< Yoswa 24 >
1 Awo Yoswa n’akuŋŋaanya ebika byonna ebya Isirayiri e Sekemu, n’ayita abakadde ba Isirayiri n’abakulembeze, abalamuzi era n’abakungu ba Isirayiri ne bajja babeere mu maaso ga Katonda.
茲にヨシユア、イスラエルの一切の支派をシケムに集めイスラエルの長老首領裁判人官吏などを招きよせて諸共に神の前に進みいで
2 Yoswa n’agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala w’omugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala.
而してヨシユアすべての民に言けるはイスラヱルの神ヱホバかく言たまふ汝らの遠祖すなはちアブラハムの父たりナホルの父たりしテラのごときは在昔河の彼旁に住て皆他神に事へたりしが
3 Ne ndyoka nziggya jjajjammwe Ibulayimu emitala w’omugga, ne mmukulembera okumuyisa mu nsi ye Kanani, ne mmuwa Isaaka, ne mwongerako ezzadde.
我なんぢらの先祖アブラハムを河の彼旁より携へ出してカナンの全地を導きてすぎその子孫を増んとして之にイサクを與へたり
4 Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Esawu ne mmuwa ensi ey’ensozi eya Seyiri. Naye Yakobo n’abaana be ne mbatwala e Misiri.
而してイサクにヤコブとエサウを與へエサウにセイル山を與へて獲させたりまたヤコブとその子等はエジプトに下れり
5 “‘Natuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Abamisiri n’ebibonoobono bye nabakola, oluvannyuma abaana ba Yakobo ne mbaggyayo.
我モーセおよびアロンを遣はしまた災禍をエジプトに降せり我がその中に爲たる所の事のごとし而して後われ汝らを導びき出せり
6 Bwe naggya bajjajjammwe e Misiri mwatuuka ku Nnyanja Emyufu. Abamisiri abaali mu magaali, n’abeebagadde embalaasi ne bawondera bajjajjammwe okutuuka ku Nnyanja Emyufu.
我なんぢらの父をエジプト入り導き出し汝ら海に至りしにエジプト人戰車と騎兵とをもて汝らの後を追て紅海に來りけるが
7 Naye bajjajjammwe bwe baakaabirira Mukama Katonda abayambe, nateeka ekizikiza wakati wammwe n’Abamisiri; Abamisiri n’abayiwako ennyanja n’ebabuutikira. Amaaso gammwe ne galaba kye nakola Abamisiri; ne mutambulira mu ddungu okumala ebbanga ddene.
汝らの父等ヱホバに呼はりければヱホバ黑暗を汝らとエジプト人との間に置き海を彼らの上に傾むけて彼らを淹へり汝らは我がエジプトにて爲たる事を目に觀たり斯て汝らは日ひさしく曠野に住をれり
8 “‘Nabaleeta mu nsi ey’Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, ne babalwanyisa, ne mbagabula mu mukono gwammwe. Ne nzikiriza Abamoli okubamalawo mu maaso gammwe ensi yaabwe ne ngigabira mmwe.
我またヨルダンの彼旁にすめるアモリ人の地に汝らを携へいれたり彼ら汝らと戰ひければ我かれらを汝らの手に付しかれらの地をなんぢらに獲しめ彼らを汝らの前より滅ぼし去り
9 Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, bwe yasituka okulwanyisa Isirayiri, n’atumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire;
時にモアブの王チツポルの子バラク起てイスラエルに敵し人を遣はしてペオルの子バラムを招きて汝らを詛はせんとしたりしが
10 naye Balamu saamuwuliriza, n’abawa buwi mukisa emirundi n’emirundi. Bwe ntyo ne mbanunula mu mukono gwe.
我バラムに聽ことを爲ざりければ彼かへつて汝らを祝せり斯われ汝らを彼の手より拯出せり
11 “‘Ne musomoka omugga Yoludaani ne mutuuka e Yeriko. Abantu b’omu Yeriko awamu n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abagirusi, n’Abakiivi, n’Abayebusi ne babalwanyisa naye ne mbagabula mu mukono gwammwe.
而して汝らヨルダンを濟りてヱリコに至りしにヱリコの人々すなはちアモリ人ペリジ人カナン人ヘテ人ギルガシ人ヒビ人ヱブス人等なんぢらに敵したりしが我かれらを汝らの手に付せり
12 Ne ntuma ennumba ezabakulembera ezagoba abalabe bammwe mu maaso gammwe, nga mwe muli bakabaka ababiri Abamoli; si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale.
われ黄蜂を汝らの前に遣はして彼のアモリ人の王二人を汝らの前より逐はらへり汝らの劍または汝らの弓を用ひて斯せしに非ず
13 Ne mbawa ensi gye mutaakolerera, ebibuga bye mutaazimba mwe mutudde kaakano, mulya ebibala by’emizabbibu n’emizeeyituuni bye mutaasimba.’
而して我なんちらが勞せしに非ざる地を汝らに與へ汝らが建たるに非ざる邑を汝らに與へたり汝らは今その中に住をる汝らは亦己が作りたるに非ざる葡萄園と橄欖園とにつきて食ふ
14 “Noolwekyo kaakano mutye Mukama Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala w’omugga ne mu Misiri, muweereze Mukama Katonda.
