< Ebyabaleevi 23 >

1 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
耶和华对摩西说:
2 “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Zino ze mbaga zange ze nnonze, nga ze mbaga za Mukama Katonda ezirondeddwa ze munaakubirangako enkuŋŋaana entukuvu.
“你晓谕以色列人说:耶和华的节期,你们要宣告为圣会的节期。
3 “Mu nnaku omukaaga munaakolerangamu emirimu gyammwe, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula; lunaabeeranga olunaku olw’okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu n’akatono yonna gye munaabeeranga, kubanga ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda.
六日要做工,第七日是圣安息日,当有圣会;你们什么工都不可做。这是在你们一切的住处向耶和华守的安息日。
4 “Zino ze mbaga Mukama Katonda ze yeerondera okunaakubirwanga enkuŋŋaana entukuvu ze munaalangiriranga mu ntuuko zaazo:
耶和华的节期,就是你们到了日期要宣告为圣会的,乃是这些。”
5 Embaga ya Mukama Katonda ey’Okuyitako eneetandikanga ng’obudde buwungeera ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye.
“正月十四日,黄昏的时候,是耶和华的逾越节。
6 Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo, Embaga ya Mukama Katonda ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse kw’eneetandikiranga; munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egifumbiddwa nga temuli kizimbulukusa.
这月十五日是向耶和华守的无酵节;你们要吃无酵饼七日。
7 Ku lunaku olusooka olw’embaga eyo ey’Okuyitako munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.
第一日当有圣会,什么劳碌的工都不可做;
8 Munaamalanga ennaku musanvu nga buli lunaku muleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.”
要将火祭献给耶和华七日。第七日是圣会,什么劳碌的工都不可做。”
9 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
耶和华对摩西说:
10 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Bwe mutuukanga mu nsi gye nzija okubawa ne mukungula ebibala byamu, muleetanga eri kabona ekinywa eky’ebibala byammwe eby’olubereberye;
“你晓谕以色列人说:你们到了我赐给你们的地,收割庄稼的时候,要将初熟的庄稼一捆带给祭司。
11 naye anaawuubawuubanga ekinywa ekyo awali Mukama Katonda kiryoke kikkirizibwe ku lwammwe. Kabona anaakiwuubawuubanga ku lunaku oluddirira Ssabbiiti.
他要把这一捆在耶和华面前摇一摇,使你们得蒙悦纳。祭司要在安息日的次日把这捆摇一摇。
12 Ku lunaku olwo lwe munaawuubirawuubirangako ekinywa, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda eky’omwana gw’endiga omulume, ogwakamala omwaka gumu ogw’obukulu era nga teguliiko kamogo.
摇这捆的日子,你们要把一岁、没有残疾的公绵羊羔献给耶和华为燔祭。
13 N’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako kinaabanga kigero kya desimoolo bbiri eza efa, eky’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni, nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama, ne muvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga ekitundu kimu kya kuna ekya lita emu ey’envinnyo.
同献的素祭,就是调油的细面伊法十分之二,作为馨香的火祭,献给耶和华。同献的奠祭,要酒一欣四分之一。
14 Era temuulyenga ku mugaati n’akatono oba ku mmere ey’empeke ensiike oba eyaakakungulwa, okutuusa ku lunaku olwo lwennyini lwe munaaleeterangako ekiweebwayo kino eri Katonda wammwe. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ery’emirembe gyonna egigenda okujja, mu bifo byonna gye munaabeeranga.
无论是饼,是烘的子粒,是新穗子,你们都不可吃,直等到把你们献给 神的供物带来的那一天才可以吃。这在你们一切的住处作为世世代代永远的定例。”
15 “Okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, nga lwe lunaku kwe mwaleetera ekiweebwayo eky’ekinywa ekiwuubibwawuubibwa mubalanga ewiiki enzijuvu musanvu.
“你们要从安息日的次日,献禾捆为摇祭的那日算起,要满了七个安息日。
16 Munaabalanga ennaku amakumi ataano okutuuka ku Ssabbiiti ey’omusanvu, ne mulyoka muwaayo eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke empya eyaakakungulwa.
