< Balam 10 >
1 Awo oluvannyuma lwa Abimereki, ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, era muzzukulu wa Dodo, omusajja wa Isakaali eyajja okulokola Isirayiri, eyabeeranga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi.
Post Abimelech surrexit dux in Israël Thola filius Phua patrui Abimelech, vir de Issachar, qui habitavit in Samir montis Ephraim:
2 N’akulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu esatu, n’aziikibwa mu Samiri.
et judicavit Israëlem viginti et tribus annis, mortuusque est, ac sepultus in Samir.
3 Oluvannyuma lw’oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi, eyakulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri.
Huic successit Jair Galaadites, qui judicavit Israël per viginti et duos annos,
4 Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu abeebagalanga endogoyi amakumi asatu, era baafuganga ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gireyaadi ebiyitibwa Kavosu Yayiri n’okutuusa leero.
habens triginta filios sedentes super triginta pullos asinarum, et principes triginta civitatum, quæ ex nomine ejus sunt appellatæ Havoth Jair, id est, oppida Jair, usque in præsentem diem, in terra Galaad.
5 Yayiri n’afa n’aziikibwa mu Kamoni.
Mortuusque est Jair, ac sepultus in loco cui est vocabulum Camon.
6 Abayisirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga baweereza Babaali ne Asutoleesi ne bakatonda ab’e Busuuli, ne bakatonda ab’e Sidoni, ne bakatonda ab’e Mowaabu, ne bakatonda ab’abaana ba Amoni, ne bakatonda b’Abafirisuuti, ne bava ku Mukama ne batamuweereza.
Filii autem Israël peccatis veteribus jungentes nova, fecerunt malum in conspectu Domini, et servierunt idolis, Baalim et Astaroth, et diis Syriæ ac Sidonis et Moab et filiorum Ammon et Philisthiim: dimiseruntque Dominum, et non coluerunt eum.
7 Mukama n’anyiigira Isirayiri, n’abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abaana ba Amoni,
Contra quos Dominus iratus, tradidit eos in manus Philisthiim et filiorum Ammon.
8 abaanyigiriza abaana ba Isirayiri, era ne babajooga okumala emyaka kkumi na munaana. Baanyigiriza abaana ba Isirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi y’Abamoli eri mu Gireyaadi.
Afflictique sunt, et vehementer oppressi per annos decem et octo, omnes qui habitabant trans Jordanem in terra Amorrhæi, qui est in Galaad:
9 Abaana ba Amoni nabo ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda ne Benyamini, n’ennyumba ya Efulayimu. Isirayiri ne yeeraliikirira nnyo.
in tantum ut filii Ammon, Jordane transmisso, vastarent Judam et Benjamin et Ephraim: afflictusque est Israël nimis.
10 Awo abaana ba Isirayiri ne bakaabira Mukama nga bagamba nti, “Ddala ddala twasobya, ne tuva ku Katonda waffe, ne tuweereza Babaali.”
Et clamantes ad Dominum, dixerunt: Peccavimus tibi, quia dereliquimus Dominum Deum nostrum, et servivimus Baalim.
11 Mukama Katonda n’addamu abaana ba Isirayiri nti, “Abamisiri n’Abamoli, n’abaana ba Amoni, n’Abafirisuuti,
Quibus locutus est Dominus: Numquid non Ægyptii et Amorrhæi, filiique Ammon et Philisthiim,
12 n’Abasidoni, n’Abamaleki, n’Abamawoni, bwe baabanyigiriza ne munkowoola, sabalokola okuva mu mukono gwabwe?
Sidonii quoque et Amalec et Chanaan oppresserunt vos, et clamastis ad me, et erui vos de manu eorum?
13 Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala, noolwekyo sigenda kubalokola nate.
Et tamen reliquistis me, et coluistis deos alienos: idcirco non addam ut ultra vos liberem:
14 Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.”
ite, et invocate deos quos elegistis: ipsi vos liberent in tempore angustiæ.
15 Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna ky’onoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano.
Dixeruntque filii Israël ad Dominum: Peccavimus, redde tu nobis quidquid tibi placet: tantum nunc libera nos.
16 Ne baggya wakati mu bo bakatonda abalala, ne baweereza Mukama Katonda. Mukama n’alumwa olw’ennaku ya Isirayiri.”
Quæ dicentes, omnia de finibus suis alienorum deorum idola projecerunt, et servierunt Domino Deo: qui doluit super miseriis eorum.
17 Awo abaana ba Amoni ne basiisira mu Gireyaadi, n’abaana ba Isirayiri nabo ne basiisira mu Mizupa.
Itaque filii Ammon conclamantes in Galaad fixere tentoria, contra quos congregati filii Israël in Maspha castrametati sunt.
18 Abakulembeze b’abantu mu Gireyaadi ne bagambagana nti, “Omusajja anaasooka okulumba abaana ba Amoni, ye anaabeera omukulembeze w’abatuuze b’omu Gireyaadi.”
Dixeruntque principes Galaad singuli ad proximos suos: Qui primus ex nobis contra filios Ammon cœperit dimicare, erit dux populi Galaad.