< Lukka 22 >
1 Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali esembedde.
2 Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka baali bakola kaweefube okusala amagezi okutta Yesu, naye nga batya abantu okusasamala.
3 Awo Setaani n’ayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri,
4 n’agenda eri bakabona abakulu n’abakuumi ba Yeekaalu abakulu, n’ateesa nabo nga bw’anaamuwaayo gye bali.
5 Ne basanyuka nnyo, era ne bakkiriza okumusasula.
6 Yuda n’akkiriza okuwaayo Yesu, n’anoonya akakisa konna mw’anaamuweerayo gye bali nga tewali kibiina.
7 Awo olunaku olw’Emigaati Egitazimbulukuswa, okuttirwa omwana gw’endiga ogw’embaga y’Okuyitako, ne lutuuka.
8 Yesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti, “Mugende mututegekere ekyekiro kyaffe eky’okuyitako, tujje tukirye.”
9 Ne bamubuuza nti, “Oyagala tukitegekere wa?”
10 Yesu n’abaddamu nti, “Munaaba mwakayingira mu kibuga, mujja kulaba omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi ng’atambula. Mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw’anaayingira,
11 mugambe nnyinimu nti, ‘Omuyigiriza atutumye gy’oli ng’agamba nti: Ekisenge ky’abagenyi kiruwa mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange?’
12 Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu nga kitegekeddwa bulungi. Omwo mwe muba mutegekera.”
13 Ne balaga mu kibuga, ne basanga buli kimu nga Yesu bwe yabagamba. Ne bateekateeka Okuyitako.
14 Awo ekiseera ky’okulya bwe kyatuuka, Yesu n’atuula n’abayigirizwa be okulya.
15 Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebbanga eryo lyonna mbadde ndowooza nnyo ku Kyekiro kino eky’Okuyitako, nga njagala nkirye nammwe nga sinnaba kubonyaabonyezebwa.
16 Kubanga mbagamba nti sigenda kuddayo kulya nammwe Okuyitako okutuusa lwe kulituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda.”
17 Awo Yesu n’addira ekikompe ky’envinnyo, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agamba nti, “Mukwate, munyweko mwenna.
18 Kubanga mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ng’obwakabaka bwa Katonda buzze.”
19 Ate n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.”
20 Bwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe.
21 Naye muwulire kino. Omuntu agenda okundyamu olukwe atudde wano nange ku mmere.
22 Kigwanira Omwana w’Omuntu, okufa nga Katonda bwe yateekateeka. Naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe.”
23 Awo abayigirizwa ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti ani ku bo ayinza okukola ekintu ng’ekyo!
24 Era ne batandika okuwakana bokka ne bokka, ani asinga ekitiibwa mu bo?
25 Naye Yesu n’abagamba nti, “Bakabaka b’abamawanga bafuga abantu baabwe, n’ab’obuyinza ne babazunza mu kino na kiri, naye abafugibwa tebalina kya kukola wabula okubayita abayambi baabwe.
26 Naye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ng’asembayo, n’omukulembeze mu mmwe asaana abeere ng’omuweereza wammwe.
27 Mu nsi muno omukungu y’atula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe.
28 Naye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino eby’okugezesebwa kwange,
29 era kubanga Kitange ampadde obwakabaka, noolwekyo mbaatulira kati nti mbawadde ekifo
30 okutuula n’okulya era n’okunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.
31 “Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ng’eŋŋaano,
32 naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”
33 Awo Peetero n’addamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era n’okufiira awamu naawe.”
34 Yesu n’amuddamu nti, “Peetero, nkutegeeza nti leero ononneegaana emirundi esatu enkoko nga tennakookolima.”
35 Awo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”
36 Yesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire!
37 Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”
38 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” N’abaddamu nti, “Bimala!”
39 Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye.
40 Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.”
41 Ye n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti,
42 “Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
43 Awo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya.
44 Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.
45 Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte.
46 N’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”
47 Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera.
48 Naye Yesu n’amugamba nti, “Yuda, Omwana w’Omuntu omulyamu olukwe ng’omugwa mu kifuba?”
49 Abayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme n’ebitala byaffe?”
50 Era omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.
51 Naye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!
52 Yesu kwe kukyukira bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba Yeekaalu, n’abakulembeze b’Abayudaaya abaali bakulembedde ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti, “Ndi munyazi, n’okujja ne mujja gye ndi nga mwambalidde ebitala n’emiggo?
53 Lwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”
54 Awo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga.
55 Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro.
56 Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”
57 Peetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi.”
58 Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.”
59 Bwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.”
60 Peetero n’addamu nti, “Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima.
61 Mu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu.”
62 Awo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!
63 Awo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira n’okumukuba.
64 Ne bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?”
65 Ne bamuvuma n’ebigambo ebirala bingi.
66 Enkeera mu makya Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya, ne lutuula. Yesu n’aleetebwa mu maaso g’Olukiiko olwo.
67 Ne bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.” Yesu n’abaddamu nti, “Bwe nnaababuulira temujja kunzikiriza,
68 ne bwe nnaababuuza ebibuuzo temujja kunnyanukula.
69 Naye ekiseera kituuse, Nze, Omwana w’Omuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.”
70 Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti ggwe Mwana wa Katonda?” Yesu n’abaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”
71 Ne bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ng’ebigambo bino biva mu kamwa ke.”