< Balam 1 >
1 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa, Abayisirayiri ne babuuza Mukama Katonda nti, “Ani mu ffe alisooka okwaŋŋanga Abakanani okubalwanyisa?”
Efter Josuas Død adspurgte Israeliterne HERREN og sagde: »Hvem af os skal først drage op til Kamp mod Kana'anæerne?«
2 Mukama Katonda n’abaddamu nti Yuda yalisooka, era laba mbawadde obuwanguzi ku Bakanani.
HERREN svarede: »Det skal Juda; se, jeg giver Landet i hans Haand!«
3 Abasajja ba Yuda ne bagamba baganda baabwe abasajja ba Simyoni nti, “Tugende ffenna mu kitundu kyaffe ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani, era naffe tuligenda nammwe mu kitundu ekyabaweebwa.” Awo ne bagenda bonna.
Juda sagde da til sin Broder Simeon: »Drag op med mig i min Lod og lad os sammen kæmpe med Kana'anæerne, saa skal jeg ogsaa drage med dig ind i din Lod!« Saa gik da Simeon med ham.
4 Yuda n’alumba Abakanani n’Abaperezi e Bezeki era Mukama n’amuwa obuwanguzi n’abattamu abasajja omutwalo mulamba.
Juda drog nu op, og HERREN gav Kana'anæerne og Perizziterne i deres Haand, saa de slog dem i Bezek, 10 000 Mand.
5 Ne bagwikiriza Adonibezeki mu Bezeki; ne bamulwanyisa era ne batta abasajja be.
Og da de stødte paa Adonibezek i Bezek, angreb de ham og slog Kana'anæerne og Perizziterne.
6 Naye Adonibezeki ne yeemulula, ne bamuwondera, ne bamukwata era ne bamusalako engalo ze ensajja n’ebigere ebisajja.
Adonibezek flygtede, men de satte efter ham, og da de havde grebet ham, huggede de Tommelfingrene og Tommeltæerne af ham.
7 Adonibezeki ne yejjusa n’agamba nti, “Nga bakabaka ensanvu abaasalibwako engalo zaabwe ensajja n’ebigere ebisajja, bwe baalondalondanga obukunkumuka wansi w’emmeeza yange, nange bwe ŋŋenda okuba. Kye nakola bannange Katonda nange akintusizzaako.” Ne bamutwala e Yerusaalemi n’afiira eyo.
Da sagde Adonibezek: »Halvfjerdsindstyve Konger med afhugne Tommelfingre og Tommeltæer havde jeg stadig til at sanke Smuler under mit Bord; hvad jeg har gjort, gengælder Gud mig!« Derpaa førte man ham til Jerusalem, og der døde han.
8 Abasajja ba Yuda ne balumba ekibuga Yerusaalemi ne bakiwamba ne batta abantu baamu n’ekitala, oluvannyuma ne bakyokya.
Og Judæerne angreb og indtog Jerusalem, huggede Indbyggerne ned og stak Ild paa Byen.
9 Awo abasajja ba Yuda ne balumba Abakanani abaabeeranga mu nsozi ne mu biwonvu ne mu bukiika obwa ddyo.
Senere drog Judæerne ned til Kamp mod Kana'anæerne i Bjergene, i Sydlandet og i Lavlandet.
10 Ate Yuda n’alumba Abakanani abaabeeranga e Kebbulooni (edda ekyayitibwanga Kiriasualuba), mu lutalo olwali eyo mwe battira Sesayi, Akimaani ne Talumaayi.
Og Juda drog mod Kana'anæerne i Hebron — Hebron hed fordum Kirjat-Arba — og slog Sjesjaj, Ahiman og Talmaj.
11 Ate n’avaayo n’alumba abaabeeranga e Debiri edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi.
Derfra drog han op mod Indbyggerne i Debir, der fordum hed Kirjat-Sefer.
12 Awo Kalebu n’agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa okumuwasa.”
Da sagde Kaleb: »Den, som slaar Kirjat-Sefer og indtager det, ham giver jeg min Datter Aksa til Hustru!«
13 Osunieri, omwana wa Kenazi muto wa Kalebu n’akiwamba bw’atyo n’aweebwa Akusa okumuwasa.
Og da Kenizziten Otniel, Kalebs yngre Broder, indtog det, gav han ham sin Datter Aksa til Hustru.
