< Balam 3 >
1 Waliwo amawanga Mukama gaatazikiriza asobole okuyigiririzaako Abayisirayiri bonna abataamanya ntalo zonna ez’omu Kanani;
耶和华留下这几族,为要试验那不曾知道与迦南争战之事的以色列人,
2 Kino kiyaambe Abayisirayiri ab’omulembe omuggya abatalwanangako okukuguka mu by’entalo.
好叫以色列的后代又知道又学习未曾晓得的战事。
3 Ge gano: Abakungu abataano ab’Abafirisuuti, Abakanani bonna, Abasidoni, n’Abakiivi abaabeeranga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi.
所留下的就是非利士的五个首领和一切迦南人、西顿人,并住黎巴嫩山的希未人,从巴力·黑们山直到哈马口。
4 Era gaalekebwawo okugezesa Abayisirayiri obanga baligondera amateeka ga Mukama ge yalagira bajjajjaabwe ng’ayita mu Musa.
留下这几族,为要试验以色列人,知道他们肯听从耶和华借摩西吩咐他们列祖的诫命不肯。
5 Abayisirayiri ne babeeranga wamu n’Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abakiivi n’aba Yebusi.
以色列人竟住在迦南人、赫人、亚摩利人、比利洗人、希未人、耶布斯人中间,
6 Ne bawasanga abawala ab’omu mawanga ago era ne bafumbizanga bawala baabwe eri abalenzi b’omu mawanga ago ne basinzanga ne bakatonda baabwe.
娶他们的女儿为妻,将自己的女儿嫁给他们的儿子,并事奉他们的神。
7 Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne beerabira Mukama Katonda waabwe ne basinzanga Babaali ne Baasera.
以色列人行耶和华眼中看为恶的事,忘记耶和华—他们的 神,去事奉诸巴力和亚舍拉,
8 Noolwekyo Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri, kyeyava abawaayo okuwangulwa n’okufugibwa kabaka Kusanurisasaimu ow’e Mesopotamiya okumala emyaka munaana.
所以耶和华的怒气向以色列人发作,就把他们交在美索不达米亚王古珊·利萨田的手中。以色列人服事古珊·利萨田八年。
9 Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula erinnya lye Osunieri azaalibwa Kenezi muto wa Kalebu.
以色列人呼求耶和华的时候,耶和华就为他们兴起一位拯救者救他们,就是迦勒兄弟基纳斯的儿子俄陀聂。
10 Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri.
耶和华的灵降在他身上,他就作了以色列的士师,出去争战。耶和华将美索不达米亚王古珊·利萨田交在他手中,他便胜了古珊·利萨田。
11 Awo ne wayitawo emyaka ana ng’Abayisirayiri bali mu mirembe okutuusa ddala Osunieri mutabani wa Kenazi lwe yafa.
于是国中太平四十年。基纳斯的儿子俄陀聂死了。
12 Ate era Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama; kyeyava awa Eguloni kabaka wa Mowaabu amaanyi okubawangula olw’ebibi byabwe.
以色列人又行耶和华眼中看为恶的事,耶和华就使摩押王伊矶伦强盛,攻击以色列人。
13 Ne yegatta n’Abamoni n’Abamaleki ne balumba Abayisirayiri era ne babawambako ekibuga kyabwe eky’enkindu.
伊矶伦招聚亚扪人和亚玛力人,去攻打以色列人,占据棕树城。
14 Abayisirayiri ne bafugibwa Egulooni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana.
于是以色列人服事摩押王伊矶伦十八年。
15 Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula ayitibwa Ekudi ow’enkonokono mutabani wa Gera ow’omu kika kya Benyamini; era oyo Abayisirayiri gwe baatuma okutwala ekirabo kyabwe eri Egulooni kabaka wa Mowaabu.
以色列人呼求耶和华的时候,耶和华就为他们兴起一位拯救者,就是便雅悯人基拉的儿子以笏;他是左手便利的。以色列人托他送礼物给摩押王伊矶伦。
16 Ekudi ne yeewesezza ekitala ekirina obwogi erudda n’erudda nga kiweza sentimita ana mu ttaano obuwanvu. N’akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze.
