< Lukka 6 >
1 Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’emmere ey’empeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya.
Factum est autem in Sabbato secundo, primo, cum transiret per sata, vellebant discipuli eius spicas, et manducabant confricantes manibus.
2 Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Lwaki mukola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”
Quidam autem Pharisæorum, dicebant illis: Quid facitis quod non licet in Sabbatis?
3 Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola, enjala bwe yamuluma n’abo be yali nabo?
Et respondens Iesus ad eos, dixit: Nec hoc legistis quod fecit David, cum esurisset ipse, et qui cum illo erant?
4 Yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’addira emigaati egy’okulaga, n’atoola n’alyako, n’awaako ne be yali nabo ne balya so ng’ekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.”
Quomodo intravit in domum Dei, et panes propositionis sumpsit, et manducavit, et dedit his, qui cum ipso erant: quos non licet manducare nisi tantum sacerdotibus?
5 N’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ye Mukama wa Ssabbiiti.”
Et dicebat illis: Quia Dominus est Filius hominis, etiam Sabbati.
6 Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze.
Factum est autem in alio Sabbato, ut intraret in synagogam, et doceret. Et erat ibi homo, et manus eius dextra erat arida.
7 Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango.
Observabant autem scribæ, et Pharisæi si in Sabbato curaret: ut invenirent unde accusarent eum.
8 Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” N’asituka n’ayimirira.
Ipse vero sciebat cogitationes eorum: et ait homini, qui habebat manum aridam: Surge, et sta in medium. Et surgens stetit.
9 Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”
Ait autem ad illos Iesus: Interrogo vos si licet Sabbatis benefacere, an male: animam salvam facere, an perdere?
10 N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona.
Et circumspectis omnibus dixit homini: Extende manum tuam. Et extendit: et restituta est manus eius.
11 Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka ne bokka kye banaakola Yesu.
Ipsi autem repleti sunt insipientia, et colloquebantur ad invicem, quidnam facerent Iesu.
12 Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n’alinnya waggulu ku lusozi okusaba, n’asaba ekiro kyonna eri Katonda.
Factum est autem in illis diebus, exiit in montem orare, et erat pernoctans in oratione Dei.
13 Obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be n’abalondako kkumi n’ababiri, n’abafuula abatume. Amannya gaabwe ge gano:
Et cum dies factus esset, vocavit discipulos suos: et elegit duodecim ex ipsis (quos et Apostolos nominavit)
14 Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya, muganda wa Simooni, ne Yakobo, ne Yokaana, ne Firipo, ne Battolomaayo,
Simonem, quem cognominavit Petrum, et Andream fratrem eius, Iacobum, et Ioannem, Philippum, et Bartholomæum,
15 ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni, ow’omu kibiina ky’obufuzi eky’Abazerote,
Matthæum, et Thomam, Iacobum Alphæi, et Simonem, qui vocatur Zelotes,
16 ne Yuda, omwana wa Yakobo, ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.
et Iudam Iacobi, et Iudam Iscariotem, qui fuit proditor.
17 Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, n’ayimirira wansi w’olusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene eky’abayigirizwa be, n’ekibiina kinene eky’abantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi n’ebitundu eby’oku lubalama lw’ennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni,
Et descendens cum illis, stetit in loco campestri, et turba discipulorum eius, et multitudo copiosa plebis ab omni Iudæa, et Ierusalem, et maritima, et Tyri, et Sidonis,
18 ne bajja okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa;
qui venerant ut audirent eum, et sanarentur a languoribus suis. Et qui vexabantur a spiritibus immundis, curabantur.
19 era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.
Et omnis turba quærebat eum tangere: quia virtus de illo exibat, et sanabat omnes.
20 Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti, “Mulina omukisa abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
Et ipse elevatis oculis in discipulis suis, dicebat: Beati pauperes: quia vestrum est regnum Dei.
21 Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa abakaaba kaakano, kubanga muliseka.
Beati, qui nunc esuritis: quia saturabimini. Beati, qui nunc fletis: quia ridebitis.
22 Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma, ne basiiga erinnya lyammwe enziro, olw’Omwana w’Omuntu.”
Beati eritis cum vos oderint homines, et cum separaverint vos, et exprobraverint, et eiicerint nomen vestrum tamquam malum propter Filium hominis.
23 “Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.
Gaudete in illa die, et exultate: ecce enim merces vestra multa est in cælo: secundum hæc enim faciebant Prophetis patres eorum.
24 “Naye zibasanze mmwe abagagga, kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu.
Verumtamen væ vobis divitibus, quia habetis consolationem vestram.
25 Zibasanze mmwe abalya ne mukkuta kaakano, kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano, kubanga mulikungubaga, ne mukaaba.
Væ vobis, qui saturati estis: quia esurietis. Væ vobis, qui ridetis nunc: quia lugebitis et flebitis.
26 Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana, kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.”
Væ cum benedixerint vobis homines: secundum hæc enim faciebant pseudoprophetis patres eorum.
27 “Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, n’ababakyawa mubayisenga bulungi.
Sed vobis dico, qui auditis: Diligite inimicos vestros, benefacite his, qui oderunt vos.
28 Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga.
Benedicite maledicentibus vobis, et orate pro calumniantibus vos.
