< Balam 5 >
1 Ku olwo Debola ne Baraki mutabani wa Abinoamu ne bayimba bwe bati:
Cecineruntque Debbora et Barac filius Abinoem in illo die, dicentes:
2 “Mutendereze Mukama kubanga mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe n’abantu ne beewaayo nga baagala.
Qui sponte obtulistis de Israel animas vestras ad periculum, benedicite Domino.
3 “Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira; nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama; nze nnaayimbira Mukama Katonda wa Isirayiri.
Audite reges, auribus percipite principes: Ego sum, ego sum quæ Domino canam, psallam Domino Deo Israel.
4 “Mukama, bwe wava e Seyiri, bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala, ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu. Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
Domine cum exires de Seir, et transires per regiones Edom, terra mota est, cælique ac nubes distillaverunt aquis.
5 Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi, ne lukankana mu maaso Mukama Katonda w’Abayisirayiri.
Montes fluxerunt a facie Domini, et Sinai a facie Domini Dei Israel.
6 “Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi, ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene, baatambuliranga mu mpenda.
In diebus Samgar filii Anath, in diebus Iahel quieverunt semitæ: et qui ingrediebantur per eas, ambulaverunt per calles devios.
7 Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo okutuusa nze Debola lwe nayimuka, nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
Cessaverunt fortes in Israel, et quieverunt: donec surgeret Debbora, surgeret mater in Israel.
8 Bwe beefunira abakulembeze abalala, entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri. Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?
Nova bella elegit Dominus, et portas hostium ipse subvertit: clypeus et hasta si apparuerint in quadraginta millibus Israel.
9 Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri, n’eri abantu abeewaayo nga baagala. Mutendereze Mukama.
Cor meum diligit principes Israel: qui propria voluntate obtulistis vos discrimini, benedicite Domino.
10 “Mukyogereko mmwe, abeebagala ku ndogoyi enjeru, mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo, nammwe abatambulira mu kkubo.
Qui ascenditis super nitentes asinos, et sedetis in iudicio, et ambulatis in via, loquimini.
11 Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi, nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu, ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri. “Awo abantu ba Mukama ne baserengeta, ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.
Ubi collisi sunt currus, et hostium suffocatus est exercitus, ibi narrentur iustitiæ Domini et clementia in fortes Israel: tunc descendit populus Domini ad portas, et obtinuit principatum.
12 Zuukuka, zuukuka Debola zuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba; golokoka, Baraki okulembere abawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.
Surge, surge Debbora, surge, surge, et loquere canticum: surge Barac, et apprehende captivos tuos fili Abinoem.
13 “Awo abakungu abaasigalawo ne baserengeta, abantu ba Mukama, ne baserengeta okulwanyisa ow’amaanyi.
Salvatæ sunt reliquiæ populi, Dominus in fortibus dimicavit.
14 Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu, nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo. Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta, ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
Ex Ephraim delevit eos in Amalec, et post eum ex Beniamin in populos tuos, o Amalec: de Machir principes descenderunt, et de Zabulon qui exercitum ducerent ad bellandum.
15 Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola; era Isakaali yali wamu ne Baraki. Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu. Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni, waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
Duces Issachar fuere cum Debbora, et Barac vestigia sunt secuti, qui quasi in præceps ac barathrum se discrimini dedit: diviso contra se Ruben, magnanimorum reperta est contentio.
16 Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga, okuwuliriza endere zebafuuyira endiga? Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni, waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
Quare habitas inter duos terminos, ut audias sibilos gregum? Diviso contra se Ruben, magnanimorum reperta est contentio.
17 Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani. N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki? Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja, ne babeera awali emyalo gyabwe.
Galaad trans Iordanem quiescebat, et Dan vacabat navibus: Aser habitabat in littore maris, et in portubus morabatur.
18 Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe, era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.
Zabulon vero et Nephthali obtulerunt animas suas morti in regione Merome.
19 “Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki, bakabaka bajja ne balwana, bakabaka b’e Kanani baalwana. Naye tebaanyaga bintu.
Venerunt reges et pugnaverunt, pugnaverunt reges Chanaan in Thanach iuxta aquas Mageddo, et tamen nihil tulere prædantes.
20 Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu, zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
De cælo dimicatum est contra eos: stellæ manentes in ordine et cursu suo, adversus Sisaram pugnaverunt.
21 Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala, omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni. Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.
Torrens Cison traxit cadavera eorum, torrens Cadumim, torrens Cison: conculca anima mea robustos.
22 Awo embalaasi ne zijja nga zirigita era nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ez’amaanyi.
Ungulæ equorum ceciderunt, fugientibus impetu, et per præceps ruentibus fortissimis hostium.
23 Malayika wa Mukama n’agamba nti, ‘Mukolimire Merozi. Mukolimire nnyo ababeera e Merozi; kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama. Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa ab’amaanyi.’
Maledicite terræ Meroz, dixit Angelus Domini: maledicite habitatoribus eius, quia non venerunt ad auxilium Domini, in adiutorium fortissimorum eius.
24 “Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna! Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi, okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
Benedicta inter mulieres Iahel uxor Haber Cinæi, et benedicatur in tabernaculo suo.
25 Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata, era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.
Aquam petenti lac dedit, et in phiala principum obtulit butyrum.
26 Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono, n’ennyondo mu gwa ddyo, n’akomerera Sisera enkondo mu kyenyi n’eyita namu.
Sinistram manum misit ad clavum, et dexteram ad fabrorum malleos, percussitque Sisaram quærens in capite vulneri locum, et tempus valide perforans.
27 Amaanyi gaamuggwa n’agwa; yagwa ku bigere bya Yayeeri n’alambaala we yagwa we yafiira.
Inter pedes eius ruit: defecit, et mortuus est: volvebatur ante pedes eius, et iacebat exanimis et miserabilis.
28 “Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa; yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti ‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja? Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
Per fenestram respiciens, ululabat mater eius: et de cœnaculo loquebatur: Cur moratur regredi currus eius? Quare tardaverunt pedes quadrigarum illius?
29 Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu ne yeddamu yekka.
Una sapientior ceteris uxoribus eius, hæc socrui verba respondit:
30 ‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana, omuwala omu oba babiri buli musajja? Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala? Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’
Forsitan nunc dividit spolia, et pulcherrima feminarum eligitur ei: vestes diversorum colorum Sisaræ traduntur in prædam, et supellex varia ad ornanda colla congeritur.
31 “Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera. Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba ey’akavaayo mu maanyi gaayo.” Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.
Sic pereant omnes inimici tui Domine: qui autem diligunt te, sicut Sol in ortu suo splendet, ita rutilent. Quievitque Terra per quadraginta annos.