< Okukungubaga 5 >

1 Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko. Tunula olabe ennaku yaffe.
זכר יהוה מה היה לנו הביט וראה את חרפתנו׃
2 Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga, n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
נחלתנו נהפכה לזרים בתינו לנכרים׃
3 Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe, ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
יתומים היינו אין אב אמתינו כאלמנות׃
4 Tusasulira amazzi ge tunywa; n’enku tuteekwa okuzigula.
מימינו בכסף שתינו עצינו במחיר יבאו׃
5 Abatucocca batugobaganya; tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
על צוארנו נרדפנו יגענו לא הונח לנו׃
6 Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli okutufuniranga ku mmere.
מצרים נתנו יד אשור לשבע לחם׃
7 Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa, naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
אבתינו חטאו אינם אנחנו עונתיהם סבלנו׃
8 Abaddu be batufuga, tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
עבדים משלו בנו פרק אין מידם׃
9 Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere, olw’ekitala ekiri mu ddungu.
בנפשנו נביא לחמנו מפני חרב המדבר׃
10 Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro olw’enjala ennyingi.
עורנו כתנור נכמרו מפני זלעפות רעב׃
11 Abakyala ba Sayuuni, n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
נשים בציון ענו בתלת בערי יהודה׃
12 Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
שרים בידם נתלו פני זקנים לא נהדרו׃
13 Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo, n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
בחורים טחון נשאו ונערים בעץ כשלו׃
14 Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga, n’abavubuka tebakyayimba.
זקנים משער שבתו בחורים מנגינתם׃
15 Emitima gyaffe tegikyasanyuka, n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
שבת משוש לבנו נהפך לאבל מחלנו׃
16 Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe. Zitusanze kubanga twonoonye!
נפלה עטרת ראשנו אוי נא לנו כי חטאנו׃
17 Emitima gyaffe kyegivudde gizirika, era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
על זה היה דוה לבנו על אלה חשכו עינינו׃
18 Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere, ebibe kyebivudde bitambulirako.
על הר ציון ששמם שועלים הלכו בו׃
19 Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna; entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
אתה יהוה לעולם תשב כסאך לדר ודור׃
20 Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna? Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
למה לנצח תשכחנו תעזבנו לארך ימים׃
21 Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama, otuzze buggya ng’edda;
השיבנו יהוה אליך ונשוב חדש ימינו כקדם׃
22 wabula ng’otusuulidde ddala, era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.
כי אם מאס מאסתנו קצפת עלינו עד מאד׃

< Okukungubaga 5 >