到第七个安息日的次日,共计五十天,又要将新素祭献给耶和华。
17 Nga muva mu buli kitundu gye mubeera, munaaleetanga emigaati, ebiri ebiri nga gikoleddwa mu kigero ekya desimoolo bbiri eza efa ez’obuwunga obulungi, nga bufumbiddwa n’ekizimbulukusa; nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa eky’ebibala ebibereberye.
要从你们的住处取出细面伊法十分之二,加酵,烤成两个摇祭的饼,当作初熟之物献给耶和华。
18 Era awamu n’emigaati egyo munaaleeterangako abaana b’endiga musanvu ab’omwaka gumu abataliiko kamogo; munaaleetanga n’ente eya seddume ento emu, n’endiga ennume ento bbiri. Binaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa; nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, ne muvaamu evvumbe erisanyusa Mukama.
又要将一岁、没有残疾的羊羔七只、公牛犊一只、公绵羊两只,和饼一同奉上。这些与同献的素祭和奠祭要作为燔祭献给耶和华,就是作馨香的火祭献给耶和华。
19 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, era n’endiga ento ennume ez’omwaka ogumu bbiri nga kye kiweebwayo olw’emirembe.
你们要献一只公山羊为赎罪祭,两只一岁的公绵羊羔为平安祭。
20 Kabona anaawubawuubanga ebiweebwayo ebyo awamu n’emigaati egikoleddwa mu bibala ebibereberye n’endiga zombi ento, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. Kinaabanga kiweebwayo eri Mukama Katonda ekitukuvu, era kabona y’anaakitwalanga.
祭司要把这些和初熟麦子做的饼一同作摇祭,在耶和华面前摇一摇;这是献与耶和华为圣物归给祭司的。
21 Ku lunaku olwo onoolangiriranga olukuŋŋaana olutukuvu; era temujjanga kukolerako mirimu gyammwe egya bulijjo. Eryo linaabeeranga etteeka ery’emirembe gyonna mu mmwe buli yonna gye munaabeeranga.
当这日,你们要宣告圣会;什么劳碌的工都不可做。这在你们一切的住处作为世世代代永远的定例。
22 “Bwe munaakungulanga emmere mu ttaka lyammwe temugimalirangamu ddala okutuuka ku mbibiro z’ennimiro yammwe, wadde okukuŋŋaanyanga eneebanga ekunkumuse wansi nga mumaze okukungula. Eyo mugirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.”
“在你们的地收割庄稼,不可割尽田角,也不可拾取所遗落的;要留给穷人和寄居的。我是耶和华—你们的 神。”
23 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
耶和华对摩西说:
24 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti olunaku olw’olubereberye mu mwezi ogw’omusanvu lunaabanga lwa kuwummula, munaakwatirangako olukuŋŋaana olutukuvu olunaalangirirwanga n’okufuuwa amakondeere ag’omwanguka.
“你晓谕以色列人说:七月初一,你们要守为圣安息日,要吹角作纪念,当有圣会。
25 Temukolerangako mirimu gyonna egya bulijjo, naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.”
什么劳碌的工都不可做;要将火祭献给耶和华。”
26 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
耶和华晓谕摩西说:
27 “Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lwe lunaabanga Olunaku olw’Okutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.
“七月初十是赎罪日;你们要守为圣会,并要刻苦己心,也要将火祭献给耶和华。
28 Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olw’Okutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda wammwe.
当这日,什么工都不可做;因为是赎罪日,要在耶和华—你们的 神面前赎罪。
29 Omuntu yenna anaagaananga okwefiiriza ku lunaku olwo kinaamugwaniranga okuwaŋŋangusibwa n’aggyibwa mu banne.
当这日,凡不刻苦己心的,必从民中剪除。
30 Era buli muntu anaakolanga omulimu ku lunaku olwo ndimuggya mu banne ne mmuzikiriza.
凡这日做什么工的,我必将他从民中除灭。
31 Temulukolerangako mulimu n’akatono. Eryo linaabeeranga etteeka ery’enkalakkalira, ery’emirembe gyonna egigenda okujja mu bifo byonna gye munaabeeranga.
你们什么工都不可做。这在你们一切的住处作为世世代代永远的定例。
32 Lunaabeeranga lwa Ssabbiiti na kuwummulirako gye muli, era muneefiirizanga. Munaakuumanga Ssabbiiti yammwe okuva ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi akawungeezi okutuusa ku kawungeezi akaddirira.”
