< Ebyabaleevi 22 >

1 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
וַיְדַבֵּ֥ר יְהוָ֖ה אֶל־מֹשֶׁ֥ה לֵּאמֹֽר׃
2 “Tegeeza Alooni ne batabani be bassengamu ekitiibwa ebiweebwayo abaana ba Isirayiri bye bandeetera, ebyawuliddwa, bwe batyo balemenga okuvumisa erinnya lyange. Nze Mukama Katonda.
דַּבֵּ֨ר אֶֽל־אַהֲרֹ֜ן וְאֶל־בָּנָ֗יו וְיִנָּֽזְרוּ֙ מִקָּדְשֵׁ֣י בְנֵֽי־יִשְׂרָאֵ֔ל וְלֹ֥א יְחַלְּל֖וּ אֶת־שֵׁ֣ם קָדְשִׁ֑י אֲשֶׁ֨ר הֵ֧ם מַקְדִּשִׁ֛ים לִ֖י אֲנִ֥י יְהוָֽה׃
3 Era bagambe nti, Omuntu yenna ow’omu zadde lyabwe mu mirembe gyonna eginajjanga giddiriragana bw’ataabenga mulongoofu, naye n’asemberera ebiweebwayo ebyawuliddwa ebitukuvu, abaana ba Isirayiri bye banaabanga baleese eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagoberwanga ddala n’ava mu maaso gange. Nze Mukama Katonda.
אֱמֹ֣ר אֲלֵהֶ֗ם לְדֹרֹ֨תֵיכֶ֜ם כָּל־אִ֣ישׁ ׀ אֲשֶׁר־יִקְרַ֣ב מִכָּל־זַרְעֲכֶ֗ם אֶל־הַקֳּדָשִׁים֙ אֲשֶׁ֨ר יַקְדִּ֤ישׁוּ בְנֵֽי־יִשְׂרָאֵל֙ לַֽיהוָ֔ה וְטֻמְאָת֖וֹ עָלָ֑יו וְנִכְרְתָ֞ה הַנֶּ֧פֶשׁ הַהִ֛וא מִלְּפָנַ֖י אֲנִ֥י יְהוָֽה׃
4 Omuntu yenna ow’omu zadde lya Alooni alina obulwadde obukwata oba alwadde ekikulukuto taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu okutuusa ng’afuuse omulongoofu. Omuntu yenna taabenga mulongoofu bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde ku kukolagana n’omusajja eyavuddemu amazzi g’obusajja, oba olw’okukomako ku mulambo,
אִ֣ישׁ אִ֞ישׁ מִזֶּ֣רַע אַהֲרֹ֗ן וְה֤וּא צָר֙וּעַ֙ א֣וֹ זָ֔ב בַּקֳּדָשִׁים֙ לֹ֣א יֹאכַ֔ל עַ֖ד אֲשֶׁ֣ר יִטְהָ֑ר וְהַנֹּגֵ֙עַ֙ בְּכָל־טְמֵא־ נֶ֔פֶשׁ א֣וֹ אִ֔ישׁ אֲשֶׁר־תֵּצֵ֥א מִמֶּ֖נּוּ שִׁכְבַת־זָֽרַע׃
5 oba okukwata ku kyekulula ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba okukoma ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, oba engeri yonna ey’obutali bulongoofu bw’efa yenkana.
אוֹ־אִישׁ֙ אֲשֶׁ֣ר יִגַּ֔ע בְּכָל־שֶׁ֖רֶץ אֲשֶׁ֣ר יִטְמָא־ל֑וֹ א֤וֹ בְאָדָם֙ אֲשֶׁ֣ר יִטְמָא־ל֔וֹ לְכֹ֖ל טֻמְאָתֽוֹ׃
6 Omuntu ng’oyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu wabula ng’amaze okunaaba yenna mu mazzi.
נֶ֚פֶשׁ אֲשֶׁ֣ר תִּגַּע־בּ֔וֹ וְטָמְאָ֖ה עַד־הָעָ֑רֶב וְלֹ֤א יֹאכַל֙ מִן־הַקֳּדָשִׁ֔ים כִּ֛י אִם־רָחַ֥ץ בְּשָׂר֖וֹ בַּמָּֽיִם׃
7 Enjuba bw’eneebanga egudde anaabeeranga mulongoofu; n’oluvannyuma anaalyanga ku biweebwayo ebitukuvu ebyo, kubanga ye mmere ye.
