< Yoswa 1 >

1 Awo Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa mutabani wa Nuuni, eyali omubeezi wa Musa nti,
ויהי אחרי מות משה--עבד יהוה ויאמר יהוה אל יהושע בן נון משרת משה לאמר
2 “Musa omuweereza wange afudde, kale kaakano weeteeketeeke osomoke omugga guno Yoludaani ggwe awamu n’abantu bano bonna mulyoke muyingire mu nsi eno gye mbawa mmwe abaana ba Isirayiri.
משה עבדי מת ועתה קום עבר את הירדן הזה אתה וכל העם הזה אל הארץ אשר אנכי נתן להם לבני ישראל
3 Nga bwe nasuubiza Musa, buli we munaalinnyanga ekigere, mbawaddewo.
כל מקום אשר תדרך כף רגלכם בו--לכם נתתיו כאשר דברתי אל משה
4 Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, n’ensi ey’Abakiiti n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba.
מהמדבר והלבנון הזה ועד הנהר הגדול נהר פרת כל ארץ החתים ועד הים הגדול מבוא השמש--יהיה גבולכם
5 Tewali n’omu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ez’obulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira.
לא יתיצב איש לפניך כל ימי חייך כאשר הייתי עם משה אהיה עמך לא ארפך ולא אעזבך
6 “Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe oligabira abantu bano ensi gye nasuubiza edda bajjajjaabwe.
חזק ואמץ כי אתה תנחיל את העם הזה את הארץ אשר נשבעתי לאבותם לתת להם
7 Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna by’okola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gy’onoogendanga.
רק חזק ואמץ מאד לשמר לעשות ככל התורה--אשר צוך משה עבדי אל תסור ממנו ימין ושמאול למען תשכיל בכל אשר תלך
8 Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.
לא ימוש ספר התורה הזה מפיך והגית בו יומם ולילה למען תשמר לעשות ככל הכתוב בו כי אז תצליח את דרכך ואז תשכיל
9 Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga.”
הלוא צויתיך חזק ואמץ אל תערץ ואל תחת כי עמך יהוה אלהיך בכל אשר תלך
10 Bw’atyo ne Yoswa n’alagira abakulembeze b’Abayisirayiri nti,
ויצו יהושע את שטרי העם לאמר
11 “Muyite mu lusiisira lwonna nga mutegeeza abantu bonna nti, ‘Mwesibire entanda kubanga mu nnaku ssatu mulisomoka omugga guno Yoludaani mulyoke mugabane ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa.’”
עברו בקרב המחנה וצוו את העם לאמר הכינו לכם צידה כי בעוד שלשת ימים אתם עברים את הירדן הזה לבוא לרשת את הארץ אשר יהוה אלהיכם נתן לכם לרשתה
12 Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni, n’ab’ekika kya Gaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase nti,
ולראובני ולגדי ולחצי שבט המנשה--אמר יהושע לאמר
13 “Mujjukire omuweereza wa Mukama Musa kye yabalagira ng’agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky’okuwummuliramu era alibawa ensi eno.’
זכור את הדבר אשר צוה אתכם משה עבד יהוה לאמר יהוה אלהיכם מניח לכם ונתן לכם את הארץ הזאת
14 Bakazi bammwe, n’abaana bammwe abato balisigala wano awamu n’amagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu n’okubalwanirira,
נשיכם טפכם ומקניכם ישבו בארץ אשר נתן לכם משה בעבר הירדן ואתם תעברו חמשים לפני אחיכם כל גבורי החיל ועזרתם אותם
15 okutuusa baganda bammwe abo nabo Mukama lw’alibawa ensi eyo n’abatebenkeza. N’oluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.”
עד אשר יניח יהוה לאחיכם ככם וירשו גם המה את הארץ אשר יהוה אלהיכם נתן להם ושבתם לארץ ירשתכם וירשתם אותה אשר נתן לכם משה עבד יהוה בעבר הירדן מזרח השמש
16 Awo ne baanukula Yoswa nti, “Byonna by’otukalaatidde tunaabikola era tunaagenda yonna gy’onootusindika.
ויענו את יהושע לאמר כל אשר צויתנו נעשה ואל כל אשר תשלחנו נלך
17 Nga bwe twagonderanga Musa mu byonna naawe bwe tunaakugonderanga tutyo; Mukama Katonda wo abeerenga naawe nga bwe yabeeranga ne Musa.
ככל אשר שמענו אל משה כן נשמע אליך רק יהיה יהוה אלהיך עמך כאשר היה עם משה
18 Buli anaajeemeranga ebigambo byo n’atabiwuliriza anattibwanga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
כל איש אשר ימרה את פיך ולא ישמע את דבריך לכל אשר תצונו--יומת רק חזק ואמץ

< Yoswa 1 >