< Malaki 1 >

1 Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki abutuuse eri abaana ba Isirayiri.
これマラキに托てイスラエルに臨めるヱホバの言の重負なり
2 “Nabaagala,” bw’ayogera Mukama. “Naye mmwe ne mumbuuza nti, ‘Watwagala otya?’ “Esawu teyali muganda wa Yakobo?” bw’ayogera Mukama: “naye nze Yakobo gwe nayagala.
ヱホバ曰たまふ我汝らを愛したり 然るに汝ら云ふ 汝いかに我儕を愛せしやと ヱホバいふエサウはヤコブの兄に非ずや されど我はヤコブを愛し
3 Esawu namukyawa ne nfuula ensi ye ey’ensozi okuba amatongo, obusika bwe ne mbuwa ebibe eby’omu ddungu.”
エサウを惡めり 且つわれ彼の山を荒し其嗣業を山犬にあたへたり
4 Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, “Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.” Mukama ow’Eggye ayogera nti, “Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu Mukama be yanyiigira ennaku zonna.
エドムは我儕ほろぼされたれども再び荒たる所を建んといふによりて萬軍のヱホバかく曰たまふ 彼等は建ん されど我これを倒さん 人は彼等を惡境とよび又ヱホバの恒に怒りたまふ人民と稱へん
5 Era amaaso gammwe galiraba ne mwogera nti, ‘Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isirayiri.’
汝らこれを目に見て云ん ヱホバはイスラエルの地に大なりと
6 “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange. “Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’
子は其父を敬ひ僕はその主を敬ふ されば我もし父たらば我を敬ふこと安にあるや 我もし主たらば我をおそるること安にあるや なんぢら我が名を藐視る祭司よと萬軍のヱホバいひたまふ 然るに汝曹はいふ我儕何に汝の名を藐視りしやと
7 “Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese. “Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ “Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa.
汝ら汚れたるパンをわが壇の上に獻げしかして言ふ我儕何に爾を汚せしやと 汝曹ヱホバの臺は卑しきなりと云しがゆゑなり
8 Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
汝ら盲目なる者を犠牲に獻ぐるは惡に非ずや 又跛足なるものと病者を獻ぐるは惡に非ずや 今これを汝の方伯に獻げよ されば彼なんぢを悦ぶや 汝を受納るや 萬軍のヱホバこれをいふ
9 “Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo n’omu gw’ayinza okukkiriza?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
請ふ汝ら神に我らをあはれみ給はんことをもとめよ これらは凡て汝らの手になれり 彼なんぢらを納んや 萬軍のヱホバこれを言ふ
10 “Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe.
汝らがわが壇の上にいたづらに火をたくこと無らんために汝らの中一人扉を閉づる者あらまほし われ汝らを悦ばず 又なんぢらの手より獻物を受じと萬軍のヱホバいひ給ふ
11 Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
日の出る處より沒る處までの列國の中に我名は大ならん 又何處にても香と潔き獻物を我名に獻げん そはわが名列國の中に大なるべければなりと萬軍のヱホバいひ給ふ
12 “Naye mmwe bakabona muvumisa erinnya lyange mu baamawanga buli lukya nga mugamba nti kya Mukama okuwaayo emmere etesaana n’ebiweebwayo ku kyoto kyange.
しかるになんぢら之を褻したり そは爾曹はヱホバの臺は汚れたり また其果すなはちその食物は卑しと云ばなり
13 Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
なんぢらは又如何に煩勞しきことにあらずやといひ且これを藐視たり 萬軍のヱホバこれをいふ 又なんぢらは奪ひし物跛足たる者病る者を携へ來れり 汝らかく獻物を携へ來ればわれ之を汝らの手より受べけんや ヱホバこれをいひ給へり
14 “Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye n’awaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “n’erinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.”
群の中に牡あるに誓を立てて疵あるものをヱホバに獻ぐる詐僞者は詛はるべし そは我は大なる王また我名は列國に畏れらるべきなればなり 萬軍のヱホバこれをいふ

< Malaki 1 >