29 Omuntu bw’akukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga n’akukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bw’akunyagangako ekkooti yo, n’essaati yo ogimulekeranga.
Et qui te percutit in maxillam, præbe et alteram. Et ab eo, qui aufert tibi vestimentum, etiam tunicam noli prohibere.
30 Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza.
Omni autem petenti te, tribue: et qui aufert quæ tua sunt, ne repetas.
31 Kye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga bwe mutyo.”
Et prout vultis ut faciant vobis homines, et vos facite illis similiter.
32 “Bwe munaayagalanga abo ababaagala bokka, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe beeyisa bwe batyo.
Et si diligitis eos, qui vos diligunt, quæ vobis est gratia? Nam et peccatores diligentes se diligunt.
33 Bwe munaayisanga obulungi abo bokka ababayisa obulungi, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe bakola bwe batyo.
Et si benefeceritis his, qui vobis benefaciunt; quæ vobis est gratia? Siquidem et peccatores hoc faciunt.
34 Bwe munaawolanga abo bokka be musuubira okubasasula mmwe, munaagasibwangamu ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bawola bakozi ba bibi bannaabwe, basobole okusasulwa omuwendo gwe gumu.
Et si mutuum dederitis his, a quibus speratis recipere; quæ gratia est vobis? Nam et peccatores peccatoribus fœnerantur, ut recipiant æqualia.
35 Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bw’etyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima n’abakozi b’ebibi.
Verumtamen diligite inimicos vestros: benefacite, et mutuum date, nihil inde sperantes: et erit merces vestra multa, et eritis filii Altissimi, quia ipse benignus est super ingratos et malos.
36 Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa.”
Estote ergo misericordes sicut et Pater vester misericors est.
37 “Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. Temusingisanga musango, nammwe muleme okusingibwa. Musonyiwenga era nammwe mulisonyiyibwa.
Nolite iudicare, et non iudicabimini: nolite condemnare, et non condemnabimini. Dimitte, et dimittemini.
38 Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.”
Date, et dabitur vobis: mensuram bonam, et confertam, et coagitatam, et supereffluentem dabunt in sinum vestrum. Eadem quippe mensura, qua mensi fueritis, remetietur vobis.
39 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Ddala ddala omuzibe w’amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebajja kugwa mu kinnya?
Dicebat autem illis et similitudinem: Numquid potest cæcus cæcum ducere? Nonne ambo in foveam cadunt?
40 Omuyizi tasaana kusinga amuyigiriza, kyokka bw’aba ng’atendekeddwa bulungi, buli muntu aliba ng’omusomesa we.”
Non est discipulus super magistrum: perfectus autem omnis erit, si sit sicut magister eius.
41 “Lwaki otunuulira akasasiro akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otolaba kisiki kiri ku liiso lyo?
Quid autem vides festucam in oculo fratris tui, trabem autem, quæ in oculo tuo est, non consideras?
42 Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Muganda wange, leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ naye nga ekisiki ekiri ku liryo tokiraba? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi olwo oggyeko akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
Aut quomodo potes dicere fratri tuo: Frater sine eiiciam festucam de oculo tuo: ipse in oculo tuo trabem non videns? Hypocrita eiice primum trabem de oculo tuo: et tunc perspicies ut educas festucam de oculo fratris tui.
43 “Omuti omulungi tegubala bibala bibi, so n’omuti omubi tegubala bibala birungi.
Non est enim arbor bona, quæ facit fructus malos: neque arbor mala, faciens fructum bonum.
44 Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Abantu tebanoga ttiini ku busaana so tebanoga mizabbibu ku mweramannyo.
Unaquæque enim arbor de fructu suo cognoscitur. Neque enim de spinis colligunt ficus: neque de rubo vindemiant uvam.
45 Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.”
Bonus homo de bono thesauro cordis sui profert bonum: et malus homo de malo thesauro profert malum. Ex abundantia enim cordis os loquitur.
46 “Lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ so nga bye mbagamba si bye mukola?
Quid autem vocatis me Domine, Domine: et non facitis quæ dico?
47 Buli ajja gye ndi n’awulira ebigambo byange, n’abikola, ka mbalage bw’afaanana.
Omnis, qui venit ad me, et audit sermones meos, et facit eos: ostendam vobis cui similis sit:
48 Afaanana ng’omuntu eyazimba ennyumba, eyasima omusingi wansi ennyo n’atuuka ku lwazi. Amataba bwe gajja, ne gajjuza omugga tegaasobola kunyeenya nnyumba eyo kubanga yazimbibwa bulungi.
similis est homini ædificanti domum, qui fodit in altum, et posuit fundamentum super petram. Inundatione autem facta, illisum est flumen domui illi, et non potuit eam movere: fundata enim erat super petram.
49 Naye omuntu awuliriza ebigambo byange n’atabikola, afaanana n’omusajja eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimye musingi. Omugga bwe gwajjula, ne gwanjaala, ne gukuba ennyumba n’egwa, era n’okugwa kw’ennyumba eyo kwali kunene nnyo.”
Qui autem audit, et non facit: similis est homini ædificanti domum suam super terram sine fundamento: in quam illisus est fluvius, et continuo cecidit: et facta est ruina domus illius magna.