14 Awo Osunieri bwe yamala okuwasa Akusa n’amufukuutirira asabe kitaawe ennimiro; Akusa n’addayo eri kitaawe, bwe yali ava ku ndogoyi, Kalebe n’amubuuza nti, “Oyagala ki?”
Men da hun kom til ham, æggede han hende til at bede sin Fader om Agerland. Hun sprang da ned af Æselet, og Kaleb spurgte hende: »Hvad vil du?«
15 N’amuddamu nti, “Wampa ensi nkalu ey’obukiikaddyo naye kaakano nnyongera ekitundu ekirimu n’enzizi ez’amazzi.” Kalebu n’amuwa ekitundu ekirimu enzizi ekyengulu n’ekyemmanga.
Hun svarede: »Giv mig en Velsignelse! Siden du har bortgiftet mig i det tørre Sydland, maa du give mig Vandkilder!« Da gav Kaleb hende de øvre og de nedre Vandkilder.
16 Abazzukulu b’Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bava mu kibuga eky’enkindu ne bagendera wamu n’abasajja ba Yuda ne batuuka mu ddungu lya Yuda eryali mu bukiikaddyo obwa Aladi ne babeera wamu n’abantu baayo.
Moses's Svigerfaders, Keniten Hobabs, Sønner, drog sammen med Judæerne op fra Palmestaden til Arads Ørken og bosatte sig hos Amalekiterne.
17 Awo Yuda n’agenda ne muganda we Simyoni ne balumba Abakanani abaabeeranga e Zefasi, ne babazikiririza ddala era ne bakituuma erinnya Koluma.
Juda drog derpaa ud med sin Broder Simeon, og de slog Kana'anæerne, som boede i Zefat, og lagde Band paa Byen; derfor blev den kaldt Horma.
18 Era Yuda n’awamba Gaza, Asukulooni ne Ekuloni n’ebitundu ebyetoolodde ebibuga bino.
Og Juda indtog Gaza med dets Omraade, Askalon med dets Omraade og Ekron med dets Omraade.
19 Mukama yali wamu ne Yuda n’awangula abantu abaabeeranga mu nsozi okuggyako yalemwa okuwangula abantu abaabeeranga mu kiwonvu kubanga baalina amagaali ag’ekyuma.
Og HERREN var med Juda, saa han tog Bjerglandet i Besiddelse; Lavlandets Indbyggere kunde han nemlig ikke drive bort, fordi de havde Jernvogne.
20 Kebbulooni n’ekiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, n’akifuumulamu batabani ba Anaki abasatu.
Kaleb gav de Hebron, som Moses havde sagt. Og han drev de tre Anaksønner bort derfra.
21 Naye abasajja ba Benyamini tebaagoba Bayebusi abaabeeranga mu Yerusaalemi noolwekyo Abayebusi babeera wamu n’abasajja ba Benyamini mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.
Men Jebusiterne, som boede i Jerusalem, fik Judæerne ikke drevet bort, og Jebusiterne bor den Dag i Dag i Jerusalem sammen med Judæerne.
22 N’abasajja ba Yusufu ne balumba Beseri era Mukama yali wamu nabo.
Men ogsaa Josefs Hus drog op og gik mod Betel; og HERREN var med dem.
23 Abasajja ba Yusufu ne batuma abakessi okuketta ekibuga ky’e Beseri edda ekyayitibwanga Luzi.
Da Josefs Hus udspejdede Betel — Byen hed fordum Luz —
24 Abakessi bwe baalaba omusajja ng’ava mu kibuga ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde tulage omulyango oguyingira mu kibuga naffe tunaakuyisa bulungi.”
fik Spejderne Øje paa en Mand, der gik ud af Byen; og de sagde til ham: »Vis os, hvor vi kan komme ind i Byen, saa vil vi skaane dig!«
25 Awo bwe yabalaga awayingirirwa, ne bazikiriza n’ekitala abantu b’omu kibuga ekyo; ne batakola kabi konna ku musajja oyo n’ab’omu nnyumba ye bonna.
