< Ebyabaleevi 14 >

1 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
ヱホバ、モーセに告て言たまはく
2 “Lino lye tteeka erinaagobererwanga ku lunaku omugenge lw’anaafuulibwanga omulongoofu mu ngeri entongole ng’aleeteddwa eri kabona.
癩病人の潔めらるる日の定例は是のごとし即ちその人を祭司の許に携へゆくべし
3 Kabona anaafulumanga n’agenda ebweru w’olusiisira n’akebera omuntu oyo. Awo bw’anaasanganga ng’obulwadde bw’ebigenge bumuwonyeeko,
先祭司營より出ゆきて觀祭司もし癩病人の身にありし癩病の患處の痊たるを見ば
4 kabona anaalagiranga okuleetera omuntu oyo agenda okufuulibwa omulongoofu, ebinyonyi bibiri ebiramu ebirongoofu, n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu.
祭司その潔めらるる者のために命じて生る潔き鳥二羽に香柏と紅の線と牛膝草を取きたらしめ
5 Kabona anaalagiranga okuttira emu ku nnyonyi ziri ebbiri waggulu w’amazzi amalungi agali mu luggyo.
祭司また命じてその鳥一羽を瓦の器の内にて活水の上に殺さしめ
6 Anaddiranga ennyonyi ennamu, awamu n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu, byonna ebyo n’abinnyika mu musaayi gw’ennyonyi enettirwanga waggulu w’amazzi amalungi.
而してその生る鳥を取り香柏と紅の線と牛膝草をも取て之を夫活水の上に殺したる鳥の血の中にその生る鳥とともに濡し
7 Anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo omulwadde w’ebigenge agenda okufuulibwa omulongoofu; era anaamulangiriranga nti mulongoofu. Ekinyonyi kiri ekiramu, kabona anaakirekanga n’ekibuuka n’ekigenda.
癩病より潔められんとする者にこれを七回灑ぎてこれを潔き者となしその生る鳥をば野に放つべし
8 Omuntu oyo anaabanga agenda okufuulibwa omulongoofu anaayozanga engoye ze, n’amwako enviiri ze, n’anaaba mu mazzi, n’abeera mulongoofu. Ebyo nga biwedde anaayingiranga mu lusiisira, naye ajjanga kumala ennaku musanvu ng’asula bweru wa weema ye.
潔めらるる者はその衣服を濯ひその毛髮をことごとく剃おとし水に身を滌ぎて潔くなり然る後に營に入きたるべし但し七日が間は自己の天幕の外に居るべし
9 Ku lunaku olw’omusanvu omuntu oyo anaayongeranga okumwa ku mutwe gwe enviiri ze zonna, anaamwangako n’ebirevu bye, n’ebisige bye, n’obwoya obulala bwonna obumwebwa. Ate anaayozanga engoye ze, n’anaaba omubiri gwe gwonna mu mazzi, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.
而して第七日にその身の毛髮をことごとく剃べし即ちその頭の髮と鬚と眉とをことごとく剃りまたその衣服を濯ひ且その身を水に滌ぎて潔くなるべし
10 “Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga abaana b’endiga abalume babiri abataliiko kamogo, n’omwana gw’endiga omuluusi nga gwa mwaka gumu ogw’obukulu, n’aleeterako n’obuwunga obulungi obw’emmere ey’empeke obuweza kilo ssatu obw’ekiweebwayo, ng’abutabudde mu mafuta, n’aleeterako n’ebbakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni eweza desimoolo ssatu eza lita.
第八日にいたりてその人二匹の全き羔羊の牡と當歳なる一匹の全き羔羊の牝を取りまた麥粉十分の三に油を和たる素祭と油一ログを取べし
11 Awo kabona ow’okulangiriranga omuntu oyo okuba omulongoofu, anaamuleetanga, awamu n’ebiweebwayo bye, awali Mukama Katonda mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
潔禮をなす所の祭司その潔めらるべき人と是等の物とを集會の幕屋の門にてヱホバの前に置き
12 Awo kabona anaddiranga omu ku baana b’endiga omulume n’aguwaayo awamu n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, ng’ekiweebwayo olw’omusango, anaabiwuubanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa.