你们要守这日为圣安息日,并要刻苦己心。从这月初九日晚上到次日晚上,要守为安息日。”
33 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
耶和华对摩西说:
34 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano Embaga ya Mukama ey’Ensiisira kw’eneetandikiranga, era eneemalanga ennaku musanvu.
“你晓谕以色列人说:这七月十五日是住棚节,要在耶和华面前守这节七日。
35 Ku lunaku olw’olubereberye munaakubirangako olukuŋŋaana olutukuvu; temuulukolerengako mirimu egya bulijjo.
第一日当有圣会,什么劳碌的工都不可做。
36 Munaaleetanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokye mu muliro okumalira ddala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu ne muwaayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo ekyokye n’omuliro. Olwo lwe lukuŋŋaana olukulu oluggalawo, temulukolerangako mirimu egya bulijjo.
七日内要将火祭献给耶和华。第八日当守圣会,要将火祭献给耶和华。这是严肃会,什么劳碌的工都不可做。
37 “Ezo ze mbaga Mukama ze yalagira, ze munaalangiriranga nti mbaga ntukuvu okunaaleeterwanga ebiweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ebiweebwayo ebyokye, ebiweebwayo eby’empeke, ssaddaaka n’ebiweebwayo ebinywebwa ebineetaagibwanga buli lunaku.
“这是耶和华的节期,就是你们要宣告为圣会的节期;要将火祭、燔祭、素祭、祭物,并奠祭,各归各日,献给耶和华。
38 Ebiweebwayo bino byeyongera ku biri eby’oku Ssabbiiti za Mukama Katonda, era ne byeyongera ku birabo byammwe ne ku ebyo byonna bye munaabanga mweyamye, ne ku biweebwayo ebirala byonna bye munaabanga muleetedde Mukama Katonda nga mweyagalidde.
这是在耶和华的安息日以外,又在你们的供物和所许的愿,并甘心献给耶和华的以外。
39 “Kale nno okutandikira ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu, nga mumaze okukungula n’okuyingiza ebibala ebivudde mu ttaka lyammwe, munaakoleranga Mukama Katonda ekijaguzo okumala ennaku musanvu; olunaku olw’olubereberye lunaabanga lwa kuwummula era n’olunaku olw’omunaana nalwo nga lwa kuwummula.
“你们收藏了地的出产,就从七月十五日起,要守耶和华的节七日。第一日为圣安息;第八日也为圣安息。
40 Ku lunaku olw’olubereberye munaanoganga ku miti ebibala ebisingira ddala obulungi ne muddira n’amatabi g’enkindu, n’amatabi ag’emiti agaziyidde n’ebikoola ebigimu, n’emiti egy’oku migga, ne mulyoka musanyukira awali Mukama Katonda wammwe okumala ennaku musanvu.
第一日要拿美好树上的果子和棕树上的枝子,与茂密树的枝条并河旁的柳枝,在耶和华—你们的 神面前欢乐七日。
41 Mukolanga bwe mutyo ng’ekyo kye kijaguzo eri Mukama Katonda, okumala ennaku musanvu buli mwaka. Lino ly’etteeka ery’enkalakkalira erinaakwatibwanga n’ab’omu mirembe egigenda okujja; mujaguzenga mu mwezi ogw’omusanvu.
每年七月间,要向耶和华守这节七日。这为你们世世代代永远的定例。
42 Munaasulanga mu busiisira okumala ennaku musanvu. Abo bonna abazaaliranwa ab’omu Isirayiri banaasulanga mu busiisira,
你们要住在棚里七日;凡以色列家的人都要住在棚里,
43 bwe batyo ab’omu zzadde lyammwe balyoke bamanye nga bwe nasuzanga abaana ba Isirayiri mu busiisira bwe nnali nga mbaggya mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”
好叫你们世世代代知道,我领以色列人出埃及地的时候曾使他们住在棚里。我是耶和华—你们的 神。”
44 Bw’atyo Musa n’alangirira mu baana ba Isirayiri embaga za Mukama ennonde.
于是,摩西将耶和华的节期传给以色列人。

< Ebyabaleevi 23 >