< Okukungubaga 3 >

1 Nze muntu eyakangavvulwa n’omuggo ogw’obusungu bwe.
אֲנִי הַגֶּבֶר רָאָה עֳנִי בְּשֵׁבֶט עֶבְרָתֽוֹ׃
2 Angobye mu maaso ge n’antambuliza mu kizikiza, awatali kitangaala;
אוֹתִי נָהַג וַיֹּלַךְ חֹשֶׁךְ וְלֹא־אֽוֹר׃
3 ddala, omukono gwe gunnwanyisizza emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.
אַךְ בִּי יָשֻׁב יַהֲפֹךְ יָדוֹ כָּל־הַיּֽוֹם׃
4 Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange era amenye n’amagumba gange.
בִּלָּה בְשָׂרִי וְעוֹרִי שִׁבַּר עַצְמוֹתָֽי׃
5 Antaayizza n’anzijuza obulumi n’okubonaabona.
בָּנָה עָלַי וַיַּקַּף רֹאשׁ וּתְלָאָֽה׃
6 Antadde mu kizikiza ng’abafu abaafa edda.
בְּמַחֲשַׁכִּים הוֹשִׁיבַנִי כְּמֵתֵי עוֹלָֽם׃
7 Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka, ansibye enjegere ezizitowa.
גָּדַר בַּעֲדִי וְלֹא אֵצֵא הִכְבִּיד נְחָשְׁתִּֽי׃
8 Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe, okusaba kwange akuggalira bweru.
גַּם כִּי אֶזְעַק וַאֲשַׁוֵּעַ שָׂתַם תְּפִלָּתִֽי׃
9 Anteeredde amayinja mu kkubo lyange era akyamizza amakubo gange.
גָּדַר דְּרָכַי בְּגָזִית נְתִיבֹתַי עִוָּֽה׃
10 Ng’eddubu bwe liteega, n’empologoma bwe yeekweka
דֹּב אֹרֵב הוּא לִי אריה אֲרִי בְּמִסְתָּרִֽים׃
11 yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula n’andeka awo nga sirina anyamba.
דְּרָכַי סוֹרֵר וַֽיְפַשְּׁחֵנִי שָׂמַנִי שֹׁמֵֽם׃
12 Yanaanuula omutego gwe, n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.
דָּרַךְ קַשְׁתוֹ וַיַּצִּיבֵנִי כַּמַּטָּרָא לַחֵֽץ׃
13 Yafumita omutima gwange n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
הֵבִיא בְּכִלְיוֹתָי בְּנֵי אַשְׁפָּתֽוֹ׃
14 Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna, era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
הָיִיתִי שְּׂחֹק לְכָל־עַמִּי נְגִינָתָם כָּל־הַיּֽוֹם׃
15 Anzijuzza ebikaawa era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.
הִשְׂבִּיעַנִי בַמְּרוֹרִים הִרְוַנִי לַעֲנָֽה׃
16 Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka; anninnyiridde mu nfuufu.
וַיַּגְרֵס בֶּֽחָצָץ שִׁנָּי הִכְפִּישַׁנִי בָּאֵֽפֶר׃
17 Emmeeme yange terina mirembe, n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
וַתִּזְנַח מִשָּׁלוֹם נַפְשִׁי נָשִׁיתִי טוֹבָֽה׃
18 Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze, n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”
וָאֹמַר אָבַד נִצְחִי וְתוֹחַלְתִּי מֵיְהוָֽה׃
19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange, n’obulumi n’obubalagaze.
זְכָר־עָנְיִי וּמְרוּדִי לַעֲנָה וָרֹֽאשׁ׃
20 Mbijjukira bulungi era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
זָכוֹר תִּזְכּוֹר ותשיח וְתָשׁוֹחַ עָלַי נַפְשִֽׁי׃
21 Ebyo byonna mbijjukira, kyenvudde mbeera n’essuubi.
זֹאת אָשִׁיב אֶל־לִבִּי עַל־כֵּן אוֹחִֽיל׃
22 Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
חַֽסְדֵי יְהוָה כִּי לֹא־תָמְנוּ כִּי לֹא־כָלוּ רַחֲמָֽיו׃
23 Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
חֲדָשִׁים לַבְּקָרִים רַבָּה אֱמוּנָתֶֽךָ׃
24 Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange, kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”
חֶלְקִי יְהוָה אָמְרָה נַפְשִׁי עַל־כֵּן אוֹחִיל לֽוֹ׃
25 Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi, eri oyo amunoonya.