而して祭司かの羔羊の牡一匹を取り一ログの油とともに之を愆祭に献げまた之をヱホバの前に搖て搖祭となすべし
13 Omwana gw’endiga ogwo anaaguttiranga mu kifo ekitukuvu, ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo ekyokebwa we bittirwa. Okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo olw’omusango nakyo kinaabanga kya kabona; nga kitukuvu nnyo.
この羔羊の牡は罪祭燔祭の牲を宰る處すなはち聖所にてこれを宰るべし罪祭の物の祭司に歸するごとく愆祭の物も然るなり是は至聖物たり
14 Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo.
而して祭司その愆祭の牲の血を取りその潔めらるべき者の右の耳の端と右の手の大指と右の足の拇指に祭司これをつくべし
15 Kabona anaddiranga ku mafuta ag’omuzeeyituuni ag’omu pakuli n’agafukako mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono,
祭司またその一ログの油をとりて之を自身の左の手の掌に傾ぎ
16 anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, n’amansira n’olunwe lwe ku mafuta ag’omuzeeyituuni emirundi musanvu awali Mukama Katonda.
而して祭司その右の指を左の手の油にひたしその指をもて之を七回ヱホバの前に灑ぐべし
17 Kabona anaddiranga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga ku lukugiro lw’okutu kw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu ky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango.
その手の殘餘の油は祭司その潔らるべき者の右の耳の端と右の手の大指と右の足の拇指においてその愆祭の牲の血の上に之をつくべし
18 Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga mu mutwe gw’oyo ajja okufuulibwa omulongoofu, n’amutangiririra awali Mukama.
而して尚その手に殘れる油は祭司これをその潔めらるべき者の首につけヱホバの前にて祭司その人のために贖罪をなすべし
19 Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw’ekibi, atangiririre oyo atali mulongoofu ajja okufuulibwa omulongoofu. Oluvannyuma kabona anattanga ekiweebwayo ekyokebwa,
斯してまた祭司罪祭を献げその汚穢を潔めらるべき者のために贖罪を爲て然る後に燔祭の牲を宰るべし
20 n’akiwaayo ku kyoto awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo, n’afuuka mulongoofu.
而して祭司燔祭と素祭を壇の上に献げその人のために祭司贖罪を爲べし然せばその人は潔くならん
21 “Naye omuntu oyo bw’anaabanga omwavu ng’ebyo byonna tabisobola, anaaleetanga omwana gw’endiga omulume gumu okuba ekiweebwayo olw’omusango, ne kiwuubibwa okumutangiririranga, okwo n’agattirako ne kimu kya kkumi ekya efa eky’obuwunga obulungi ennyo obutabikiddwa mu mafuta, nga kye kiweebwayo eky’emmere y’empeke, n’agattako n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni;
その人もし貧くして之にまで手の届かざる時は搖て自己の贖罪をなさしむべき愆祭のために羔羊の牡一匹をとり又素祭のために麥粉十分の一に油を和たるを取りまた油一ログを取り
22 n’amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri, ng’okufuna kwe bwe kunaamusobozesanga; emu eneebanga ya kiweebwayo olw’ekibi, endala nga ya kiweebwayo ekyokebwa.
且その手のとどくところに循ひて鳲鳩二羽かまたは雛き鴿二羽を取べし其一は罪祭のための者一は燔祭のための者なり
23 Ebyo byonna eby’okumufuula omulongoofu anaabireetanga eri kabona ku lunaku olw’omunaana, ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, awali Mukama.
而してその潔禮の第八日に之を祭司に携へ集會の幕屋の門にきたりてヱホバの前にいたるべし
24 Kabona anaddiranga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’abiwuuba nga kye kiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa awali Mukama.
かくて祭司はその愆祭の牡羊と一ログの油を取り祭司これをヱホバの前に搖て搖祭となすべし
25 Kabona anattanga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango; n’addira ogumu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, era ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo.
而して愆祭の羔羊を宰りて祭司その愆祭の牲の血を取りこれをその潔めらるべき者の右の耳の端と右の手の大指と右の足の拇指につけ
26 Kabona anaafukanga agamu ku mafuta mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono,
また祭司その油の中を己の左の手の掌に傾ぎ
27 n’amansira n’olunwe lwe olwa ddyo agamu ku mafuta ago agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, emirundi musanvu awali Mukama.
