< Yoswa 4 >
1 Awo Abayisirayiri bonna bwe baamala okusomoka omugga Yoludaani, Mukama n’agamba Yoswa nti,
國民盡都過了約旦河,耶和華就對約書亞說:
2 “Yungula abasajja kkumi na babiri mu buli kika ng’olondamu omu omu.”
「你從民中要揀選十二個人,每支派一人,
3 Obakuutire nti, “Mulonde amayinja kkumi n’abiri nga mugaggya wakati mu mugga Yoludaani awo wennyini bakabona we balinnye ebigere byabwe, mugende nago okutuukira ddala we munaasula ekiro kino.”
吩咐他們說:『你們從這裏,從約旦河中、祭司腳站定的地方,取十二塊石頭帶過去,放在你們今夜要住宿的地方。』」
4 Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri be yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abagamba nti,
於是,約書亞將他從以色列人中所預備的那十二個人,每支派一人,都召了來。
5 “Mukulembere mu maaso g’Essanduuko ya Mukama Katonda wammwe era buli omu ku mmwe alonde ejjinja limu ng’aliggya mu mugga guno Yoludaani alyetikke ku kibegabega kye.
對他們說:「你們下約旦河中,過到耶和華-你們上帝的約櫃前頭,按着以色列人十二支派的數目,每人取一塊石頭扛在肩上。
6 Kano kalyoke kababeerere akabonero gye muli era mu mirembe ejijja, abaana bammwe bwe balibabuuza amayinja gano kye gategeeza,
這些石頭在你們中間可以作為證據。日後,你們的子孫問你們說:『這些石頭是甚麼意思?』
7 mulibagamba nti essanduuko y’Endagaano ya Mukama bwe yali ng’esomosebwa omugga Yoludaani, amazzi gaagwo ne geetuuma ng’ogusenge okutuusa Essanduuko bwe yamala okuyisibwawo. Kale amayinja gano, Abayisirayiri galibabeerera ekijjukizo emirembe gyonna.”
你們就對他們說:『這是因為約旦河的水在耶和華的約櫃前斷絕;約櫃過約旦河的時候,約旦河的水就斷絕了。這些石頭要作以色列人永遠的紀念。』」
8 Abasajja Abayisirayiri ne bakola nga Yoswa bwe yabakuutira, ne balonda amayinja kkumi n’abiri nga bagaggya mu mugga Yoludaani ng’omuwendo gw’ebika by’Abayisirayiri bwe gwali. Ne bagasitula okugatuusiza ddala we baali bagenda okusula nga Mukama bwe yagamba Yoswa.
以色列人就照約書亞所吩咐的,按着以色列人支派的數目,從約旦河中取了十二塊石頭,都遵耶和華所吩咐約書亞的行了。他們把石頭帶過去,到他們所住宿的地方,就放在那裏。
9 Yoswa n’asimba amayinja kkumi n’abiri mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey’Endagaano we baalinnya era we gali ne kaakano.
約書亞另把十二塊石頭立在約旦河中,在抬約櫃的祭司腳站立的地方;直到今日,那石頭還在那裏。
10 Bakabona abaasitula Essanduuko ne bayimirira wakati mu Yoludaani okutuusa nga Abayisirayiri bamaze okutuukiriza byonna Mukama bye yabalagira ng’ayita mu Musa ne Yoswa. Abantu bonna ne basomoka bunnambiro.
抬約櫃的祭司站在約旦河中,等到耶和華曉諭約書亞吩咐百姓的事辦完了,是照摩西所吩咐約書亞的一切話。 於是百姓急速過去了。
11 Abantu bonna nga bamaze okusomoka, bakabona ne basomosa Essanduuko ya Mukama abantu bonna nga babayeegese amaaso.
眾百姓盡都過了河,耶和華的約櫃和祭司就在百姓面前過去。
12 Awo abasajja ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne basomoka ne bayita ku Bayisirayiri bonna nga babagalidde ebyokulwanyisa nga Musa bwe yabagamba,
呂便人、迦得人、瑪拿西半支派的人都照摩西所吩咐他們的,帶着兵器在以色列人前頭過去。
13 bonna abaali bambalidde ebyokulwanyisa baali emitwalo ng’ena mu maaso ga Mukama Katonda, olwo ne boolekera eyali olutalo mu lusenyi lw’e Yeriko.
約有四萬人都準備打仗,在耶和華面前過去,到耶利哥的平原,等候上陣。
14 Ku lunaku olwo Mukama n’agulumiza nnyo Yoswa mu maaso g’Abayisirayiri bonna, ne bamussaamu ekitiibwa ennaku zonna ez’obulamu bwe nga bwe baakolanga Musa.
當那日,耶和華使約書亞在以色列眾人眼前尊大。在他平生的日子,百姓敬畏他,像從前敬畏摩西一樣。
15 Awo Mukama n’agamba Yoswa nti,
耶和華曉諭約書亞說:
16 “Lagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Obujulirwa baveeyo mu mugga.”
「你吩咐抬法櫃的祭司從約旦河裏上來。」
17 Bw’atyo Yoswa n’alagira bakabona nti, “Muveeyo mu mugga Yoludaani.”
約書亞就吩咐祭司說:「你們從約旦河裏上來。」
18 Bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama olwalinnya ebigere byabwe ku lukalu, amazzi gonna aga Yoludaani ne gakomawo mu kkubo lyago n’okwanjaala ne ganjaala nga bulijjo.
抬耶和華約櫃的祭司從約旦河裏上來,腳掌剛落旱地,約旦河的水就流到原處,仍舊漲過兩岸。
19 Bwe batyo Abayisirayiri ne basitula okuva ku Yoludaani ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’olubereberye ne batuuka e Girugaali ne basiisira awo kumpi n’ensalo ey’ebuvanjuba eya Yeriko.
正月初十日,百姓從約旦河裏上來,就在吉甲,在耶利哥的東邊安營。
20 Amayinja ekkumi n’abiri agaggibwa mu Yoludaani, Yoswa n’agasimba mu Girugaali.
他們從約旦河中取來的那十二塊石頭,約書亞就立在吉甲,
21 N’agamba Abayisirayiri nti, “Abaana bammwe bwe balibabuuza amakulu g’amayinja gano,
對以色列人說:「日後你們的子孫問他們的父親說:『這些石頭是甚麼意思?』
22 mulibaddamu nti, ‘Abayisirayiri bwe baali banaatera okusomoka omugga Yoludaani,
你們就告訴他們說:『以色列人曾走乾地過這約旦河;
23 Mukama n’akaliza omugga ogwo okutuusa nga bamaze okugusomoka ne kifaananako nga Mukama Katonda bwe yakola Ennyanja Emyufu.’
因為耶和華-你們的上帝在你們前面使約旦河的水乾了,等着你們過來,就如耶和華-你們的上帝從前在我們前面使紅海乾了,等着我們過來一樣,
24 Ebyo byabaawo abantu b’omu nsi yonna bategeere ng’omukono gwa Mukama gwa maanyi era nammwe mulyoke mutye Mukama Katonda wammwe emirembe gyonna.”
要使地上萬民都知道,耶和華的手大有能力,也要使你們永遠敬畏耶和華-你們的上帝。』」