טוֹב יְהוָה לְקֹוָו לְנֶפֶשׁ תִּדְרְשֶֽׁנּוּ׃
26 Kirungi omuntu okulindirira obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
טוֹב וְיָחִיל וְדוּמָם לִתְשׁוּעַת יְהוָֽה׃
27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye mu buvubuka bwe.
טוֹב לַגֶּבֶר כִּֽי־יִשָּׂא עֹל בִּנְעוּרָֽיו׃
28 Atuulenga yekka mu kasirise kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
יֵשֵׁב בָּדָד וְיִדֹּם כִּי נָטַל עָלָֽיו׃
29 Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
יִתֵּן בֶּֽעָפָר פִּיהוּ אוּלַי יֵשׁ תִּקְוָֽה׃
30 Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa, era amalibwe n’okuvumibwa.
יִתֵּן לְמַכֵּהוּ לֶחִי יִשְׂבַּע בְּחֶרְפָּֽה׃
31 Kubanga Mukama taligobera bantu bweru ebbanga lyonna.
כִּי לֹא יִזְנַח לְעוֹלָם אֲדֹנָֽי׃
32 Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
כִּי אִם־הוֹגָה וְרִחַם כְּרֹב חסדו חֲסָדָֽיו׃
33 Tagenderera kuleeta bulumi newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.
כִּי לֹא עִנָּה מִלִבּוֹ וַיַּגֶּה בְנֵי־אִֽישׁ׃
34 Mukama akkiriziganya n’okulinnyirira abasibe,
לְדַכֵּא תַּחַת רַגְלָיו כֹּל אֲסִירֵי אָֽרֶץ׃
35 n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
לְהַטּוֹת מִשְׁפַּט־גָּבֶר נֶגֶד פְּנֵי עֶלְיֽוֹן׃
36 oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?
לְעַוֵּת אָדָם בְּרִיבוֹ אֲדֹנָי לֹא רָאָֽה׃
37 Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira, Mukama nga takiragidde?
מִי זֶה אָמַר וַתֶּהִי אֲדֹנָי לֹא צִוָּֽה׃
38 Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo, si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
מִפִּי עֶלְיוֹן לֹא תֵצֵא הָרָעוֹת וְהַטּֽוֹב׃
39 Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya, bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?
מַה־יִּתְאוֹנֵן אָדָם חָי גֶּבֶר עַל־חטאו חֲטָאָֽיו׃
40 Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze, tudde eri Mukama.
נַחְפְּשָׂה דְרָכֵינוּ וְֽנַחְקֹרָה וְנָשׁוּבָה עַד־יְהוָֽה׃
41 Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
נִשָּׂא לְבָבֵנוּ אֶל־כַּפָּיִם אֶל־אֵל בַּשָּׁמָֽיִם׃
42 “Twayonoona ne tujeema, tokyerabiranga era tonatusonyiwa.
נַחְנוּ פָשַׁעְנוּ וּמָרִינוּ אַתָּה לֹא סָלָֽחְתָּ׃
43 “Ojjudde obusungu n’otugobaganya, n’otutta awatali kutusaasira.
סַכֹּתָה בָאַף וַֽתִּרְדְּפֵנוּ הָרַגְתָּ לֹא חָמָֽלְתָּ׃
44 Weebisseeko ekire, waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
סַכּוֹתָה בֶֽעָנָן לָךְ מֵעֲבוֹר תְּפִלָּֽה׃
45 Otufudde obusa n’ebisasiro mu mawanga.
סְחִי וּמָאוֹס תְּשִׂימֵנוּ בְּקֶרֶב הָעַמִּֽים׃
46 “Abalabe baffe bonna batwogerako ebigambo ebibi.