Da viste han dem, hvor de kunde komme ind i Byen. Derpaa huggede de dens Indbyggere ned, men Manden og hele hans. Slægt lod de drage bort,
26 Omusajja oyo n’asengukira mu nsi y’Abakiiti, n’azimbayo n’ekibuga n’akituuma Luzi, n’okutuusa kaakano bwe kiyitibwa.
og Manden begav sig til Hetiternes Land og byggede en By, som han kaldte Luz; og det hedder den endnu den Dag i Dag.
27 Ye Manase teyagoba bantu abaabeeranga mu Besuseani, ne mu Taanaki ne mu Poliyadde abaabeeranga mu Ibuleamu, ne mu Megiddo, n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Naye Abakanani ne bagaanira ddala okuva mu nsi eyo.
Men Indbyggerne i Bet-Sjean og dets Smaabyer og i Ta'anak og dets Smaabyer, Indbyggerne i Dor og dets Smaabyer, i Jibleam og dets Smaabyer og i Megiddo og dets Smaabyer fik Manasse ikke drevet bort; det lykkedes Kana'anæerne at blive boende i disse Egne.
28 Awo Abayisirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu mu kifo ky’okugobwa mu nsi eyo.
Da Israeliterne blev de stærkeste, gjorde de Kana'anæerne til Hoveriarbejdere, men drev dem ikke bort.
29 Era ne Efulayimu teyagoba Bakanani naye yabakkiriza okubeera awamu naye mu Gezeri.
Efraim fik ikke Kana'anæerne, som boede i Gezer, drevet bort; men Kana'anæerne blev boende midt iblandt dem i Gezer.
30 Era ne Zebbulooni teyagoba abantu abaabeeranga mu Kitulooni yadde abaabeeranga mu Nakaloli, naye Abakanani bano n’abakkiriza okubeeranga awamu naye nga bwe bamusasula omusolo.
Zebulon fik ikke Indbyggerne i Kitron og Nahalol drevet bort; men Kana'anæerne blev boende midt iblandt dem og blev Hoveriarbejdere.
31 Aseri teyagoba bantu abaabeeranga mu Akko yadde ab’omu Sidoni n’ab’omu Alaba n’ab’omu Akuzibu n’ab’omu Keruba n’ab’omu Afiki yadde ab’omu Lekobu,
Aser fik ikke Indbyggerne i Akko drevet bort, ej heller Indbyggerne i Zidon, Mahalab, Akzib, Afik og Rehob.
32 naye Abakanani ne bakkirizibwa okubeera awamu n’abantu ba Aseri.
Men Aseriterne bosatte sig midt iblandt Kana'anæerne, der boede i Landet, thi de magtede ikke at drive dem bort.
33 Nafutaali teyagoba bantu abaabeeranga mu Besusemesi ne mu Besuanasi naye n’abakkirizanga okubeeranga awamu n’abantu be nga bwe bamusasula omusolo.
Naftali fik ikke Indbyggerne i Bet-Sjemesj og Bet-Anat drevet bort, men bosatte sig midt iblandt Kana'anæerne, der boede i Landet: Men Indbyggerne i Bet-Sjemesj og Bet-Anat blev deres Hoveriarbejdere.
34 Bo abasajja ba Ddaani tebaasobola kuwamba nsi y’Abamoli ey’omu kiwonvu era Abamoli ne babafuumuula ne baabazaayo mu nsozi.
Amoriterne trængte Daniterne op i Bjergene og lod dem ikke komme ned i Lavlandet;
35 Newaakubadde Abamoli baalwanirira nnyo okubeera ku lusozi Keresi, mu Ayalooni ne Saalubimu naye ab’omu kika kya Yusufu ne babafufuggaza era ne babawaliriza okubawanga omusolo.
og det lykkedes Amoriterne at blive boende i Har-Heres, Ajjalon og Sja'albim. Men senere, da Josefs Hus fik Overtaget, blev de Hoveriarbejdere.
36 Ensalo y’Abamoli yayitanga awo ng’oyambuka Akulabbimu n’okweyongerayo.
Edomiternes Landemærke strakte sig fra Akrabbimpasset til Sela og højere op.