< Ebyabaleevi 5 >

1 “‘Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.
Si un homme a péché en ce qu’il a entendu la parole de quelqu’un qui jurait, et qu’il soit témoin pour avoir vu ou su la chose, à moins qu’il ne la dénonce, il portera son iniquité.
2 “‘Omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gw’ensolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gw’ente etali nnongoofu, oba ku mirambo gy’ebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bw’anaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango.
Un homme qui a touché quelque chose d’impur, soit un animal tué par une bête sauvage, ou mort de soi-même, soit tout reptile quelconque, et qui a oublié son impureté, est coupable, et il a failli;
3 Oba bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango.
Et s’il a touché quelque chose d’impur d’un homme, selon toute impureté dont il a coutume d’être souillé, et que l’ayant oublié, il le reconnaisse ensuite, il sera coupable de délit.
4 Omuntu bw’anaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ng’amaze galayira nga tafuddeeyo, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gy’anaabanga alayiddemu.
Un homme qui a juré et prononcé par ses lèvres qu’il ferait ou mal ou bien, et qui a confirmé cette même chose par serment et par sa parole; puis, qui l’ayant oublié, reconnaît ensuite son délit,
5 Omuntu bw’anazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo ky’anaabanga akoze,
Qu’il fasse pénitence pour son péché,
6 era n’aleeta ekiweebwayo kye olw’omusango eri Mukama olw’ekibi ekyo. Anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi enkazi ng’abiggya mu kisibo kye, nga kye kiweebwayo olw’ekibi; era kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye.
Et qu’il offre d’entre les troupeaux une jeune brebis, ou une chèvre; et le prêtre priera pour lui et pour son péché;
7 “‘Omuntu bw’anaabanga omwavu, nga tasobola kuleeta ndiga nto olw’obwavu bwe, anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri eri Mukama, olw’ekibi omuntu oyo ky’akoze, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi, ekimu nga kye ky’ekiweebwayo olw’ekibi ekirala nga kye ky’ekiweebwayo ekyokebwa.
Mais s’il ne peut offrir une brebis ou une chèvre, qu’il offre deux tourterelles ou deux petits de colombe au Seigneur, l’un pour le péché et l’autre en holocauste;
8 Anaabireeteranga kabona, n’asooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaanyoolanga ensingo y’ekiweebwayo, naye nga tagikutuddeeko;
Et il les donnera au prêtre, qui offrant le premier pour le péché, lui tournera la tête du côté des ailes, en sorte qu’elle reste attachée au cou et qu’elle n’en soit pas entièrement arrachée.
9 anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi.
Il aspergera ensuite avec son sang la paroi de l’autel; mais tout ce qui sera de reste, il le fera distiller au pied de l’autel, parce que c’est pour le péché.
10 Kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokubiri nga kye kiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera ebiragiro nga bwe bigamba. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye ky’anaabanga akoze, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
Quant à l’autre, il le brûlera en holocauste, comme cela à coutume de se faire; et le prêtre priera pour cet homme et pour son péché, et il lui sera pardonné.
11 “‘Omuntu oyo omwavu bw’anaabanga tasobola kuleeta bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri, anaaleetanga ekiweebwayo olw’ekibi kye, kimu kya kkumi ekya efa eky’obuwunga obulungi okuba ekiweebwayo kye olw’okwonoona. Taabuteekengamu mafuta wadde obubaane, kubanga kiweebwayo olw’ekibi.
Que si sa main ne peut offrir deux tourterelles ou deux petits de colombe, il offrira pour son péché la dixième partie d’un éphi de fleur de farine; il n’y mêlera point d’huile, et n’y mettra pas un seul grain d’encens, parce que c’est pour le péché;
12 Anaakireeteranga kabona, era kabona anaatoolangako olubatu, nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokera ku kyoto, ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Kino nga kye kiweebwayo olw’ekibi.
Et il la remettra au prêtre, qui en prenant une pleine poignée la brûlera sur l’autel en mémoire de celui qui l’aura offerte,
13 Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi ky’anaabanga akoze mu bintu ebyo byonna, era anaasonyiyibwanga. Ebyo byonna ebinaasigalangawo ku kiweebwayo kino binaabanga bya kabona, nga bwe kiri mu biragiro by’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke.’”
Priant pour lui et faisant des expiations; mais le reste, il l’aura comme un don.
14 Mukama n’agamba Musa nti,
Le Seigneur parla encore à Moïse, disant:
15 “Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango.
Si un homme manquant aux cérémonies, a péché par erreur dans des choses qui sont consacrées au Seigneur, il offrira pour son délit un bélier sans tache pris d’entre les troupeaux, qui peut être acheté deux sicles, selon le poids du sanctuaire;
16 Era anaaliwanga olw’ekyo kye yazzaako omusango mu bitukuvu bya Mukama, era anaayongerangako ekitundu kimu ekyokutaano eky’omuwendo gw’ekyo ky’anabanga asobezza; engassi eyo anaagiwanga kabona. Kabona anaatangiririranga omuntu oyo n’endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, bw’atyo anaasonyiyibwanga.
Et quant au dommage même qu’il a fait, il le restituera, et il y ajoutera par-dessus la cinquième partie, la remettra au prêtre, qui priera pour lui, en offrant le bélier, et il lui sera pardonné.
17 “Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango.
Si un homme a péché par ignorance, et qu’il ait fait une des choses qui sont défendues par la loi du Seigneur, et que coupable de péché, il ait reconnu son iniquité,
18 Anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. Kabona anaamutangiririranga olw’ekisobyo ky’anaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga.
Il offrira au prêtre un bélier sans tache pris d’entre les troupeaux, selon la mesure et l’estimation du péché: le prêtre priera pour lui parce qu’il l’a fait sans le savoir; et il lui sera pardonné,
19 Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango, kubanga anaabanga ayonoonye mu maaso ga Mukama.”
Parce que c’est par erreur qu’il a failli contre le Seigneur.

< Ebyabaleevi 5 >