וּבָ֥א הַשֶּׁ֖מֶשׁ וְטָהֵ֑ר וְאַחַר֙ יֹאכַ֣ל מִן־הַקֳּדָשִׁ֔ים כִּ֥י לַחְמ֖וֹ הֽוּא׃
8 Taalyenga ku kintu kyonna ekinaabanga kifudde obufi, oba ekinaabanga kitaaguddwataaguddwa ebisolo, kubanga kinaamufuulanga atali mulongoofu. Nze Mukama.
נְבֵלָ֧ה וּטְרֵפָ֛ה לֹ֥א יֹאכַ֖ל לְטָמְאָה־בָ֑הּ אֲנִ֖י יְהוָֽה׃
9 Bwe batyo bakabona kibagwanira okukuumanga ebiragiro byange, balemenga okwereetako omusango ne bafa olw’okubigayaaliriranga. Nze Mukama Katonda abatukuza.
וְשָׁמְר֣וּ אֶת־מִשְׁמַרְתִּ֗י וְלֹֽא־יִשְׂא֤וּ עָלָיו֙ חֵ֔טְא וּמֵ֥תוּ ב֖וֹ כִּ֣י יְחַלְּלֻ֑הוּ אֲנִ֥י יְהוָ֖ה מְקַדְּשָֽׁם׃
10 “Omuntu yenna atali wa mu lulyo lwa kabona, ne bw’anaabanga omugenyi we, oba omupakasi we, taalyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.
וְכָל־זָ֖ר לֹא־יֹ֣אכַל קֹ֑דֶשׁ תּוֹשַׁ֥ב כֹּהֵ֛ן וְשָׂכִ֖יר לֹא־יֹ֥אכַל קֹֽדֶשׁ׃
11 Naye kabona bw’aneeguliranga omuddu n’ensimbi, oba omuddu bw’anaazaalirwanga mu nnyumba ya kabona, omuddu oyo anaalyanga ku mmere eyo.
וְכֹהֵ֗ן כִּֽי־יִקְנֶ֥ה נֶ֙פֶשׁ֙ קִנְיַ֣ן כַּסְפּ֔וֹ ה֖וּא יֹ֣אכַל בּ֑וֹ וִילִ֣יד בֵּית֔וֹ הֵ֖ם יֹאכְל֥וּ בְלַחְמֽוֹ׃
12 Omwana owoobuwala owa kabona bw’anaafumbirwanga omusajja atali kabona, talyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.
וּבַת־כֹּהֵ֔ן כִּ֥י תִהְיֶ֖ה לְאִ֣ישׁ זָ֑ר הִ֕וא בִּתְרוּמַ֥ת הַקֳּדָשִׁ֖ים לֹ֥א תֹאכֵֽל׃
13 Naye singa muwala wa kabona afuuka nnamwandu, oba singa ayawukanira ddala ne bba, kyokka nga talina mwana, n’akomawo okubeeranga mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yakolanga ng’akyali muvubuka, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Omuntu yenna atakwatibwako mizizo egyo taalyenga ku mmere eyo.
וּבַת־כֹּהֵן֩ כִּ֨י תִהְיֶ֜ה אַלְמָנָ֣ה וּגְרוּשָׁ֗ה וְזֶרַע֮ אֵ֣ין לָהּ֒ וְשָׁבָ֞ה אֶל־בֵּ֤ית אָבִ֙יהָ֙ כִּנְעוּרֶ֔יהָ מִלֶּ֥חֶם אָבִ֖יהָ תֹּאכֵ֑ל וְכָל־זָ֖ר לֹא־יֹ֥אכַל בּֽוֹ׃ ס
14 Era omuntu bw’anaalyanga ku kiweebwayo ekitukuvu nga tagenderedde, anaaleetanga ekitundu kimu kyakutaano eky’ekiweebwayo ekyo, n’akigatta ku kiweebwayo ekyo, kyonna n’akikwasa kabona.
וְאִ֕ישׁ כִּֽי־יֹאכַ֥ל קֹ֖דֶשׁ בִּשְׁגָגָ֑ה וְיָסַ֤ף חֲמִֽשִׁיתוֹ֙ עָלָ֔יו וְנָתַ֥ן לַכֹּהֵ֖ן אֶת־הַקֹּֽדֶשׁ׃
15 Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaawangayo eri Mukama,
וְלֹ֣א יְחַלְּל֔וּ אֶת־קָדְשֵׁ֖י בְּנֵ֣י יִשְׂרָאֵ֑ל אֵ֥ת אֲשֶׁר־יָרִ֖ימוּ לַיהוָֽה׃
16 nga babakkiriza okulyanga ku biweebwayo byabwe ebitukuvu, bwe batyo ne babateekesaako omusango ogunaabaweesanga ekibonerezo. Nze Mukama Katonda abatukuza.”