פָּצוּ עָלֵינוּ פִּיהֶם כָּל־אֹיְבֵֽינוּ׃
47 Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
פַּחַד וָפַחַת הָיָה לָנוּ הַשֵּׁאת וְהַשָּֽׁבֶר׃
48 Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga olw’okuzikirira kw’abantu bange.
פַּלְגֵי־מַיִם תֵּרַד עֵינִי עַל־שֶׁבֶר בַּת־עַמִּֽי׃
49 Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga awatali kusirika,
עֵינִי נִגְּרָה וְלֹא תִדְמֶה מֵאֵין הֲפֻגֽוֹת׃
50 okutuusa Mukama lw’alisinzira mu ggulu n’alaba.
עַד־יַשְׁקִיף וְיֵרֶא יְהוָה מִשָּׁמָֽיִם׃
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange, olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.
עֵינִי עֽוֹלְלָה לְנַפְשִׁי מִכֹּל בְּנוֹת עִירִֽי׃
52 Abalabe bange banjigganya olutata ne baba ng’abayigga ennyonyi.
צוֹד צָדוּנִי כַּצִּפּוֹר אֹיְבַי חִנָּֽם׃
53 Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya, ne bankasuukirira amayinja;
צָֽמְתוּ בַבּוֹר חַיָּי וַיַּדּוּ־אֶבֶן בִּֽי׃
54 amazzi gaabikka omutwe gwange, ne ndowooza nti, nsanyeewo.
צָֽפוּ־מַיִם עַל־רֹאשִׁי אָמַרְתִּי נִגְזָֽרְתִּי׃
55 “Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama, nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
קָרָאתִי שִׁמְךָ יְהוָה מִבּוֹר תַּחְתִּיּֽוֹת׃
56 wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go eri okukaaba kwange.”
קוֹלִי שָׁמָעְתָּ אַל־תַּעְלֵם אָזְנְךָ לְרַוְחָתִי לְשַׁוְעָתִֽי׃
57 Bwe nakukoowoola wansemberera n’oyogera nti, “Totya!”
קָרַבְתָּ בְּיוֹם אֶקְרָאֶךָּ אָמַרְתָּ אַל־תִּירָֽא׃
58 Mukama watunula mu nsonga yange, era n’onunula obulamu bwange.
רַבְתָּ אֲדֹנָי רִיבֵי נַפְשִׁי גָּאַלְתָּ חַיָּֽי׃
59 Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola, obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
רָאִיתָה יְהוָה עַוָּתָתִי שָׁפְטָה מִשְׁפָּטִֽי׃
60 Walaba bwe bampalana, n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.
רָאִיתָה כָּל־נִקְמָתָם כָּל־מַחְשְׁבֹתָם לִֽי׃
61 Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda, n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
שָׁמַעְתָּ חֶרְפָּתָם יְהוָה כָּל־מַחְשְׁבֹתָם עָלָֽי׃
62 obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange bye bantesaako obudde okuziba.
שִׂפְתֵי קָמַי וְהֶגְיוֹנָם עָלַי כָּל־הַיּֽוֹם׃
63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe; bannyooma nga bwe bannyimbirira.
שִׁבְתָּם וְקִֽימָתָם הַבִּיטָה אֲנִי מַנְגִּינָתָֽם׃
64 Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda, olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
תָּשִׁיב לָהֶם גְּמוּל יְהוָה כְּמַעֲשֵׂה יְדֵיהֶֽם׃
65 Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe, n’ekikolimo kyo kibabeereko.
תִּתֵּן לָהֶם מְגִנַּת־לֵב תַּאֲלָֽתְךָ לָהֶֽם׃
66 Obayigganye mu busungu bwo obazikirize ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.
תִּרְדֹּף בְּאַף וְתַשְׁמִידֵם מִתַּחַת שְׁמֵי יְהוָֽה׃

< Okukungubaga 3 >