμά μου.
23 Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.
καὶ λαβὼν ποτήριον εὐχαριστήσας ἔδωκεν αὐτοῖς, καὶ ἔπιον ἐξ αὐτοῦ πάντες·
24 N’abagamba nti, “Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi.
καὶ εἶπεν αὐτοῖς, Τοῦτό ἐστιν τὸ αἷμά μου, τὸ τῆς διαθήκης, τὸ ἐκχυννόμενον ὑπὲρ πολλῶν.
25 Ddala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda.”
ἀμὴν λέγω ὑμῖν ὅτι οὐκέτι οὐ μὴ πίω ἐκ τοῦ γενήματος τῆς ἀμπέλου, ἕως τῆς ἡμέρας ἐκείνης ὅταν αὐτὸ πίνω καινὸν ἐν τῇ βασιλείᾳ τοῦ θεοῦ.
26 Awo ne bayimbayo oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
Καὶ ὑμνήσαντες ἐξῆλθον εἰς τὸ ὄρος τῶν ἐλαιῶν.
27 Yesu n’abagamba nti, “Buli omu ku mmwe ajja kunjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti, “‘Ndikuba omusumba, endiga ne zisaasaana.’
Καὶ λέγει αὐτοῖς ὁ Ἰησοῦς ὅτι Πάντες σκανδαλισθήσεσθε· ὅτι γέγραπται, Πατάξω τὸν ποιμένα, καὶ τὰ πρόβατα διασκορπισθήσονται.
28 Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”
ἀλλὰ μετὰ τὸ ἐγερθῆναί με προάξω ὑμᾶς εἰς τὴν Γαλιλαίαν.
29 Peetero n’amugamba nti, “Abalala bonna ne bwe banaakwabulira, nze siikwabulire!”
ὁ δὲ Πέτρος ἔφη αὐτῷ, Εἰ καὶ πάντες σκανδαλισθήσονται, ἀλλ᾽ οὐκ ἐγώ.
30 Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti ekiro kya leero, enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooneegaana emirundi esatu.”
καὶ λέγει αὐτῷ ὁ Ἰησοῦς, Ἀμὴν λέγω σοι ὅτι σὺ σήμερον ταύτῃ τῇ νυκτί, πρὶν ἢ δὶς ἀλέκτορα φωνῆσαι τρίς με ἀπαρνήσῃ.
31 Peetero n’akiggumiza nnyo ng’agamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abalala bonna ne beerayirira bwe batyo.
ὁ δὲ ἐκπερισσῶς ἐλάλει, Ἐὰν δέῃ με συναποθανεῖν σοι, οὐ μή σε ἀπαρνήσομαι. Ὡσαύτως δὲ καὶ πάντες ἔλεγον.
32 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n’agamba abayigirizwa be nti, “Mugira mutuula wano, ŋŋende nsabe.”
Καὶ ἔρχονται εἰς χωρίον οὗ τὸ ὄνομα Γεθσημανεῖ καὶ λέγει τοῖς μαθηταῖς αὐτοῦ, Καθίσατε ὧδε ἕως προσεύξωμαι.
33 N’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; n’atandika okweraliikirira n’okuteganyizibwa mu mutima.
καὶ παραλαμβάνει τὸν Πέτρον καὶ Ἰάκωβον καὶ Ἰωάννην μετ᾽ αὐτοῦ, καὶ ἤρξατο ἐκθαμβεῖσθαι καὶ ἀδημονεῖν.
34 N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.”
καὶ λέγει αὐτοῖς, Περίλυπός ἐστιν ἡ ψυχή μου ἕως θανάτου· μείνατε ὧδε καὶ γρηγορεῖτε.
35 Ne yeeyongerako mu maaso katono, n’agwa wansi n’asaba obanga kisoboka, essaawa eyo, ereme kutuuka.
καὶ προσελθὼν μικρὸν ἔπεσεν ἐπὶ τῆς γῆς, καὶ προσηύχετο, ἵνα εἰ δυνατόν ἐστιν παρέλθῃ ἀπ᾽ αὐτοῦ ἡ ὥρα·
36 N’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
καὶ ἔλεγεν, Ἀββᾶ, ὁ πατήρ, πάντα δυνατά σοι· παρένεγκε τὸ ποτήριον τοῦτο ἀπ᾽ ἐμοῦ· ἀλλ᾽ οὐ τί ἐγὼ θέλω, ἀλλὰ τί σύ.
