< Lukka 14 >
1 Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso.
ある安息日に、食事をしようとして、パリサイ派のある指導者の家にはいられたとき、みんながじっとイエスを見つめていた。
2 Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali.
そこには、イエスの真正面に、水腫をわずらっている人がいた。
3 Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?”
イエスは、律法の専門家、パリサイ人たちに、「安息日に病気を直すことは正しいことですか、それともよくないことですか。」と言われた。
4 Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire.
しかし、彼らは黙っていた。それで、イエスはその人を抱いて直してやり、そしてお帰しになった。
5 N’alyoka abakyukira n’ababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye n’egwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?”
それから、彼らに言われた。「自分の息子や牛が井戸に落ちたのに、安息日だからといって、すぐに引き上げてやらない者があなたがたのうちにいるでしょうか。」
7 Awo Yesu bwe yalaba abagenyi abaayitibwa n’abagerera olugero ng’agamba nti,
招かれた人々が上座を選んでいる様子に気づいておられたイエスは、彼らにたとえを話された。
8 “Bwe bakuyitanga ku mbaga ey’obugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba eky’ekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa,
「婚礼の披露宴に招かれたときには、上座にすわってはいけません。あなたより身分の高い人が、招かれているかもしれないし、
9 eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo w’otudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo w’otudde.’ Noolyoka ositukawo ng’oswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega.
あなたやその人を招いた人が来て、『この人に席を譲ってください。』とあなたに言うなら、そのときあなたは恥をかいて、末席に着かなければならないでしょう。
10 Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo eky’emabega, kale nno eyakuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo eky’omu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa.
招かれるようなことがあって、行ったなら、末席に着きなさい。そうしたら、あなたを招いた人が来て、『どうぞもっと上席にお進みください。』と言うでしょう。そのときは、満座の中で面目を施すことになります。
11 Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
なぜなら、だれでも自分を高くする者は低くされ、自分を低くする者は高くされるからです。」
12 Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula.
また、イエスは、自分を招いてくれた人にも、こう話された。「昼食や夕食のふるまいをするなら、友人、兄弟、親族、近所の金持ちなどを呼んではいけません。でないと、今度は彼らがあなたを招いて、お返しすることになるからです。
13 Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe.
祝宴を催すばあいには、むしろ、貧しい人、不具の人、足なえ、盲人たちを招きなさい。
14 Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.”
その人たちはお返しができないので、あなたは幸いです。義人の復活のときお返しを受けるからです。」
15 Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.”
イエスといっしょに食卓に着いていた客のひとりはこれを聞いて、イエスに、「神の国で食事する人は、何と幸いなことでしょう。」と言った。
16 Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, n’ayita abantu bangi.
するとイエスはこう言われた。 「ある人が盛大な宴会を催し、大ぜいの人を招いた。
17 Bwe yamala okutegeka, n’atuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’
宴会の時刻になったのでしもべをやり、招いておいた人々に、『さあ、おいでください。もうすっかり、用意ができましたから。』と言わせた。
18 “Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’
ところが、みな同じように断わり始めた。最初の人はこう言った。『畑を買ったので、どうしても見に出かけなければなりません。すみませんが、お断わりさせていただきます。』
19 “Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’
もうひとりはこう言った。『五くびきの牛を買ったので、それをためしに行くところです。すみませんが、お断わりさせていただきます。』
20 “Omulala n’agamba nti, ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’
また、別の人はこう言った。『結婚したので、行くことができません。』
21 “Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe.
しもべは帰って、このことを主人に報告した。すると、おこった主人は、そのしもべに言った。『急いで町の大通りや路地に出て行って、貧しい人や、不具の人や、盲人や、足なえをここに連れて来なさい。』
22 “Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’
しもべは言った。『ご主人さま。仰せのとおりにいたしました。でも、まだ席があります。』
23 “N’agamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ez’omu byalo ne mu bukubo obutono okubirize b’onoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule.
主人は言った。『街道や垣根のところに出かけて行って、この家がいっぱいになるように、無理にでも人々を連れて来なさい。
24 Era mbategeeza nti tewali n’omu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’”
言っておくが、あの招待されていた人たちの中で、私の食事を味わう者は、ひとりもいないのです。』」
25 Awo ebibiina by’abantu bangi nnyo bwe baali bagoberera Yesu, n’akyuka n’abagamba nti,
さて、大ぜいの群衆が、イエスといっしょに歩いていたが、イエスは彼らのほうに向いて言われた。
26 “Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange.
「わたしのもとに来て、自分の父、母、妻、子、兄弟、姉妹、そのうえ自分のいのちまでも憎まない者は、わたしの弟子になることができません。
27 Era oyo ateetikka musaalaba gwe n’angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.
自分の十字架を負ってわたしについて来ない者は、わたしの弟子になることはできません。
28 “Singa omu ku mmwe ayagala okuzimba omulungooti, tamala kutuula n’abalirira omuwendo omulimu ogwo gwe gunaatwala, n’alaba obanga ensimbi ezeetaagibwa azirina okugumaliriza?
塔を築こうとするとき、まずすわって、完成に十分な金があるかどうか、その費用を計算しない者が、あなたがたのうちにひとりでもあるでしょうか。
29 Kubanga singa tagumaliriza n’akoma ku musingi gwokka, buli agulaba atandika okumusekerera,
基礎を築いただけで完成できなかったら、見ていた人はみな彼をあざ笑って、
30 nga bw’agamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye n’alemwa okumaliriza!’
『この人は、建て始めはしたものの、完成できなかった。』と言うでしょう。
31 “Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula n’abalirira obanga n’abaserikale omutwalo ogumu b’alina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba n’abaserikale emitwalo ebiri?
また、どんな王でも、ほかの王と戦いを交えようとするときは、二万人を引き連れて向かって来る敵を、一万人で迎え撃つことができるかどうかを、まずすわって、考えずにいられましょうか。
32 Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe.
もし見込みがなければ、敵がまだ遠くに離れている間に、使者を送って講和を求めるでしょう。
33 Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
そういうわけで、あなたがたはだれでも、自分の財産全部を捨てないでは、わたしの弟子になることはできません。
34 “Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo?
ですから、塩は良いものですが、もしその塩が塩けをなくしたら、何によってそれに味をつけるのでしょうか。
35 Guba tegukyalina mugaso n’akamu mu ttaka wadde ne mu bigimusa, noolwekyo gusuulibwa bweru. Alina amatu agawulira awulire.”
土地にも肥やしにも役立たず、外に投げ捨てられてしまいます。聞く耳のある人は聞きなさい。」