וְהִשִּׂ֤יאוּ אוֹתָם֙ עֲוֺ֣ן אַשְׁמָ֔ה בְּאָכְלָ֖ם אֶת־קָדְשֵׁיהֶ֑ם כִּ֛י אֲנִ֥י יְהוָ֖ה מְקַדְּשָֽׁם׃ פ
17 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
וַיְדַבֵּ֥ר יְהוָ֖ה אֶל־מֹשֶׁ֥ה לֵּאמֹֽר׃
18 “Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri omu ku mmwe, oba omunnaggwanga abeera mu Isirayiri, bw’anaaleeteranga Mukama Katonda ekirabo eky’ekiweebwayo ekyokebwa okutuukiriza obweyamo bwe, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira,
דַּבֵּ֨ר אֶֽל־אַהֲרֹ֜ן וְאֶל־בָּנָ֗יו וְאֶל֙ כָּל־בְּנֵ֣י יִשְׂרָאֵ֔ל וְאָמַרְתָּ֖ אֲלֵהֶ֑ם אִ֣ישׁ אִישׁ֩ מִבֵּ֨ית יִשְׂרָאֵ֜ל וּמִן־הַגֵּ֣ר בְּיִשְׂרָאֵ֗ל אֲשֶׁ֨ר יַקְרִ֤יב קָרְבָּנוֹ֙ לְכָל־נִדְרֵיהֶם֙ וּלְכָל־נִדְבוֹתָ֔ם אֲשֶׁר־יַקְרִ֥יבוּ לַיהוָ֖ה לְעֹלָֽה׃
19 kinaateekwanga okubeera sseddume ey’ente oba ey’endiga, oba ey’embuzi etaliiko kamogo, ekirabo ekyo kiryokenga kikkirizibwe.
לִֽרְצֹנְכֶ֑ם תָּמִ֣ים זָכָ֔ר בַּבָּקָ֕ר בַּכְּשָׂבִ֖ים וּבָֽעִזִּֽים׃
20 Temuwangayo kintu kyonna ekiriko akamogo kubanga tekikkirizibwenga.
כֹּ֛ל אֲשֶׁר־בּ֥וֹ מ֖וּם לֹ֣א תַקְרִ֑יבוּ כִּי־לֹ֥א לְרָצ֖וֹן יִהְיֶ֥ה לָכֶֽם׃
21 Omuntu yenna bw’anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’emirembe, oba okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, ng’akiggya mu kiraalo oba mu kisibo, okukkirizibwa kinaabeeranga ekituukiridde nga tekiriiko kamogo.
וְאִ֗ישׁ כִּֽי־יַקְרִ֤יב זֶֽבַח־שְׁלָמִים֙ לַיהוָ֔ה לְפַלֵּא־נֶ֙דֶר֙ א֣וֹ לִנְדָבָ֔ה בַּבָּקָ֖ר א֣וֹ בַצֹּ֑אן תָּמִ֤ים יִֽהְיֶה֙ לְרָצ֔וֹן כָּל־מ֖וּם לֹ֥א יִהְיֶה־בּֽוֹ׃
22 Temuwangayo eri Mukama Katonda ensolo enzibe y’amaaso, oba eriko obuvune, oba ennema oba egongobadde, oba ezimbyezimbye ku mubiri, oba eriko amabwa agakulukuta. Ezo temuziwangayo ku kyoto eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa.
עַוֶּרֶת֩ א֨וֹ שָׁב֜וּר אוֹ־חָר֣וּץ אֽוֹ־יַבֶּ֗לֶת א֤וֹ גָרָב֙ א֣וֹ יַלֶּ֔פֶת לֹא־תַקְרִ֥יבוּ אֵ֖לֶּה לַיהוָ֑ה וְאִשֶּׁ֗ה לֹא־תִתְּנ֥וּ מֵהֶ֛ם עַל־הַמִּזְבֵּ֖חַ לַיהוָֽה׃
23 Naye ente oba endiga ng’eriko ekitundu kyayo ekisukkiridde obuwanvu oba ekisukkiridde obumpi eneeyinzanga okuleetebwa ng’ekiweebwayo eky’okweyagalira, naye tekkirizibwenga ng’ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo.