37 N’akomawo gye bali, n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Simooni! Weebase? Tosobodde kutunulako nange wadde essaawa emu?
καὶ ἔρχεται καὶ εὑρίσκει αὐτοὺς καθεύδοντας, καὶ λέγει τῷ Πέτρῳ, Σίμων, καθεύδεις; οὐκ ἴσχυσας μίαν ὥραν γρηγορῆσαι;
38 Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”
γρηγορεῖτε καὶ προσεύχεσθε ἵνα μὴ εἰσέλθητε εἰς πειρασμόν. τὸ μὲν πνεῦμα πρόθυμον, ἡ δὲ σὰρξ ἀσθενής.
39 Ate n’abaleka awo n’addayo, n’asaba ebigambo bye bimu na biri bye yasaba olubereberye.
καὶ πάλιν ἀπελθὼν προσηύξατο τὸν αὐτὸν λόγον εἰπών.
40 N’akomawo we bali, n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu.
καὶ ἐλθὼν εὗρεν αὐτοὺς καθεύδοντας· ἦσαν γὰρ οἱ ὀφθαλμοὶ αὐτῶν καταβαρυνόμενοι, καὶ οὐκ ᾔδεισαν τί ἀποκριθῶ σιν αὐτῷ.
41 Bwe yadda gye bali omulundi ogwokusatu n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala. Kinaamala, laba ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi.
Καὶ ἔρχεται τὸ τρίτον καὶ λέγει αὐτοῖς, Καθεύδετε λοιπὸν καὶ ἀναπαύεσθε· ἀπέχει· ἦλθεν ἡ ὥρα· ἰδοὺ παραδίδοται ὁ υἱὸς τοῦ ἀνθρώπου εἰς τὰς χεῖρας τῶν ἁμαρτωλῶν.
42 Musituke! Tugende, laba andyamu olukwe anaatera okutuuka.”
ἐγείρεσθε, ἄγωμεν· ἰδοὺ ὁ παραδιδούς με ἤγγικεν.
43 Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.
Καὶ εὐθύς, ἔτι αὐτοῦ λαλοῦντος παραγίνεται ὁ Ἰούδας [ὁ Ἰσκαριώτης], εἷς τῶν δώδεκα, καὶ μετ᾽ αὐτοῦ ὄχλος μετὰ μαχαιρῶν καὶ ξύλων, παρὰ τῶν ἀρχιερέων καὶ τῶν γραμματέων καὶ τῶν πρεσβυτέρων.
44 Yuda yali abagambye nti, “Gwe nnanywegera, ye wuuyo mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.”
δεδώκει δὲ ὁ παραδιδοὺς αὐτὸν σύσσημον αὐτοῖς λέγων, Ὃν ἂν φιλήσω, αὐτός ἐστιν· κρατήσατε αὐτόν, καὶ ἀπάγετε ἀσφαλῶς.
45 Awo baali baakatuuka Yuda n’alaga eri Yesu, bwe yamutuukako n’agamba nti, “Omuyigiriza!” N’amugwa mu kifuba.
καὶ ἐλθὼν εὐθὺς προσελθὼν αὐτῷ λέγει, Ῥαββί, καὶ κατεφίλησεν αὐτόν.
46 Ne bavumbagira Yesu ne bamukwata, ne bamunyweza.
οἱ δὲ ἐπέβαλον τὰς χεῖρας αὐτῷ καὶ ἐκράτησαν αὐτόν.
47 Naye omu ku baali bayimiridde awo n’asowolayo ekitala n’asalako okutu kw’omuddu wa Kabona Asinga Obukulu.
εἷς δὲ τῶν παρεστηκότων σπασάμενος τὴν μάχαιραν ἔπαισεν τὸν δοῦλον τοῦ ἀρχιερέως καὶ ἀφεῖλεν αὐτοῦ τὸ ὠτάριον.
48 Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki munzijjidde ng’omumenyi w’amateeka, n’ebitala n’emiggo okunkwata?
καὶ ἀποκριθεὶς ὁ Ἰησοῦς εἶπεν αὐτοῖς, Ὡς ἐπὶ λῃστὴν ἐξήλθατε μετὰ μαχαιρῶν καὶ ξύλων συλλαβεῖν με;
49 Mbadde nammwe ennaku nnyingi mu yeekaalu nga njigiriza, naye temwankwata. Naye kino kikoleddwa ebyawandiikibwa bituukirire.”
