< Balam 8 >

1 Awo abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watuyisa bw’otyo, n’ototuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bamunenya nnyo.
The men of Ephraim said to him, "Why have you done such a thing to us, not calling us when you went to fight with Midian?" And they argued with him fiercely.
2 Naye n’abaddamu nti, “Kiki kye nkoze okugeraageranya nammwe kye mukoze? Amakungula ga Efulayimu tegasinga ezabbibu Abiyezeeri z’akungudde?
He said to them, "What have I now done in comparison with you? Isn't the gleaning of the grapes of Ephraim better than the vintage of Abiezer?
3 Katonda yagabula Olebu ne Zeebu abakulembeze ba Midiyaani mu mukono gwammwe. Kiki kye nandiyinzizza okukola okugeraageranya nammwe?” Awo bwe yabagamba ebigambo ebyo ne bakkakkana.
God has delivered into your hand the princes of Midian, Oreb and Zeeb; and what was I able to do in comparison with you?" Then their anger subsided toward him, when he had said that.
4 Awo Gidyoni n’abasajja be ebikumi bisatu, nga bakooye, naye nga bakyabawondera, ne batuuka ku Yoludaani ne basomoka.
Gideon came to the Jordan, and passed over, he, and the three hundred men who were with him, exhausted and famished.
5 N’agamba abasajja ab’omu Sukkosi nti, “Muwe ku basajja bange, ekyokulya, bakooye. Mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.”
He said to the men of Succoth, "Please give loaves of bread to the people who follow me; for they are exhausted, and I am pursuing after Zebah and Zalmunna, the kings of Midian."
6 Naye abakungu ab’omu Sukkosi ne bamuddamu nti, “Eggye lyo limaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tubawe emmere?”
The princes of Succoth said, "Are the hands of Zebah and Zalmunna now in your hand, that we should give bread to your army?"
7 Awo Gidyoni n’abaddamu nti, “Kale olw’ekyo kye muŋŋambye, Mukama Katonda bw’aligabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ndiyuza emibiri gyammwe n’amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo.”
Gideon said, "Therefore when YHWH has delivered Zebah and Zalmunna into my hand, then I will thresh your flesh with the thorns of the wilderness and with briers."
8 Bwe yava eyo, n’ayambuka n’alaga e Penieri, n’abasaba ekintu kye kimu. Naye abantu b’e Penieri ne bamuddamu ng’abasajja ab’omu Sukkosi bwe bamuddamu.
He went up there to Penuel, and spoke to them in like manner; and the men of Penuel answered him as the men of Succoth had answered.
9 Kyeyava agamba abantu b’e Penieri nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala guno.”
He spoke also to the men of Penuel, saying, "When I come again in peace, I will break down this tower."
10 Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli n’eggye lyabwe ery’abasajja ng’omutwalo gumu n’ekitundu, nga be bantu abaasigalawo ku ggye lyonna ery’abantu ab’obuvanjuba. Abasajja ng’emitwalo kkumi n’ebiri abaasowolanga ebitala be baali bafudde.
Now Zebah and Zalmunna were in Karkor, and their armies with them, about fifteen thousand men, all who were left of all the army of the Kedemites; for there fell one hundred twenty thousand men who drew sword.
11 Awo Gidyoni n’ayambukira mu kkubo ly’abo ababeera mu weema ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Noba n’e Yogubeka n’alumba eggye nga teritegedde.
And Gideon went up by the way of those who dwell in tents on the east of Nobah and Jogbehah, opposite Zebah, and struck the army, when the army was unsuspecting.
12 Zeba ne Zalumunna ne badduka, naye n’abawondera, era n’awamba bakabaka bombi aba Midiyaani, n’awangulira ddala eggye lyabwe lyonna.
Zebah and Zalmunna fled, and he pursued after them, and he took the two kings of Midian, Zebah and Zalmunna, and routed the entire army.
13 Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’akomawo okuva mu lutalo ng’ayitira mu Lukuubo lwa Keresi.
Gideon the son of Joash returned from the battle from the ascent of Heres.
14 N’asangiriza omuvubuka ow’oku bantu ab’omu Sukkosi, n’abaako by’amubuuza. Omuvubuka n’amuwandiikira amannya g’abakungu ab’omu Sukkosi, abakadde nsanvu mu musanvu.
He caught a young man of the men of Succoth, and inquired of him: and he described for him the officials of Succoth, and its elders, seventy-seven men.
15 Gidyoni n’alyoka ajja eri abasajja ab’omu Sukkosi n’abagamba nti, “Zeba ne Zalumunna baabo be mwasinzirako okundulira nga muŋŋamba nti, temuyinza kuwa basajja bange abaali bakooye mmere, nga sirina Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange.”
He came to the men of Succoth, and said, "Look Zebah and Zalmunna, concerning whom you taunted me, saying, "Are the hands of Zebah and Zalmunna now in your hand, that we should give bread to your men who are weary?"
16 N’akwata abakadde b’ekibuga n’addira amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo n’abonereza abasajja ab’omu Sukkosi.