而して祭司その右の指をもて左の手の油を七回ヱホバの前に灑ぎ
28 Era kabona anaasiiganga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango.
亦祭司その潔めらるべき者の右の耳と右の手の大指と右の足の拇指において愆祭の牲の血をつけし處にその手の油をつくべし
29 Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye, n’agasiiga ku mutwe gw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, okumutangiririra eri Mukama.
またその手に殘れる油をば祭司その潔めらるべき者の首に之をつけヱホバの前にてその人のために贖罪をなすべし
30 Era anaawangayo, ng’obusobozi bwe gye bunaakomanga, amayiba oba enjiibwa ento,
その人はその手のおよぶところの鳲鳩または雛き鴿一羽を献ぐべし
31 ekinyonyi ekimu ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’agattirako n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Kabona anaamutangiririranga oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu eri Mukama.
即ちその手のおよぶところの者一を罪祭に一を燔祭に爲べし祭司はその潔めらるべき者のためにヱホバの前に贖罪をなすべし
32 Ago ge mateeka aganaagobererwanga omuntu omugenge anaabanga tasobola biweebwayo ebya bulijjo, alyoke afuuke omulongoofu.”
癩病の患處ありし人にてその潔禮に用ふべき物に手の届ざる者は之をその條例とすべし
33 Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti,
ヱホバ、モーセとアロンに告て言たまはく
34 “Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani gye mbawadde okugirya, ne musanga nga ntadde ebigenge mu emu ku nnyumba ez’omu nsi eyo,
我が汝らの產業に與ふるカナンの地に汝等の至らん時に我汝らの產業の地の或家に癩病の患處を生ぜしむること有ば
35 kale, oyo anaabanga nannyini nnyumba eyo anajjanga n’ategeeza kabona nti, ‘Mu nnyumba yange mufaanana ng’omuli obulwadde.’
その家の主來り祭司に告て患處のごとき者家に現はると言べし
36 Kabona anaalagiranga ne bafulumya ebintu byonna ebiri mu nnyumba ne babimalamu, nga tannaba kuyingiramu kukebera obulwadde obwo nga bwe buli, si kulwa nga byonna ebiri mu nnyumba biyitibwa ebitali birongoofu. Ekyo nga kiwedde kabona anaayingiranga mu nnyumba n’agikebera.
然る時は祭司命じて祭司のその患處を視に行く前にその家を空しむべし是は家にある物の凡て汚れざらんためなり而して後に祭司いりてその家を觀べし
37 Anaanoonyanga obulwadde we buli; bw’anaabusanganga ku bisenge by’ennyumba eyo, nga kuliko amabala aga kiragalalagala oba amamyukirivu, era nga galabika gayingidde munda mu mubiri gw’ekisenge,
その患處を觀にもしその家の壁に靑くまたは赤き窪の患處ありて壁よりも卑く見えなば
38 olwo kabona anaafulumanga mu nnyumba eyo, n’agiggala okumala ennaku musanvu.
祭司その家を出て家の門にいたり七日の間家を閉おき
39 Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakomangawo n’akebera ennyumba eyo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanidde ku bisenge by’ennyumba eyo,
祭司第七日にまた來りて視るべしその患處もし家の壁に蔓延をらば
40 kale, anaalagiranga ne basokoola mu bisenge amayinja gonna agaliko obulwadde ne bagasuula ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
祭司命じてその患處ある石を取のぞきて邑の外の汚穢所にこれを棄しめ
41 Era anaalagiranga ebisenge byonna eby’omu nnyumba eyo ne bikalakatibwa, ebintu byonna ebikalakatibbwako ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
またその家の内の四周を刮らしむべしその刮りし灰沙は之を邑の外の汚穢所に傾け
42 Era banaddiranga amayinja amalala ne bagazimba mu bifo by’agali agaggyibwamu, ne batabula bulungi omusenyu, ennyumba yonna n’ekubibwa omusenyu.