καθ᾽ ἡμέραν ἤμην πρὸς ὑμᾶς ἐν τῷ ἱερῷ διδάσκων, καὶ οὐκ ἐκρατήσατέ με· ἀλλ᾽ ἵνα πληρωθῶσιν αἱ γραφαί.
50 Bonna ne bamwabulira ne badduka.
καὶ ἀφέντες αὐτὸν ἔφυγον πάντες.
51 Naye waaliwo omulenzi omuvubuka eyali agoberera ng’avaako ennyuma, nga yeebikkiridde olugoye, lumu lwokka, ne baagezaako okumukwata,
καὶ νεανίσκος τις συνηκολούθει αὐτῷ, περιβεβλημένος σινδόνα ἐπὶ γυμνοῦ· καὶ κρατοῦσιν αὐτόν·
52 n’abeesumattulako, ne basigaza olugoye n’adduka bwereere.
ὁ δὲ καταλιπὼν τὴν σινδόνα γυμνὸς ἔφυγεν.
53 Awo Yesu n’atwalibwa eri Kabona Asinga Obukulu, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka.
Καὶ ἀπήγαγον τὸν Ἰησοῦν πρὸς τὸν ἀρχιερέα, καὶ συνέρχονται αὐτῷ πάντες οἱ ἀρχιερεῖς καὶ οἱ πρεσβύτεροι καὶ οἱ γραμματεῖς.
54 Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga, n’ayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, n’atuula ku kyoto n’abaweereza we baali bootera omuliro.
καὶ ὁ Πέτρος ἀπὸ μακρόθεν ἠκολούθησεν αὐτῷ ἕως ἔσω εἰς τὴν αὐλὴν τοῦ ἀρχιερέως, καὶ ἦν συγκαθήμενος μετὰ τῶν ὑπηρετῶν, καὶ θερμαινόμενος πρὸς τὸ φῶς.
55 Bakabona abakulu, n’Abasaddukaayo bonna, baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula.
οἱ δὲ ἀρχιερεῖς καὶ ὅλον τὸ συνέδριον ἐζήτουν κατὰ τοῦ Ἰησοῦ μαρτυρίαν εἰς τὸ θανατῶσαι αὐτόν, καὶ οὐχ ηὕρισκον.
56 Bangi baayogera eby’obulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.
πολλοὶ γὰρ ἐψευδομαρτύρουν κατ᾽ αὐτοῦ, καὶ ἴσαι αἱ μαρτυρίαι οὐκ ἦσαν.
57 Abamu ku bo ne bamuwaayiriza nga bagamba nti,
καί τινες ἀναστάντες ἐψευδομαρτύρουν κατ᾽ αὐτοῦ, λέγοντες
58 “Twamuwulira ng’ayogera nti, ‘Ndizikiriza Yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono gy’abantu, naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu ndizzaawo endala etazimbiddwa na mikono gy’abantu.’”
ὅτι Ἡμεῖς ἠκούσαμεν αὐτοῦ λέγοντος ὅτι Ἐγὼ καταλύσω τὸν ναὸν τοῦτον τὸν χειροποίητον, καὶ διὰ τριῶν ἡμερῶν ἄλλον ἀχειροποίητον οἰκοδομήσω.
59 Naye era n’olwo ebigambo byabwe tebyatereera bulungi.
καὶ οὐδὲ οὕτως ἴση ἦν ἡ μαρτυρία αὐτῶν.
60 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira, n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino bye bakwogerako?”
καὶ ἀναστὰς ὁ ἀρχιερεὺς εἰς μέσον ἐπηρώτησεν τὸν Ἰησοῦν λέγων, Οὐκ ἀποκρίνῃ οὐδέν; τί οὗτοί σου καταμαρτυροῦσιν;
61 Yesu n’atamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu n’amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w’oyo atenderezebwa?”
ὁ δὲ ἐσιώπα, καὶ οὐκ ἀπεκρίνατο οὐδέν. πάλιν ὁ ἀρχιερεὺς ἐπηρώτα αὐτὸν καὶ λέγει αὐτῷ, Σὺ εἶ ὁ χριστὸς ὁ υἱὸς τοῦ εὐλογητοῦ;
62 Yesu n’addamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ng’akomawo mu bire eby’eggulu.”
ὁ δὲ Ἰησοῦς εἶπεν, Ἐγώ εἰμι, καὶ ὄψεσθε τὸν υἱὸν τοῦ ἀνθρώπου ἐκ δεξιῶν καθήμενον τῆς δυνάμεως καὶ ἐρχόμενον μετὰ τῶν νεφελῶν τοῦ οὐρανοῦ.