以笏打了一把两刃的剑,长一肘,带在右腿上衣服里面。
17 N’atwalira Egulooni kabaka wa Mowaabu ekirabo. Egulooni yali musajja munene nnyo.
他将礼物献给摩押王伊矶伦(原来伊矶伦极其肥胖);
18 Awo bwe yamala okuwaayo ekirabo, n’agobawo abajja bakyetisse.
以笏献完礼物,便将抬礼物的人打发走了,
19 Ekudi n’akoma awaali amayinja amoole kumpi ne Girugaali n’addayo eri Egulooni n’amugamba nti, “Nnina obubaka obw’ekyama gy’oli.” Kabaka n’agobawo bonna be yali nabo era ne bamuviira.
自己却从靠近吉甲凿石之地回来,说:“王啊,我有一件机密事奏告你。”王说:“回避吧!”于是左右侍立的人都退去了。
20 Awo kabaka bwe yali ng’atudde bw’omu mu nnyumba ye, mu kisenge ekya waggulu ekiweweevu, Ekudi n’amusemberera era n’amugamba nti, “Nnina obubaka obuva eri Katonda gy’oli.” Kabaka n’asituka mu ntebe ye.
以笏来到王面前;王独自一人坐在凉楼上。以笏说:“我奉 神的命报告你一件事。”王就从座位上站起来。
21 Ekudi n’asowolayo ekitala kye n’omukono ogwa kkono ng’akiggya ku kisambi kye ekya ddyo n’akisogga kabaka mu lubuto;
以笏便伸左手,从右腿上拔出剑来,刺入王的肚腹,
22 ekitala kyonna n’ekiti kyakyo ne kimubuliramu, amasavu ne gakibuutikira era n’atayinza na kukisowolamu. Ebyenda bya kabaka ne biyiika.
连剑把都刺进去了。剑被肥肉夹住,他没有从王的肚腹拔出来,且穿通了后身。
23 Ekudi n’asibawo oluggi oluyingira mu kisenge ekya waggulu, n’afulumira mu mulyango ogw’emanju.
以笏就出到游廊,将楼门尽都关锁。
24 Bwe yali nga yakafuluma abaweereza ba kabaka ne bajja. Bwe baalaba nga enzigi nsibe ne balowooza nti, “Kabaka ateekwa okuba ng’agenze manju.”
以笏出来之后,王的仆人到了,看见楼门关锁,就说:“他必是在楼上大解。”
25 Bwe baakoowa okulindirira ne baddira ekisumuluzo ne basumululawo, baagenda okulaba ng’omulambo gwa mukama waabwe gugudde bugazi mu kisenge.
他们等烦了,见仍不开楼门,就拿钥匙开了,不料,他们的主人已死,倒在地上。
26 Mu kiseera kye baamala nga balindirira kabaka okuggulawo Ekudi mwe yaddukira n’ayita ku mayinja amoole n’atuuka e Seyiri.
他们耽延的时候,以笏就逃跑了,经过凿石之地,逃到西伊拉;
27 Bwe yatuuka mu kitundu eky’ensozi ekya Efulayimu n’akiyitamu nga bw’afuuwa ekkondeere, Abayisirayiri ne bamwegattako ye nga abakulembeddemu.
到了,就在以法莲山地吹角。以色列人随着他下了山地,他在前头引路,
28 N’abagamba nti, “Mungoberere kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku balabe bammwe Abamowaabu.” Ne bamugoberera ne bawamba ekifo awasomokerwa ekyali kyolekedde aba Mowaabu ku mugga Yoludaani; Abayisirayiri ne bataganya muntu yenna kusomoka.
对他们说:“你们随我来,因为耶和华已经把你们的仇敌摩押人交在你们手中。”于是他们跟着他下去,把守约旦河的渡口,不容摩押一人过去。
29 Ne batta ku basajja abalwanyi abazira aba Mowaabu mutwalo mulamba; teri n’omu ku bo yasimattuka.
那时击杀了摩押人约有一万,都是强壮的勇士,没有一人逃脱。
30 Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemulula Abamowaabu ku lunaku olwo. Okuva ku olwo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.
这样,摩押就被以色列人制伏了。国中太平八十年。
31 Omukulembeze eyaddira Ekudi mu bigere ye Samugali mutabani wa Anasi era naye yanunula Abayisirayiri. Ye wuuyo eyatta abasajja Abafirisuuti lukaaga nga yeeyambisa omuwunda gwe bagobesa ente nga zirima.
以笏之后,有亚拿的儿子珊迦,他用赶牛的棍子打死六百非利士人。他也救了以色列人。