He took the elders of the city, and thorns of the wilderness and briers, and with them he threshed the men of Succoth.
17 N’agenda n’e Penieri n’amenyaamenya omunaala gwa Penieri, n’atta n’abasajja b’omu kibuga.
He broke down the tower of Penuel, and killed the men of the city.
18 N’alyoka abuuza Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne bamuddamu nti, “ggwe nga bw’oli nabo bwe baali. Buli omu yali afaanana abalangira.”
Then he said to Zebah and Zalmunna, "What kind of men were they whom you killed at Tabor?" They answered, "As you are, so were they; each one resembled the son of a king."
19 N’abaddamu nti, “Abo baali baganda bange, abaana ba mmange. Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, singa mwabalekawo, sandi basse mmwe.”
He said, "They were my brothers, the sons of my mother. As YHWH lives, if you had saved them alive, I would not kill you."
20 Awo n’agamba Yeseri mutabani we omubereberye nti, “Golokoka obatte.” Naye omuvubuka oyo n’atasowolayo kitala kye okubatta. Yatya kubanga yali akyali mulenzi bulenzi.
He said to Jether his firstborn, "Get up, and kill them." But the youth did not draw his sword; for he feared, because he was yet a youth.
21 Zeba ne Zalumunna ne boogera nti, “Ggwe jjangu otutte, kubanga ng’omusajja bw’ali, n’amaanyi ge bwe genkana. Gidyoni n’agolokoka n’atta Zeba ne Zalumunna, n’atwala n’ebyali bitimbiddwa mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe.”
Then Zebah and Zalmunna said, "Rise up yourself, and kill us, for a man is judged by his strength." Gideon arose, and killed Zebah and Zalmunna, and took the crescent ornaments that were on their camels' necks.
22 Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.”
Then the men of Israel said to Gideon, "Rule over us, both you, and your son, and your son's son also; for you have saved us out of the hand of Midian."
23 Naye Gidyoni n’abaddamu nti, “Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama y’anaabafuganga.”
Gideon said to them, "I will not rule over you, neither shall my son rule over you: YHWH shall rule over you."
24 Gidyoni n’abagamba nti, “Mbasaba ekintu kimu; buli omu ku mmwe ampe empeta ze yanyaga ku Bayisimayiri.”
Gideon said to them, "I would make a request of you, that you would give me every man the earrings from his plunder." (For they had golden earrings, because they were Ishmaelites.)
25 Ne bamuddamu nti, “Okuzikuwa tujja kuzikuwa.” Ne bayalirira olugoye wansi, buli omu n’ateekako empeta ze yanyaga.
They answered, "We will willingly give them." They spread a garment, and every one of them threw an earring from his plunder.
26 Obuzito bw’empeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda n’ekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, n’ebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, n’emikuufu egyateekebwanga mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe.
The weight of the golden earrings that he requested was one thousand and seven hundred pieces of gold, besides the crescents, and the pendants, and the purple clothing that was on the kings of Midian, and besides the chains that were about their camels' necks.
27 Awo Gidyoni n’addira zaabu n’amusaanuusa n’amukolamu ekifaananyi eky’ekkanzu (efodi), n’akiteeka mu kibuga kye Ofula. Abayisirayiri bonna ne bakivuunamiranga ne bakisinzanga, era ne kifuukira Gidyoni n’enju ye yonna omutego.
Gideon made an ephod of it, and put it in his city, even in Ophrah: and all Israel prostituted themselves after it there; and it became a snare to Gideon, and to his house.
28 Awo Midiyaani n’ewangulwa abaana ba Isirayiri, era n’etaddayo kubalumba. Ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula.
So Midian was subdued before the children of Israel, and did not become a threat again. The land had rest forty years in the days of Gideon.
29 Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi, n’addayo ewaabwe.
Jerubbaal the son of Joash went and lived in his own house.
30 Gidyoni yazaala abaana aboobulenzi nsanvu mu bakazi abangi be yalina.
Gideon had seventy sons conceived from his body; for he had many wives.
31 N’omuzaana we ow’omu Sekemu yamuzaalira omwana wabulenzi, era n’amutuuma Abimereki.
His secondary wife who was in Shechem, she also bore him a son, and he named him Abimelech.
32 Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’afa, ng’akaddiye bulungi, n’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe Yowaasi mu Ofula eky’Ababiezeri.
Gideon the son of Joash died in a good old age, and was buried in the tomb of Joash his father, in Ophrah of the Abiezrites.
33 Gidyoni nga y’akafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe.
It happened, as soon as Gideon was dead, that the children of Israel turned again, and played the prostitute after the Baals, and made Baal Berith their god.
34 Abaana ba Isirayiri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe eyabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna.
The children of Israel did not remember YHWH their God, who had delivered them out of the hand of all their enemies on every side;
35 Ne batalaga kusiima eri ab’enju ya Yerubbaali, ye Gidyoni, olw’ebirungi byonna bye yakolera Isirayiri.
neither did they show kindness to the house of Jerubbaal, who is Gideon, according to all the goodness which he had shown to Israel.

< Balam 8 >