וְשׁ֥וֹר וָשֶׂ֖ה שָׂר֣וּעַ וְקָל֑וּט נְדָבָה֙ תַּעֲשֶׂ֣ה אֹת֔וֹ וּלְנֵ֖דֶר לֹ֥א יֵרָצֶֽה׃
24 Mukama Katonda temumuleeteranga ekiweebwayo eky’ensolo erina enjagi ezaanuubulwa, oba ezaabetentebwa, oba ezaayuzibwa, oba ezaasalibwa. Ekyo temukikolanga mu ggwanga lyammwe,
וּמָע֤וּךְ וְכָתוּת֙ וְנָת֣וּק וְכָר֔וּת לֹ֥א תַקְרִ֖יבוּ לַֽיהוָ֑ה וּֽבְאַרְצְכֶ֖ם לֹ֥א תַעֲשֽׂוּ׃
25 wadde okukkirizanga ng’ensolo ezo bannamawanga bazibatonedde ne muziwaayo ng’ekiweebwayo eri Katonda wammwe. Kubanga nnyonoonefu mu mubiri era ziriko obukyamu.”
וּמִיַּ֣ד בֶּן־נֵכָ֗ר לֹ֥א תַקְרִ֛יבוּ אֶת־לֶ֥חֶם אֱלֹהֵיכֶ֖ם מִכָּל־אֵ֑לֶּה כִּ֣י מָשְׁחָתָ֤ם בָּהֶם֙ מ֣וּם בָּ֔ם לֹ֥א יֵרָצ֖וּ לָכֶֽם׃ פ
26 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
וַיְדַבֵּ֥ר יְהוָ֖ה אֶל־מֹשֶׁ֥ה לֵּאמֹֽר׃
27 “Ente, oba endiga, oba embuzi bw’eneezaalibwanga eneesigalanga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw’omunaana n’okweyongerayo ennekkirizibwanga bw’eneeweebwangayo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro.
שׁ֣וֹר אוֹ־כֶ֤שֶׂב אוֹ־עֵז֙ כִּ֣י יִוָּלֵ֔ד וְהָיָ֛ה שִׁבְעַ֥ת יָמִ֖ים תַּ֣חַת אִמּ֑וֹ וּמִיּ֤וֹם הַשְּׁמִינִי֙ וָהָ֔לְאָה יֵרָצֶ֕ה לְקָרְבַּ֥ן אִשֶּׁ֖ה לַיהוָֽה׃
28 Ente oba endiga temugittanga na mwana gwayo ku lunaku lwe lumu.
וְשׁ֖וֹר אוֹ־שֶׂ֑ה אֹת֣וֹ וְאֶת־בְּנ֔וֹ לֹ֥א תִשְׁחֲט֖וּ בְּי֥וֹם אֶחָֽד׃
29 Bwe muwangayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’okwebaza, mukiwengayo mu ngeri ennungi eneekisobozesanga okukkirizibwa.
וְכִֽי־תִזְבְּח֥וּ זֶֽבַח־תּוֹדָ֖ה לַיהוָ֑ה לִֽרְצֹנְכֶ֖ם תִּזְבָּֽחוּ׃
30 Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwennyini, temukifissangawo n’akatono okutuusa enkeera. Nze Mukama Katonda.
בַּיּ֤וֹם הַהוּא֙ יֵאָכֵ֔ל לֹֽא־תוֹתִ֥ירוּ מִמֶּ֖נּוּ עַד־בֹּ֑קֶר אֲנִ֖י יְהוָֽה׃
31 “Bwe mutyo mukwatenga amateeka gange era mugagonderenga. Nze Mukama Katonda.
וּשְׁמַרְתֶּם֙ מִצְוֺתַ֔י וַעֲשִׂיתֶ֖ם אֹתָ֑ם אֲנִ֖י יְהוָֽה׃
32 Temuvumisanga linnya lyange. Abaana ba Isirayiri kibagwanira okunzisangamu ekitiibwa nga Nze mutukuvu. Nze Mukama Katonda abatukuza mmwe,
וְלֹ֤א תְחַלְּלוּ֙ אֶת־שֵׁ֣ם קָדְשִׁ֔י וְנִ֨קְדַּשְׁתִּ֔י בְּת֖וֹךְ בְּנֵ֣י יִשְׂרָאֵ֑ל אֲנִ֥י יְהוָ֖ה מְקַדִּשְׁכֶֽם׃
33 era Nze nabaggya mu nsi y’e Misiri mbeerenga Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda.”
הַמּוֹצִ֤יא אֶתְכֶם֙ מֵאֶ֣רֶץ מִצְרַ֔יִם לִהְי֥וֹת לָכֶ֖ם לֵאלֹהִ֑ים אֲנִ֖י יְהוָֽה׃ פ

< Ebyabaleevi 22 >