63 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Ate twetaagira ki abajulizi?
ὁ δὲ ἀρχιερεὺς διαῤῥήξας τοὺς χιτῶνας αὐτοῦ λέγει, Τί ἔτι χρείαν ἔχομεν μαρτύρων;
64 Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?” Bonna ne bamusalira gwa kufa.
ἠκούσατε τῆς βλασφημίας· τί ὑμῖν φαίνεται; οἱ δὲ πάντες κατέκριναν αὐτὸν ἔνοχον εἶναι θανάτου.
65 Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.
καὶ ἤρξαντό τινες ἐμπτύειν αὐτῷ καὶ περικαλύπτειν αὐτοῦ τὸ πρόσωπον, καὶ κολαφίζειν αὐτὸν καὶ λέγειν αὐτῷ, Προφήτευσον· καὶ οἱ ὑπηρέται ῥαπίσμασιν αὐτὸν ἔλαβον.
66 Peetero yali ali wabweru mu luggya, omu ku bawala abaweereza ba Kabona Asinga Obukulu n’ajja.
Καὶ ὄντος τοῦ Πέτρου κάτω ἐν τῇ αὐλῇ, ἔρχεται μία τῶν παιδισκῶν τοῦ ἀρχιερέως,
67 Bwe yalaba Peetero n’amwetegereza ng’ayota omuliro, n’amugamba nti, “Ggwe, wali ne Yesu, Omunnazaaleesi.”
καὶ ἰδοῦσα τὸν Πέτρον θερμαινόμενον, ἐμβλέψασα αὐτῷ λέγει, Καὶ σὺ μετὰ τοῦ Ναζαρηνοῦ ἦσθα τοῦ Ἰησοῦ.
68 Peetero ne yeegaana ng’agamba nti, “Simanyi wadde okutegeera by’oyogerako!” N’afuluma n’alaga ebweru mu kisasi, enkoko n’ekookolima.
ὁ δὲ ἠρνήσατο λέγων, Οὔτε οἶδα, οὔτε ἐπίσταμαι σὺ τί λέγεις. καὶ ἐξῆλθεν ἔξω εἰς τὸ προαύλιον, καὶ ἀλέκτωρ ἐφώνησεν.
69 Omuwala oli n’alengera Peetero, n’ategeeza banne abaali bayimiridde awo nti, “Ono ali omu ku bo.”
Καὶ ἡ παιδίσκη ἰδοῦσα αὐτὸν πάλιν ἤρξατο λέγειν τοῖς παρεστῶσιν ὅτι Οὗτος ἐξ αὐτῶν ἐστιν.
70 Peetero n’ayongera okwegaana. Bwe waayitawo akabanga, abantu abalala abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya!”
ὁ δὲ πάλιν ἠρνεῖτο. καὶ μετὰ μικρὸν πάλιν οἱ παρεστῶτες ἔλεγον τῷ Πέτρῳ, Ἀληθῶς ἐξ αὐτῶν εἶ· καὶ γὰρ Γαλιλαῖος εἶ.
71 Peetero n’atandika, okukolima n’okulayira nga bw’agamba nti, “Omusajja ono gwe mwogerako, simumanyi.”
ὁ δὲ ἤρξατο ἀναθεματίζειν καὶ ὀμνύναι ὅτι Οὐκ οἶδα τὸν ἄνθρωπον τοῦτον ὃν λέγετε.
72 Amangwago enkoko n’ekookolima omulundi ogwokubiri, Peetero n’ajjukira ebigambo Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onoonneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n’atulika n’akaaba amaziga.
καὶ εὐθὺς ἐκ δευτέρου ἀλέκτωρ ἐφώνησεν, καὶ ἀνεμνήσθη ὁ Πέτρος τὸ ῥῆμα ὡς εἶπεν αὐτῷ ὁ Ἰησοῦς ὅτι Πρὶν ἀλέκτορα δὶς φωνῆσαι, τρίς με ἀπαρνήσῃ. καὶ ἐπιβαλὼν ἔκλαιεν.