然ば汝らヱホバを畏れ赤心と眞實とをもて之に事へ汝らの先祖が河の彼邊およびエジプトにて事へたる神を除きてヱホバに事へよ
15 Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”
汝ら若ヱホバに事ふることを惡とせば汝らの先祖が河の彼邊にて事へし神々にもあれ又は汝らが今をる地のアモリ人の神々にもあれ汝らの事ふべき者を今日選べ但し我と我家とは共にヱホバに事へん
16 Abantu ne balyoka baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala.
民こたへて言けるはヱホバを棄て他神に事ふることは我等きはめて爲じ
17 Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu Misiri mu nsi ey’obuddu, n’akola ebyewuunyo eby’ekitalo nga tulaba, n’atukuuma mu kkubo lyonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu.
其は我らの神ヱホバみづから我等と我らの先祖とをエジプトの地奴隸の家より導き上りかつ我らの目の前にかの大なる徴を行ひ我らが往し一切の路にて我らを守りまた我らが其中間を通りし一切の民の中にて我らを守りたまひければなり
18 Mukama Katonda n’agoba amawanga gonna mu maaso gaffe nga mwe muli Abamoli, abaali mu nsi. Naffe kyetunaava tuweerezanga Mukama Katonda, kubanga ye Katonda waffe.”
而してヱホバ此地に住をりしアモリ人などいふ一切の民を我らの前より逐はらひたまへり然ば我らもヱホバに事へん彼は我らの神なればなり
19 Yoswa n’agamba abantu nti, “Kizibu okuweereza Mukama, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wa buggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe.
ヨシユア民に言けるは汝らはヱホバに事ふること能はざらん其は彼は聖神また妬みたまふ神にして汝らの罪愆を赦したまはざればなり
20 Obanga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abalala, alibakyukira n’abazikiriza n’abamalawo ate nga bulijjo abadde abayisa bulungi.”
汝ら若ヱホバを棄て他神に事へなば汝らに福祉を降したまへる後にも亦ひるがへりて汝らに災禍を降して汝らを滅ぼしたまはん
21 Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda, tunaweerezanga Mukama.”
民ヨシユアに言けるは否我ら必らずヱホバに事ふべしと
22 Yoswa n’agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama Katonda.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”
ヨシユア民に向ひて汝らはヱホバを選びて之に事へんといへりなんぢら自らその證人たりと言ければ皆我らは證人なりと答ふ
23 N’abagamba nti, “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri Mukama Katonda wa Isirayiri.”
ヨシユアまた言り然ば汝らの中にある異なる神を除きてイスラエルの神ヱホバに汝らの心を傾むけよ
24 Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe era tujja kumugonderanga.”
民ヨシユアに言けるは我らの神ヱホバに我らは事へ其聲に我らは聽したがふべしと
25 Awo Yoswa n’akola endagaano n’abantu ku lunaku olwo, n’abakolera amateeka n’ebiragiro.
ヨシユアすなはち其日民と契約を結びシケムにおいて法度と定規とを彼らのために設けたり
26 Era n’awandiika ebintu bino mu kitabo ky’amateeka ekya Katonda, n’atwala ejjinja eddene ennyo n’aliteeka wansi w’omwera ogwali mu kifo kya Mukama ekitukuvu.
ヨシユアこれらの言を神の律法の書に書しるし大なる石をとり彼處にてヱホバの聖所の傍なる樫の樹の下に之を立て
27 Yoswa n’agamba abantu nti, “Mulabe ejjinja lino lijja kubeeranga omujulizi gye tuli, liwulidde ebigambo byonna Mukama Katonda bya tugambye. Era lijja kubeeranga omujulizi gye muli bwe mutaabeerenga beesigwa eri Katonda wammwe.”
而してヨシユア一切の民に言けるは視よ此石われらの證となるべし是はヱホバの我らに語りたまひし言をことごとく聞たればなり然ば汝らが己の神を棄ること無らんために此石なんぢらの證となるべしと
28 Yoswa n’asindika abantu bagende, buli omu mu mugabo gwe.
かくてヨシユア民を各々その產業に歸しさらしめたりき
29 Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, n’afa ng’awezezza emyaka kikumi mu kkumi.
是らの事の後ヱホバの僕ヌンの子ヨシユア百十歳にして死り
30 Ne bamuziika mu ttaka ly’obusika bwe lye yaweebwa e Timunasusera, ekiri mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ku luuyi olw’obukiikakkono olw’olusozi Gaasi.
人衆これをその產業の地の内にてテムナテセラに葬むれりテムナテセラはエフライムの山地にてガアシ山の北にあり
31 Abayisirayiri ne baweereza Mukama ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaamanya emirimu gyonna Mukama Katonda gye yakolera Isirayiri.
イスラエルはヨシユアの世にある日の間またヱホバがイスラエルのために行ひたまひし諸の事を識ゐてヨシユアの後に生存れる長老等の世にある日の間つねにヱホバに事へたり
32 N’amagumba ga Yusufu, abaana ba Isirayiri ge baggya e Misiri ne bagaziika e Sekemu, mu kifo ky’ettaka Yakobo kye yagula ebitundu bya ffeeza kikumi ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu ne liba omugabo gw’abaana ba Yusufu.
イスラエルの子孫のエジプトより携さへ上りしヨセフの骨を昔ヤコブが銀百枚をもてシケムの父ハモルの子等より買たりしシケムの中なる一の地に葬れり是はヨセフの子孫の產業となりぬ
33 Eriyazaali mutabani wa Alooni naye n’afa, n’aziikibwa ku lusozi Gibea olwaweebwa Finekaasi mutabani we, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu.
アロンの子エレアザルもまた死り人衆これを其子ピネハスがエフライムの山地にて受たりし岡に葬れり