< Ebyabaleevi 7 >
1 “‘Bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’omusango; kinaabanga kitukuvu nnyo.
贖罪祭的法律如下:這是至聖之祭。
2 Ekiweebwayo olw’omusango kinattirwanga awo wennyini ekiweebwayo ekyokebwa we kittirwa, era omusaayi gwakyo gunaamansirwanga ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula.
贖過祭犧牲應在宰殺全燔祭犧牲的地方宰殺,血應灑在祭壇的四周。
3 Amasavu gaakyo gonna ganaawebwangayo: omukira ogwa ssava, amasavu agabikka ku byenda,
攜牲所有的一切脂肪都應獻上,即油尾和遮蓋內臟的脂肪,
4 ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo.
兩腎和兩腎上靠腰部的脂肪,以及同兩腎一起取出的肝葉。
5 Kabona anaabyokeranga ku kyoto nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. Ekyo kye kiweebwayo olw’omusango.
司祭應將這一切放在祭壇上焚燒,獻與上主當作火祭:這是贖過祭。
6 Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kyokka kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu. Kiweebwayo kitukuvu nnyo.
至於祭肉,司祭家中,凡是男人都可以吃,應在聖處吃:這是至聖之物。
7 Ebiragiro ebikwata ku kiweebwayo olw’omusango bye bimu n’ebikwata ku kiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaakozesanga ebiweebwayo ebyo olw’okutangiririra, y’anaabitwalanga.
關於贖過祭犧牲,像贖罪祭攜牲有同樣的法律:應全歸舉行贖罪禮的司祭。
8 Kabona anaaweerangayo omuntu yenna ekiweebwayo kye ekyokebwa, y’aneesigalizanga eddiba ly’ekiweebwayo ekyo.
代人奉獻全燔祭的司祭,得享獻作全燔祭犧牲的皮;
9 Era buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaafumbibwanga mu oveni n’ekyo kyonna ekinaateekerwateekerwanga ku fulampeni oba ku lukalango, kabona oyo akiwaddeyo y’anaakitwalanga.
凡在爐裏烤的,或在鍋裏,或在烤盤上預備的素祭祭品,應歸獻此祭的司祭。
10 Era na buli kiweebwayo eky’empeke ekya buli ngeri, nga kitabuddwa mu mafuta ag’omuzeeyituuni oba nga kikalu kyereere, batabani ba Alooni be banaakitwalanga nga bakigabana kyenkanyi buli omu.
一切素祭祭品無論是調油的,或是乾製的,全歸亞郎的子孫彼此平分。司祭對和平祭的權利和義務。
11 “‘Bino by’ebiragiro eby’ekiweebwayo olw’emirembe omuntu ky’anaawangayo eri Mukama.
獻與上主和平祭的法律如下:
12 “‘Bw’anaakiwangayo olw’okwebaza, ekiweebwayo ekyo anaakigattirangako zikkeeke ezitabuliddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni kyokka nga temuli kizimbulukusa, n’obusukuuti obw’oluwewere nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, ne zikkeeke ez’obuwunga obulungi ennyo nga zigoyeddwa bulungi mu mafuta.
若有人為感恩而祭獻,除感恩祭祭品外,還應獻上油調的無酵餅,抹油的無酵薄餅,以及用油和好細麵做成的油餅。
13 Awamu n’ebiweebwayo bye olw’emirembe n’olw’okwebaza, anaaleeterangako emigaati emifumbe n’ekizimbulukusa.
除這些餅以外,還應奉獻發酵的餅作祭品,與感恩的和平祭品一同奉獻。
14 Ku buli kimu ku biweebwayo ebyo anaggyangako omugaati gumu n’aguwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; kabona anaamansiranga omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’emirembe y’anaatwalanga ekiweebwayo ekyo.
由這些祭品中,每樣應取出一份,獻與上主作獻儀:這一份應歸那灑和平祭牲血的司祭。
15 Ennyama y’ebiweebwayo by’omuntu oyo by’aleese olw’emirembe olw’okwebaza eneeriibwanga ku lunaku olwo lwennyini olw’ebiweebwayo bye ebyo; tekubangako gy’asuzaawo.
為感恩所獻的和平祭的祭肉,應在奉獻的當日吃盡;不可留到次日早晨。
16 “‘Naye omuntu bw’anaawangayo ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo, oba olw’okweyagalira, kinaaliibwanga ku lunaku olwo lwennyini lw’akiwaddeyo; ekinaasigalangawo ku kiweebwayo ekyo kinaaliibwanga enkeera.
如所獻的犧牲是還願祭或是自願祭,在奉獻的那天應該吃;如有剩下的,第二天也可吃;
17 Ennyama ey’ekiweebwayo eneefikkangawo n’etuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga mu muliro.
如還有剩下的祭肉,到第三天應用火燒了。
18 Ennyama y’ekiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe bw’eneeriibwanga ku lunaku olwokusatu, ekiweebwayo ekyo Mukama taakikkirizenga, n’oyo akiwaddeyo tekiimubalirwengako kubanga tekiibenga kirongoofu, ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango.
若在第三天還吃和平祭祭肉,祭獻必不被悅納;為奉獻的人,也不算作祭獻,因為肉已不潔;吃的人,必負罪債。
19 “‘Ennyama eneekoonanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teeriibwenga, wabula eneeyokebwanga mu muliro; naye ku nnyama endala omuntu yenna omulongoofu anaayinzanga okulyako.
