< Lukka 21 >
1 Awo Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu.
Pogleda i vidje kako bogataši bacaju u riznicu svoje darove.
2 N’alaba nnamwandu omwavu ng’awaayo busente bubiri.
A ugleda i neku ubogu udovicu kako baca onamo dva novčića.
3 N’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna.
I reče: “Uistinu, kažem vam: ova je sirota udovica ubacila više od sviju.
4 Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”
Svi su oni zapravo među darove ubacili od svog suviška, a ona je od svoje sirotinje ubacila sav žitak što ga imaše.”
5 Ne wabaawo aboogera ku bulungi bw’amayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu.
I dok su neki razgovarali o Hramu, kako ga resi divno kamenje i zavjetni darovi, reče:
6 Naye Yesu n’agamba nti, “Ekiseera kijja ebirungi bino byonna bye mutunuulira lwe biribetentulwa ne watasigalawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”
“Doći će dani u kojima se od ovoga što motrite neće ostaviti ni kamen na kamenu nerazvaljen.”
7 Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti biri kumpi okubaawo?”
Upitaše ga: “Učitelju, a kada će to biti? I na koji se znak to ima dogoditi?”
8 Yesu n’addamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga.
A on reče: “Pazite, ne dajte se zavesti. Mnogi će doista doći u moje ime i govoriti: 'Ja sam' i: 'Vrijeme se približilo!' Ne idite za njima.
9 Naye bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”
A kad čujete za ratove i pobune, ne prestrašite se. Doista treba da se to prije dogodi, ali to još nije odmah svršetak.”
10 N’ayongera n’abagamba nti, “Amawanga galirwanagana, n’obwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo.
Tada im kaza: “Narod će ustati protiv naroda i kraljevstvo protiv kraljevstva.
11 Wagenda kubeerawo musisi ow’amaanyi ennyo, n’enjala ennyingi mu bitundu eby’enjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo n’ebyentiisa ate n’obubonero okuva mu ggulu.
I bit će velikih potresa i po raznim mjestima gladi i pošasti; bit će strahota i velikih znakova s neba.”
12 “Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lw’erinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera.
“No prije svega toga podignut će na vas ruke i progoniti vas, predavati vas u sinagoge i tamnice. Vući će vas pred kraljeve i upravitelje zbog imena mojega.
13 Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange.
Zadesit će vas to radi svjedočenja.”
14 Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo eby’okuwoza,
“Stoga uzmite k srcu: nemojte unaprijed smišljati obranu!
15 Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu!
Ta ja ću vam dati usta i mudrost kojoj se neće moći suprotstaviti niti oduprijeti nijedan vaš protivnik.
16 Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe.
A predavat će vas čak i vaši roditelji i braća, rođaci i prijatelji. Neke će od vas i ubiti.”
17 Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange.
“Svi će vas zamrziti zbog imena mojega.
18 Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira.
Ali ni vlas vam s glave neće propasti.
19 Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”
Svojom ćete se postojanošću spasiti.”
20 “Bwe mulabanga nga Yerusaalemi kyetooloddwa amaggye, nga mutegeera nga Okuzikirizibwa kw’ekibuga ekyo kutuuse.
“Kad ugledate da vojska opkoljuje Jeruzalem, tada znajte: približilo se njegovo opustošenje.
21 Abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, abaliba mu Yerusaalemi bakivangamu ne badduka, n’abo abalibeera mu nnimiro tebakomangawo mu kibuga.
Koji se tada zateknu u Judeji, neka bježe u gore; a koji u Gradu, neka ga napuste; koji pak po poljima, neka se u nj ne vraćaju
22 Kubanga ebyo bye biriba ebiseera Katonda mwaliwolera eggwanga, n’ebigambo ebiri mu Byawandiikibwa birituukirizibwa.
jer to su dani odmazde, da se ispuni sve što je pisano.”
23 Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto n’abayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, n’abantu baalyo balisunguwalirwa.
“Jao trudnicama i dojiljama u one dane jer bit će jad velik na zemlji i gnjev nad ovim narodom.
24 Abamu balittibwa n’ekitala ky’omulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala ag’oku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe eky’obuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda ky’aliba ateesezza.”
Padat će od oštrice mača, odvodit će ih kao roblje po svim narodima. I Jeruzalem će gaziti pogani sve dok se ne navrše vremena pogana.”
25 “Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula.
“I bit će znaci na suncu, mjesecu i zvijezdama, a na zemlji bezizlazna tjeskoba naroda zbog huke mora i valovlja.
26 Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.
Izdisat će ljudi od straha i iščekivanja onoga što prijeti svijetu. Doista, sile će se nebeske poljuljati.
27 Mu kiseera ekyo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira mu kire n’obuyinza n’ekitiibwa kingi.
Tada će ugledati Sina Čovječjega gdje dolazi u oblaku s velikom moći i slavom.
28 Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”
Kad se sve to stane zbivati, uspravite se i podignite glave jer se približuje vaše otkupljenje.”
29 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini n’emiti emirala gyonna.
I reče im prispodobu: “Pogledajte smokvu i sva stabla.
30 Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya ng’ebiseera eby’ebbugumu bituuse.
Kad već propupaju, i sami vidite i znate: blizu je već ljeto.
31 Mu ngeri y’emu bwe muliraba ebintu nga bibaawo, nga mumanya nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.
Tako i vi kad vidite da se to zbiva, znajte: blizu je kraljevstvo Božje.
32 “Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde.
Zaista, kažem vam, ne, neće uminuti naraštaj ovaj dok se sve ne zbude.
33 Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.
Nebo će i zemlja uminuti, ali moje riječi ne, neće uminuti.”
34 “Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego.
“Pazite na se da vam srca ne otežaju u proždrljivosti, pijanstvu i u životnim brigama te vas iznenada ne zatekne onaj Dan
35 Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna.
jer će kao zamka nadoći na sve žitelje po svoj zemlji.”
36 Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”
“Stoga budni budite i u svako doba molite da uzmognete umaći svemu tomu što se ima zbiti i stati pred Sina Čovječjega.”
37 Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga n’ava mu kibuga n’asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.
Danju je učio u Hramu, a noću bi izlazio i noćio na gori zvanoj Maslinska.
38 Mu makya abantu bonna ne bajjanga mu Yeekaalu okumuwuliriza.
A sav bi narod rano hrlio k njemu u Hram da ga sluša.