< Makko 13 >
1 Awo Yesu bwe yali ng’ava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, n’ebizimbe ebyo.”
Lorsqu’il sortait du temple, un de ses disciples lui dit: Maître, voyez quelles pierres et quels bâtiments.
2 Yesu n’amuddamu nti, “Ebizembe ebyo eby’ekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”
Et répondant, Jésus lui dit: Tu vois toutes ces grandes constructions? Il n’y restera pas pierre sur pierre, qui ne soit détruite.
3 Awo Yesu bwe yali ng’atudde awo ku lusozi olwa Zeyituuni, okwolekera yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama, ne bamubuuza nti,
Et comme il était assis sur le mont des Oliviers en face du temple, Pierre, Jacques, Jean et André lui demandaient en particulier:
4 “Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era n’akabonero akalibaawo ng’ebyo byonna bigenda okutuukirira.”
Dites-nous quand ceci arrivera, et quel sera le signe que toutes ces choses commenceront de s’accomplir?
5 Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume omuntu yenna tababuzaabuzanga.
Et répondant, Jésus commença par leur dire: Prenez garde que personne ne vous séduise;
6 Bangi abalijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi.
Car beaucoup viendront en mon nom, disant: C’est moi; et beaucoup seront séduits par eux.
7 Naye bwe muliwulira entalo, n’eŋŋambo ez’entalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka.
Lorsque vous entendrez parler de guerres et de bruits de guerres, ne craignez point; car il faut que ces choses arrivent; mais ce n’est pas encore la fin.
8 Kubanga amawanga galirwanagana, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, n’enjala nnyingi erigwa. Okulumwa ng’okw’okuzaala kuliba kutandika butandisi.”
Car une nation se soulèvera contre une nation, un royaume contre un royaume et il y aura des tremblements de terre en divers lieux, et des famines. C’est là le commencement des douleurs.
9 “Mwekuume mmwe. Balibawaayo mu mbuga z’amateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali.
Prenez-garde aussi à vous-mêmes. Car on vous traduira devant les tribunaux; vous serez battus dans les synagogues, et vous comparaîtrez à cause de moi devant les gouverneurs et les rois, en témoignage contre eux.
10 Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.
Mais il faut d’abord que l’Evangile soit prêché chez toutes les nations.
11 Bwe balibakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu y’aliba ayogerera mu mmwe.”
Lors donc qu’on vous conduira pour vous livrer, ne pensez point d’avance à ce que vous direz, mais ce qui vous sera inspiré à l’heure même, dites-le; car ce n’est pas vous qui parlez, mais l’Esprit-Saint.
12 “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta.
Un frère livrera son frère à la mort, et un père son fils; et des enfants s’élèveront contre leurs parents et ils les feront mourir.
13 Mulikyayibwa abantu bonna, olw’erinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero y’alirokolebwa.”
Et vous serez en haine à tous, à cause de mon nom. Mais celui qui restera ferme jusqu’à la fin, celui-là sera sauvé.
14 “Bwe mulabanga ekintu eky’omuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi.
Or quand vous verrez l’abomination de la désolation là où elle ne doit pas être (que celui qui lit entende): alors que ceux qui sont dans la Judée, fuient vers les montagnes;
15 N’oyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako ky’atwala okuva mu nnyumba ye.
Et que celui qui est sur le toit, ne descende point dans la maison, et n’y entre point pour emporter quelque chose de sa maison;
16 N’oyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe.
Et que celui qui sera dans le champ, ne retourne point sur ses pas pour prendre son vêtement.
17 Naye ziribasanga abaliba embuto n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo.
Mais malheur aux femmes enceintes, et à celles qui nourriront en ces jours-là.
18 Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti.
Priez donc que ces choses n’arrivent point en hiver.
19 Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.
Car ces jours seront des tribulations telles qu’il n’y en a point eu depuis le commencement des créatures que Dieu a faites jusqu’à présent, et qu’il n’y en aura point.
20 “Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olw’abalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako.
Et si le Seigneur n’avait abrégé ces jours, nulle chair n’aurait été sauvée; mais à cause des élus qu’il a choisis, il a abrégé ces jours.
21 Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga.
Et alors si quelqu’un vous dit: Voici le Christ ici, le voilà là, ne le croyez point.
22 Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo, nga bagenderera okulimba n’abalonde ba Katonda.
Car il s’élèvera de faux Christs et de faux prophètes, et ils feront des signes et des prodiges pour séduire, s’il peut se faire, même des élus.
23 Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ng’ebintu bino byonna tebinnabaawo.
Vous donc, prenez garde: voilà que je vous ai tout prédit.
24 “Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko, “‘enjuba eriggyako ekizikiza, era n’omwezi teguliyaka,
Or en ces jours-là, après cette tribulation, le soleil sera couvert de ténèbres, et la lune ne donnera plus sa lumière;
25 era, emmunyeenye zirikunkumuka, n’aboobuyinza ab’omu bbanga balikankana.’”
Et les étoiles du ciel tomberont, et les vertus qui sont dans les cieux seront ébranlées.
26 “Olwo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa kinene,
Alors on verra le Fils de l’homme venant dans les nuées avec une grande puissance et une grande gloire;
27 Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma.”
Alors aussi il enverra ses anges, et il rassemblera ses élus, des quatre vents, de l’extrémité de la terre jusqu’à l’extrémité du ciel.
28 “Muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera, nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka.
Apprenez la parabole prise du figuier. Lorsque ses rameaux sont encore tendres et que ses feuilles viennent de naître, vous connaissez que l’été est proche:
29 Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo nga bibaawo, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi.
De même vous, quand vous verrez ces choses arriver, sachez que le Fils de l’homme est proche, à la porte,
30 Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno tegugenda kuggwaako okutuusa ng’ebintu byonna bimaze okubaawo.
En vérité je vous dis que cette génération ne passera point que toutes ces choses ne s’accomplissent.
31 Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe n’emirembe.”
Le ciel et la terre passeront, mais mes paroles ne passeront point.
32 “Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe.
Mais sur ce jour ou sur cette heure, nul ne sait rien, ni les anges dans le ciel, ni le Fils, mais le Père seulement,
33 Mwekuume, mutunulekubanga temumanyi kiseera we kirituukira.
Tenez-vous sur vos gardes, veillez et priez, puisque vous ne savez quand ce temps viendra.
34 Ng’omusajja eyatambula olugendo n’ategekera abaddu be, buli omu n’amuwa obuyinza ng’omulimu gwe bwe guli, n’alagira omuggazi w’oluggi atunule alindirire.”
Comme un homme qui partant pour un voyage, et laissant sa maison, donne pouvoir à ses serviteurs, à chacun suivant sa fonction, et commande au portier de veiller.
35 “Noolwekyo mubeere beetegefu kubanga temumanyi ssemaka wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ng’enkoko zikookolima, oba ng’obudde bukya,
Veillez donc (car vous ignorez quand viendra le maître de la maison, le soir, ou au milieu de la nuit, ou au chant du coq, ou le matin),
36 si kulwa ng’akomawo nga temumanyiridde, n’abasanga nga mwebase.
De peur que, venant subitement, il ne vous trouve endormis.
37 Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”
Et ce que je vous dis, je le dis à tous: Veillez.