< Makko 10 >
1 Awo n’agolokoka n’ava eyo n’alaga mu kitundu kya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. Ebibiina ne bimuguberera era naye n’abayigiriza nga bwe yakolanga bulijjo.
耶穌從那裏起身,來到猶太境界,約旦河的對岸,群眾又聚集到他那裏,他又照常教訓他們。
2 Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we?”
有些法利賽人前來問耶穌:許不許丈夫休妻﹖意思是要試探他。
3 Yesu n’addamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?”
耶穌回答他們說:「梅瑟吩咐了你們什麼﹖」
4 Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.”
他們說:「梅瑟准許了寫休書休妻。」
5 Yesu n’abagamba nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino.
耶穌對他們說:「這是為了你們的心硬,他才給你們寫下了這條法令。
6 Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi.
但是,從創造之初,天主造了他們一男一女。
7 Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we.
為此,人要離開他的父母,依附自己的妻子,
8 Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu.
二人成為一體,以致他們不再是兩個,而是一體了。
9 Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”
所以,天主所結合的人不可拆散。」
10 Bwe baali mu nnyumba, abayigirizwa be, ne bongera okumubuuza ku nsonga eyo.
回到家裏,門徒又問他這事,
11 Yesu n’abagamba nti, “Omusajja bw’agobanga mukazi we n’awasa omukazi omulala, aba ayenze.
耶穌對他們說:「誰若休自己的妻子而另娶,就是犯姦淫,辜負妻子;
12 N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze.”
若妻子離棄自己的丈夫而另嫁,也是犯姦淫。」
13 Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta.
有人給耶穌領來小孩子,要他撫摸他們;門徒卻斥責他們。
14 Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda.
耶穌見了,就生了氣,對他們說:「讓小孩子到我跟前來,不要阻止他們! 因為天主的國正屬於這樣的人。
15 Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono.”
我實在告訴你們:誰若不像小孩子一接受天主的國,決不能進去。」
16 Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.
耶穌遂抱起他們來,給他們覆手,祝福了他們。
17 Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” (aiōnios )
正在耶穌出來行路時,跑來了一個人,跪在他面,前問他說:「善師,為承受永生,我該做什麼﹖」 (aiōnios )
18 Yesu n’amuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka.
耶穌對他說:「你為什麼稱我善﹖除了天主一個外,沒有誰是善的。
19 Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’”
誡命你都知道:不可殺人,不可姦淫,不可偷盜,不可做假見證,不可欺詐,應孝敬你的父母。」
20 N’amuddamu nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna simenyangako na kimu okuva mu buvubuka bwange.”
他回答耶穌說:「傅! 這一切我從小就遵守了。」
21 Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
耶穌定睛看他,就喜愛他,對他說:「你還缺少一樣:你去,變賣你所有的一切,施捨給窮人,你必有寶藏在天上;然後來,背著十字架,跟隨我!」
22 Bwe yawulira ebigambo ebyo n’anyiikaala, n’agenda ng’anakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.
因了這話,那人就面帶愁容,憂鬱地走了,因為他有許多產業。
23 Yesu n’amutunuulira ng’agenda, n’alyoka akyukira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
耶穌周圍一看,就對自己的門徒說:「那些有錢的人,進天主的國是多麼難啊!」
24 Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
門徒就都驚奇他這句話。耶穌又對他們說:「孩子們! 仗恃錢財的人,進天主的國是多麼難啊!
25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
駱駝穿過針孔, 比富有的人進天主的國還容易。」
26 Ne beewuunya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Olwo kale ani ayinza okulokolebwa!”
他們就更加驚奇,彼此說:「這樣,誰還能得救﹖」
27 Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”
耶穌注視他們說:「在人不可能,在天主卻不然,因為在天主,一切都是可能的。」
28 Awo Peetero n’agamba Yesu nti, “Tweresa byonna ne tukugoberera.”
伯多祿開口對他說:「看,我們捨棄了一切,而跟隨了你。」
29 Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri,
耶穌回答說:「我實在告訴你們:人為了我,為了福音,而捨棄了房屋、或兄弟、或姊妹、或母親、或父親、或兒女、或田地,
30 ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo. (aiōn , aiōnios )
沒有不在今時就百倍的房屋、兄弟、姊妹、母親、兒女、田地──連迫害也在內,並在來世獲得永生的。 (aiōn , aiōnios )
31 Naye bangi aboolubereberye baliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba aboolubereberye.”
但有許多在先的,要成為在後的;在後的,要成為在先的。」
32 Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ng’akulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya n’okweraliikirira. Yesu n’abazza wa bbali, n’abannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi.
