< Malaki 4 >
1 “Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi.
“For behold, the day comes, burning like a furnace, when all the proud and all who work wickedness will be stubble. The day that comes will burn them up,” says the LORD of Armies, “so that it will leave them neither root nor branch.
2 Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo.
But to you who fear my name shall the sun of righteousness arise with healing in its wings. You will go out and leap like calves of the stall.
3 Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
You shall tread down the wicked; for they will be ashes under the soles of your feet in the day that I make,” says the LORD of Armies.
4 “Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro n’amateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna.
“Remember the law of Moses my servant, which I commanded to him in Horeb for all Israel, even statutes and ordinances.
5 “Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka,
Behold, I will send you Elijah the prophet before the great and terrible day of the LORD comes.
6 era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, n’omutima gw’abaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”
He will turn the hearts of the fathers to the children and the hearts of the children to their fathers, lest I come and strike the earth with a curse.”