< Okukungubaga 2 >
1 Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni ne bumussa wansi w’ekire! Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi okuva mu ggulu okutuuka ku nsi; ne yeerabira entebe ey’ebigere bye ku lunaku lwe yasunguwalirako.
2 Mukama azikirizza abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira; mu busungu bwe amenye ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda; assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be n’abamalamu ekitiibwa.
3 Mu busungu obungi amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza; bw’alabye omulabe ng’asembera, n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo; anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.
4 Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe, era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu. Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso mu weema ey’omuwala wa Sayuuni, okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze; obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.
5 Mukama afuuse ng’omulabe; azikirizza Isirayiri, n’azikiriza embiri ze, n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi. Aleetedde muwala wa Yuda okweyongera okukaaba n’okukungubaga.
6 Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro, era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu. Mukama yeerabizza Sayuuni embaga ze entukuvu ne ssabbiiti, era mu busungu bwe obungi anyoomye kabaka ne kabona.
7 Mukama atamiddwa ekyoto kye, n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu. Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe; era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama, ne baleetamu oluyoogaano nga ku lunaku olw’embaga entukuvu.
8 Mukama yamalirira okumenya bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni, n’agolola omuguwa ogupima, Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza. Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga, byonna ne biggweerera.
9 Emiryango gye gisse mu ttaka, n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona. Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa, eteri mateeka gaabwe agabafuga, era ne bannabbi be tebakyafuna kwolesebwa kuva eri Mukama.
10 Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde; bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe era beesibye ebibukutu; n’abawala ba Yerusaalemi bakotese emitwe gyabwe.
11 Amaaso gange gakooye olw’okukaaba n’emmeeme yange enyiikadde n’omutima gwange gulumwa olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange, n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira wakati mu nguudo ez’omu kibuga.
12 Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti, “Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?” nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu mu nguudo ez’ekibuga, nga bwe bakaabira mu bifuba bya bannyaabwe.
13 Nnyinza kugamba ki, era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako ggwe Omuwala wa Yerusaalemi? Kiki kye nnyinza okukufaananya, okukusanyusa ggwe Omuwala Embeerera owa Sayuuni? Ekiwundu kyo kinene nnyo, kale ani ayinza okukiwonya?
14 Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna, kwali kwa bulimba era kwa butaliimu; tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo okukuwonya obusibe. Engero ze baabanyumizanga zaali za bulimba era eziwabya.
15 Bonna abayitawo babakubira mu ngalo ne bafuuwa empa ne banyeenyeza omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti, “Kino kye kibuga ekyayitibwanga ekituukiridde, era essanyu ly’ensi zonna?”
16 Abalabe bo bonna baasaamiridde nga beewuunya; nga bafuuwa empa, era baluma amannyo nga boogera nti, “Tumuzikirizza. Luno lwe lunaku lwe twalindirira, kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
17 Mukama akoze kye yateekateeka, era atuukirizza ekigambo kye kye yalagira mu nnaku ez’edda. Akuzikirizza awatali kukusaasira, aleetedde omulabe wo okukusekerera, n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
18 Kaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe Omuwala wa Sayuuni. Leka amaziga go gakulukute ng’omugga emisana n’ekiro. Teweewummuza so toganya maaso go kuwummula.
19 Golokoka, okaabe ekiro obudde nga bwa kaziba; Fuka emmeeme yo ng’amazzi mu maaso ga Mukama. Yimusa emikono gyo gy’ali, olw’obulamu bw’abaana bo abato abazirise olw’enjala mu buli luguudo.
20 “Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire! Ani gwe wali obonerezza bw’otyo? Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe, abaana be bakuzizza? Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe mu watukuvu wa Mukama?
21 “Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu mu nfuufu ey’enguudo; abavubuka bange ne bawala bange battiddwa n’ekitala; obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo, era obasse awatali kusaasira.
22 “Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga, bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna; era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama, tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo; abo be nalabirira ne nkuza, omulabe wange be yazikiriza.”