他の石を取てその石の所に入かふべし而して彼他の灰沙をとりて家を塗べきなり
43 “Singa obulwadde buddamu okuzuuka, oluvannyuma lw’ennyumba okugiggyamu amayinja gali, n’okugikalakata era n’okugikubako omusenyu omuggya,
斯石を取のぞき家を刮りてこれを塗かへし後にその患處もし再びおこりて家に發しなば
44 kale, kabona anaagendangayo ne yeetegereza; bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanye mu nnyumba, ng’ebyo bigenge bye biri mu nnyumba, era nga si nnongoofu.
祭司また來りて視べし患處もし家に蔓延たらば是家にある惡き癩病なれば其は汚るるなり
45 Anaalagiranga ennyumba eyo n’emenyebwawo, amayinja gaayo n’embaawo zaayo n’omusenyu ogwagikubwako, byonna binaasitulwanga ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
彼その家を毀ちその石その木およびその家の灰沙をことごとく邑の外の汚穢所に搬びいだすべし
46 Ennyumba eyo bw’eneebanga tennamenyebwawo, omuntu yenna anaayingiranga mu nnyumba eyo mu kiseera ky’eneemalanga nga nzigale anaabanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
その家を閉おける日の間にこれに入る者は晩まで汚るべし
47 N’omuntu yenna anaasulanga mu nnyumba eyo oba anaaliirangamu, anaayozanga engoye ze.
その家に臥す者はその衣服を洗ふべしその家に食する者もその衣服を洗ふべし
48 “Naye kabona bw’anajjanga n’akebera mu nnyumba eyo ng’emaze okukubibwako omusenyu, n’asanga ng’obulwadde tebwasaasaana; kale, kabona anaalangiriranga ng’ennyumba eyo bw’eri ennongoofu, kubanga olwo ng’obulwadde bugenze.
然ど祭司いりて視にその患處家を塗かへし後に家に蔓延ずば是患處の痊たる者なれば祭司その家を潔き者となすべし
49 Okufuula ennyumba ennongoofu kabona anaddiranga ebinyonyi bibiri n’akabaawo k’omuti omwerezi, n’ekiwero ekimyufu n’ezobu.
彼すなはちその家を潔むるために鳥二羽に香柏と紅の線と牛膝草を取り
50 Anattiranga ekimu ku binyonyi mu mazzi amalungi mu kibya eky’ebbumba.
その鳥一羽を瓦の器の内にて活る水の上に殺し
51 Awo anaddiranga akabaawo k’omuti omwerezi n’ezobu, n’ekiwero ekimyufu, n’ekinyonyi ekikyali ekiramu, n’abinnyika mu musaayi gw’ekinyonyi ekyattiddwa ne mu mazzi amalungi, n’alyoka amansira ennyumba yonna emirundi musanvu.
香柏と牛膝草と紅の線と生鳥を取てこれをその殺せし鳥の血なる活る水に浸し七回家に灑ぐべし
52 Ennyumba anaagifuulanga ennongoofu n’omusaayi gw’akanyonyi, n’amazzi amalungi, n’akanyonyi akalamu, n’akabaawo k’omuti omwerezi, n’ezobu n’ekiwero ekimyufu.
斯祭司鳥の血と活る水と生る鳥と香柏と牛膝草と紅の線をもて家を潔め
53 Awo n’afulumya ekinyonyi ekiramu ebweru w’ekibuga n’akiteera eyo ne kibuuka ne kigenda. Mu ngeri eyo anaatangiririranga ennyumba eyo era eneebanga nnongoofu.”
その生る鳥を邑の外の野に縦ちその家のために贖罪をなすべし然せば其は潔くならん
54 Ago ge mateeka aganaagobererwanga ku bulwadde bw’ebigenge, omubiri ogusiiwa,
是すなはち癩病の諸患處瘡
55 ebigenge mu ngoye oba mu nnyumba,
および衣服と家屋の癩病
56 oba okubutukabutuka, oba obutulututtu,
ならびに腫と癬と光る處とに關る條例にして
57 okusinziirako okutegeera obanga ekintu kirongoofu oba si kirongoofu. Ago ge mateeka ku bigenge.
何の日潔きか何の日汚たるかを敎ふる者なり癩病の條例は是のごとし

< Ebyabaleevi 14 >