那時,他們在路上,要上耶路撒冷去,耶穌在門徒前頭走,他們都驚奇,跟隨的人也都害。耶穌又把那十二人帶到一邊,開始告訴他們那將要臨到他身上的事:「
33 N’ababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Omwana w’Omuntu aliweebwayo, atwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka. Bajja kumusalira omusango ogw’okufa era balimuwaayo eri Abamawanga bamusalire ekibonerezo eky’okufa.
看,我們上耶路撒冷去,人子要被交於司祭長和經師;他們要定他的死罪,把他交給外邦人;
34 Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.”
這些人要戲弄他,唾污他,鞭打,他殺害他;但三天以後,他必要復活。」
35 Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.”
載伯德的兒子雅各伯和若望走到耶穌跟前,對他說:「師傅! 我們願你允許我們的要求!」
36 N’ababuuza nti, “Kiki ekyo?”
耶穌對他們說:「你們願意我給你們做什麼﹖」
37 Ne bamuddamu nti, “Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono?”
他們回答說:「賜我們在你的光榮中,一個坐在你右邊, 一個坐在你左邊。」
38 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe eky’okubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?”
耶穌對他們說:「你們知不知道你們所求的是什麼;你們能飲我的爵嗎﹖或者,你們能受我受的的洗嗎﹖」
39 Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange.
他們對他說:「我們能。」耶穌就對他們說:「我飲的爵,你們必要飲;我受的洗你們必要受;
40 Naye sirina buyinza kubatuuza ku ntebe eziriraanye eyange. Enteekateeka eyo yamala dda okukolebwa.”
但坐在我右邊或左邊,不是我可以給的,而是給誰預備了,就給誰。」
41 Abayigirizwa bali ekkumi bwe baategeera Yakobo ne Yokaana kye baasaba, ne babanyiigira nnyo.
那十個聽了,就開始惱怒雅各伯和若望。
42 Yesu n’abayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga, n’abakulu baabwe bakuluusanya abantu,
耶穌叫門徒過來,對他們說:「你們知道:在外邦人中,有尊為首領的,主宰他們,有大臣管轄他們;
43 naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne.
但你們中間卻不可這樣:誰若願意在你們中間成為大的,就當作你們的僕役;
44 Ne buli ayagala okuba omwami mu mmwe, asaana abeere muddu wa banne bonna.
誰若願意在你們中間為首,就當作眾人的奴僕;
45 N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”
因為人子,不是來受服事,而是來服事人,並交出自己的性命,為大眾作贖價。」
46 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo.
他們來到耶里哥。耶穌和他的門徒及一大群人,從耶里哥出來的時候,有一個瞎眼的乞丐,即提買的兒子巴爾提買坐在路旁。
47 Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
他一聽說是納匝肋人耶穌,就喊叫說:「耶穌,達味之子,可憐我罷!」
48 Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
有許多人就斥責他,叫他要作聲;但他越發喊叫說:「達味之子,可憐我罷!」
49 Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!”
耶穌就站住說:「叫他過來!」人就叫那瞎子,給他說:「放心! 起來! 他叫你呢!」
50 Battimaayo n’asuula eri ekikooti kye, n’asituka mangu n’ajja eri Yesu.
瞎子就扔下自己的外衣,跳起來,走到耶穌跟前。
51 Yesu n’amubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!”
耶穌對他說:「你願意我給你做什麼﹖」瞎子說:「師傅! 叫我看見!」
52 Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.
耶穌對他說:「去罷! 你的信德救了你。」瞎子立刻看了,就在路上跟著耶穌去了。