< Balam 12 >
1 Abasajja ba Efulayimu ne bayitibwa okusomoka okulaga mu Zafoni. Ne bagamba Yefusa nti, “Lwaki wagenda okulwanyisa abaana ba Amoni, n’otatuyita kugenda naawe? Tugenda kukwokera mu nnyumba yo.”
2 Yefusa n’abaddamu nti, “Nze n’abantu bange twatawaana nnyo okulwanyisa abaana ba Amoni, era nabakoowoola mujje mutubeere, naye temwajja kutubeera kuva mu mukono gwabwe.
3 Bwe nalaba nga temuzze kutubeera, ne nteeka obulamu bwange mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n’abaana ba Amoni, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwange. Kaakano kiki ekibaleeta gye ndi okulwana nange leero?”
4 Awo Yefusa n’akuŋŋaanya abantu b’e Gireyaadi bonna, ne balwanyisa Efulayimu. Abasajja ab’e Gireyaadi baabalwanyisa kubanga Efulayimu baayogera nti, “Mmwe muli bakyewaggula ba Efulayimu ab’e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu ne mu Manase.”
5 Ab’e Gireyaadi ne bawamba ebifo bya Yoludaani okusomokerwa okutuuka mu Efulayimu, era bwe waabangawo ku bakomawo aba Efulayimu eyayagalanga okusomoka, abasajja ab’e Gireyaadi nga bamubuuza nti, “Oli Mwefulayimu?”
6 Bwe yeegananga, nga bamugamba ayogere nti, “Shibbolesi.” Bwe yayogeranga nti, “Sibbolesi,” kubanga teyayinzanga kukyogera bulungi, ng’akwatibwa era ng’attibwa awo awasomokerwa ku Yoludaani. Mu biro ebyo, mu Efulayimu ne mufaamu abantu emitwalo ena mu enkumi bbiri.
7 Awo Yefusa n’alamula Isirayiri okumala emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n’afa, n’aziikibwa mu kimu ku kibuga bya Gireyaadi.
8 Oluvannyuma lwa Yefusa, Ibuzaani ow’e Besirekemu n’alamula Isirayiri.
9 Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu, n’abaana aboobuwala amakumi asatu. Bawala be n’abafumbiza abantu abataali ba kika kye, ne batabani be n’abawasiza abawala abataali ba kika kye. N’akulembera Isirayiri okumala emyaka musanvu.
10 Ibuzaani n’afa, n’aziikibwa mu Besirekemu.
11 Oluvannyuma lwa Ibuzaani, Eroni Omuzebbulooni, n’alamula Isirayiri okumala emyaka kkumi.
12 Eroni Omuzebbulooni n’afa, n’aziikibwa mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.
13 Awo oluvannyuma lwa Eroni, Abudoni mutabani wa Kereri Omupirasoni n’alamula Isirayiri.
14 Yalina abaana aboobulenzi amakumi ana, n’abazzukulu amakumi asatu abeebagalanga endogoyi nsanvu. Yalamula Isirayiri okumala emyaka munaana.
15 Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n’afa, n’aziikibwa mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey’Abamaleki ey’ensozi.