祭肉若接觸了不潔之物,不許再吃,應用火焚燒;凡潔淨的人可吃祭肉;
20 Naye omuntu atali mulongoofu bw’anaalyanga ku nnyama ey’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, anaaboolebwanga nga takyabalirwa mu bantu be.
但是染有不潔的人,若吃了獻與上主和平祭肉,這人應由民間剷除。
21 Era omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, obanga kivudde mu muntu oba mu nsolo, oba ekintu kyonna ekikyayibwa ekitali kirongoofu, ate n’alya ku nnyama y’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu be.’”
若有人接觸了任何不潔,或不潔的人,或不潔的禽獸,或任何不潔之物,而吃了獻與上主和平祭的祭肉,這人應由民間剷除。」祭牲不可吃的部份。
22 Mukama n’agamba Musa nti,
上主訓示梅瑟說:「
23 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Temulyanga ku masavu ga nte, oba ag’endiga, oba ag’embuzi.
你告訴以色列子民說:凡是牛、綿羊和山羊的脂肪,你們都不可吃。
24 Amasavu g’ensolo efudde obufi yokka, n’amasavu g’eyo etaaguddwataaguddwa ensolo endala munaagakozesanga ku bintu ebirala byonna eby’omugaso, naye tekabatandanga ne mugalyako.
自死或被野獸撕裂的走獸的脂肪,可用作任何用途,但決不可吃。
25 Kubanga buli muntu anaalyanga ku masavu ag’ensolo eneevangako ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro, anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
不論誰,若吃了能獻與上主作火祭的牲畜的脂肪,吃的人應由民間剷除。
26 Era buli kifo kyonna gye munaabeeranga, temuulyenga ku musaayi n’akatono, ne bwe gunaabanga ogw’ebinyonyi oba ogw’ensolo.
在你們任何所居之地,凡是血,不論是鳥血或獸血,決不可吃。
27 Omuntu yenna anaalyanga ku musaayi, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu be.’”
不論誰,若吃了什麼血,這人應由民間剷除。」司祭對和平祭的權利。
28 Mukama n’agamba Musa nti,
上主訓示梅瑟說:
29 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omuntu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’emirembe eri Mukama, anaawangayo eri Mukama Katonda ekitundu kyakyo.
「你告訴以色列子民說:凡向上主奉獻和平祭祭品的,應由和平祭祭品取出一部份,作為獻於上主的供物。
30 Anaakisitulanga n’engalo ze n’akireeta eri Mukama Katonda nga kye kiweebwayo kye ekyokeddwa mu muliro. Amasavu n’ekifuba nabyo anaabireetanga, n’awuubawuuba ekifuba mu maaso ga Mukama, ng’ekyo kye kiweebwayo ekiwuubibwa.
親手帶來獻與上主的火祭,即帶來脂肪和胸脯;胸脯應在上主前行奉獻的搖禮。
31 Amasavu kabona anaagokyanga ku kyoto, naye ekifuba kinaabanga kya Alooni ne batabani be.
司祭將脂肪放在祭壇上焚燒,胸脯歸於亞郎和他的兒子。
32 Ekisambi ekya ddyo kinaawebwanga kabona nga gwe mugabo gwe oguvudde ku kiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe.
和平祭犧牲後右腿,你們應送給司祭作獻儀。
33 Mutabani wa Alooni anaabanga awaddeyo omusaayi n’amasavu eby’ekiweebwayo olw’emirembe, y’anaafunanga ekisambi ekya ddyo nga gwe mugabo gwe.
亞郎子孫中誰奉獻了和平祭犧牲的血和脂肪,右後腿應歸於他,是他的一分。
34 Ku kiweebwayo olw’emirembe eky’abaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.”
因為我由以色列子民所獻的和平祭中,取出當搖獻的胸脯和當舉獻的右後腿,給了亞郎司祭和他的兒子,作為他們在以色列子民中永享的權利。」
35 Guno gwe mugabo nga guva ku biweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ogwagerekerwa Alooni ne batabani be ku lunaku lwe baaleetebwa eri Mukama okumuweereza nga bakabona be.
這是亞郎和他的兒子,在受命為上主盡司祭職的那一天,因受傅由獻與上主火祭應得的一分;
36 Ku lunaku lwe baafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni, Mukama Katonda yalagira nti abaana ba Isirayiri babibawenga okubeeranga omugabo gwabwe, ogw’enkalakkalira emirembe gyonna.
是上主在他們受傅的那一天,吩附以色列子民應交給他們的一分:這是他們世世代代永享的權利。
37 Eryo lye tteeka n’ebiragiro ebifuga ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, n’ebiweebwayo olw’okwawulibwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe,
以上是關於全燔祭、素祭、贖罪祭、贖過祭、祝聖祭及和平祭的法律。
38 Mukama Katonda bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yalagirirako abaana ba Isirayiri okuleeta ebiweebwayo byabwe eri Mukama Katonda, mu ddungu lya Sinaayi.
這些法律是上主在他命令以色列子民,於西乃曠野給上主奉獻祭品的那天,在西乃山上向梅瑟所吩附的。