< Lukka 18 >

1 Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti,
Сказав же й приповість їм про те, що треба по всяк час молитись, а не внивати,
2 “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna.
глаголючи: Один суддя був у якомусь городі, й Бога ж бояв ся, і чоловіка не соромив ся.
3 Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’
Вдовиця ж була одна у городі тім, і прийшла до него, кажучи: Пометись за мене над противником моїм.
4 “Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa,
І не хотїв довго, потім же каже в собі: Хоч і Бога не боюсь, і чоловіка не соромлюсь,
5 naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’”
то, що докучав менї вдова ся, помщусь за неї, щоб, без перестану ходячи, не докучала менї.
6 Awo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba.
Рече ж Господь: Слухайте, що суддя неправедний каже!
7 Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza?
Бог же чи не помстив ся б за вибраних своїх, що голосять до Него день і ніч, хоч довго терпить про них?
8 Mbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
Глаголю вам, що помстить ся за них незабаром. Тільки ж Син чоловічий прийшовши, чи знайде віру на землї?
9 Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti,
Сказав же й до инших, що вповали на себе, що вони праведні, та гордували другими, приповість сю:
10 “Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo n’omulala nga muwooza.
Два чоловіки ввійшли в церкву помолитись: один Фарисей, а другий митник.
11 Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono.
фарисей, ставши, так у собі молив ся: Боже, дякую Тобі, що я не такий, як инші люде, здирщики, неправедні, перелюбні, або як оцей митник.
12 Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’
Я пощу два рази на тиждень, і даю десятину з усього, що придбаю.
13 “Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’
А митник, оддалеки ставши, не хотів і очей до неба звести, а бив у груди себе, кажучи: Боже, милостивий будь менї грішному.
14 “Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
Глаголю вам: пійшов сей до дому свого оправданий більш, нїж той; бо кожен, хто несеть ся вгору, принизить ся; хто ж принижуєть ся, пійде вгору.
15 Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta.
Приносили ж йому й дїтей, щоб до них приторкнувсь; бачивши ж ученики, заказували їм.
16 Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda.
Ісус же, покликавши їх, рече: Пустіть дїток приходити до мене й не боронїть їм; таких бо царство Боже.
17 Ddala ddala mbagamba nti atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.”
Істино глаголю вам: Хто не прийме царства Божого, як дитина, не ввійде в него.
18 Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” (aiōnios g166)
І питав Його один старшина, кажучи: Учителю благий, що робивши життв вічне насліджу. (aiōnios g166)
19 Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka.
Рече ж йому Ісус: Чого мене звеш благим? нїхто не благий, тільки один Бог.
20 Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’”
Заповіді знаєш: Не чини перелюбу, Не вбивай. Не кради. Не сьвідкуй криво, Поважай батька твого й матїр твою.
21 N’amuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.”
Він же каже: Се все хоронив я з малку мого.
22 Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
Почувши ж се Ісус, рече йому: Ще одного тобі недостає: усе, що маєш, продай та й роздай убогим, і мати меш скарб на небі; та й приходь ійди слїдом за мною.
23 Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo.
Він же, почувши се, став вельми сумний, був бо дуже багатий.
24 Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
Побачивши ж його Ісус, що вельми сумний став, рече: Як тяжко багацтва маючи увійти в царство Боже!
25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
Легше бо верблюдові кріз ушко голки пройти, нїж багатому в царство Боже ввійти.
26 Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”
Казали ж ті, що чули: То хто ж може спастись?
27 Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”
Він же рече: Неможливе у людей - можливе у Бога.
28 Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”
Каже ж Петр: Ось ми покинули все, та й пійшли слїдом за Тобою.
29 Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda,
Він же рече їм: Істино, істино глаголю вам: Що нема нікого, хто покинув господу, або родителїв, або братів, або жінку, або дїти задля царства Божого,
30 atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.” (aiōn g165, aiōnios g166)
та й не приняв багато більше часу сього, а в віку будучому життв вічне. (aiōn g165, aiōnios g166)
31 Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa.
Узявши ж дванайцятьох, рече до них: Оце йдемо в Єрусалим, і станеть ся все, що написано через, пророків, Синові чоловічому.
32 Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu,
Буде бо виданий поганам, і насьміхатимуть ся з Него, й зневажати муть Його, й плювати муть на Него,
33 balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
і бивши убють Його; а третього дня воскресне.
34 Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.
А вони нїчого того не зрозуміли; й було слово се закрите від них, і не розуміли глаголаного.
35 Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza.
Стало ся ж, як наближав ся до Єрихона, один слїпий сидів при дорозї просячи;
36 Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, “Kiki ekyo?”
чувши ж, що народ йде мимо, спитав, що б се було.
37 Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.”
Сказали ж йому, що Ісус Назарянин іде мимо.
38 Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
І покликнув, кажучи: Ісусе, сину Давидів, помилуй мене.
39 Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
А ті, що йшли попереду, сварили на него, щоб мовчав; він же ще більш кричав: Сину Давидів, помилуй мене.
40 Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti,
Ставши ж Ісус, звелїв його привести до себе; як же наближив ся він, спитав його,
41 “Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!”
глаголючи: Що хочеш, щоб вробив тобі? Він же каже: Господи, щоб я прозрів.
42 Yesu n’amugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.”
А Ісус рече йому: Прозри: віра твоя спасла тебе.
43 Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.
І зараз прозрів, та й пійшов слїдом за Ним, прославляючи Бога; і ввесь народ, побачивши се, оддав хвалу Богові.

< Lukka 18 >