< Yoswa 21 >
1 Awo abakulira ennyumba mu kika ky’Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni n’eri abakulu b’ennyumba z’abaana ba Isirayiri
2 e Siiro mu Kanani ne babagamba nti, “Mukama Katonda yalagira okuyita mu Musa nti tuweebwe ebibuga eby’okubeeramu era n’amalundiro g’ebisibo byaffe.”
3 Kale, nga Mukama bwe yalagira, Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino n’amalundiro nga gwe mugabo gwabwe.
4 Akalulu ne kagwa ku nda ez’Abakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini.
5 Abakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, z’ebika bya Efulayimu, ne Ddaani n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
6 N’abaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, n’eya Aseri, n’eya Nafutaali, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu Basani.
7 Abaana ba Merali ne baweebwa ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga kkumi na bibiri nga biva mu bika bino: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Zebbulooni.
8 Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, n’amalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa.
9 Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino:
10 bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.
11 Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde.
12 Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe.
13 Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo,
14 ne Yattiri n’amalundiro gaakyo ne Esutemoa n’amalundiro gaakyo,
15 ne Kaloni n’amalundiro gaakyo ne Debiri n’amalundiro gaakyo,
16 ne Ayini n’amalundiro gaakyo ne Yuta n’amalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri.
17 Ne mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba
18 ne Anasosi n’amalundiro gaakyo, ne Alumoni n’amalundiro gaakyo ne Alumoni n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.
19 Ebibuga byonna eby’abaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.
20 Eri Abakokasi abalala abaali bava mu nnyumba z’Abakokasi ez’Abaleevi ebibuga ebyabaweebwa byava mu kika kya Efulayimu.
21 N’aweebwa Sekemu n’amalundiro gaakyo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ekibuga eky’okwekwekamu oyo asse, ne Gezeri n’amalundiro gaakyo,
22 ne Kizuzaimu n’amalundiro gaakyo ne Besukolooni n’amalundiro gaakyo,
23 ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n’amalundiro gaakyo, Gibbesoni n’amalundiro gaakyo,
24 Ayalooni n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
25 Ne mu kitundu eky’ekika kya Manase, Taanaki, n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bibiri.
26 Ebibuga byonna eby’ennyumba z’abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n’amalundiro gaabyo.
27 N’eri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika ky’Abaleevi, ekitundu eky’ekika kya Manase, Golani mu Basani n’amalundiro gaakyo, ekibuga eky’okwekwekangamu oyo asse nga tagenderedde, ne Beesutera n’amalundiro gaakyo, ebibuga bibiri.
28 Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n’amalundiro gaakyo, Daberasi n’amalundiro gaakyo,
29 Yalamusi n’amalundiro gaakyo, ne Engannimu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina,
30 ne mu kika kya Aseri, Misali n’amalundiro gaakyo, Abudoni n’amalundiro gaakyo,
31 Kerukasi n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
32 Ne mu kika kya Nafutaali, Kadesi mu Ggaliraaya n’amalundiro gaakyo, ebibuga ebyokwekwekamu, ne Kammasudoli n’amalundiro gaakyo, ne Kalutani n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bisatu.
33 Ebibuga byonna eby’Abagerusoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.
34 Abaleevi abaali basigaddewo abaana ba Merali ne baweebwa okuva mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n’amalundiro gaakyo, ne Kaluta n’amalundiro gaakyo,
35 Dimuna n’amalundiro gaakyo, Nakalali n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
36 Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n’amalundiro gaakyo, ne Yakazi n’amalundiro gaakyo,
37 Kedemosi n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.
38 Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaali n’amalundiro gaakyo, ekibuga ekyokwekwekamu oyo asse, ne Makanayimu n’amalundiro gaakyo.
39 Kesuboni n’amalundiro gaakyo, Yazeri n’amalundiro gaakyo awamu bye bibuga bina.
40 Ebyo byonna byali by’abaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu.
41 Ebibuga byonna ebyali ku ttaka ery’abaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu n’ebyalo byabyo ebibiriraanye.
42 Buli kimu ku bibuga bino kyalina ebyalo ebikyetoolodde; byonna ebibuga bwe byali.
43 Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo.
44 Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe.
45 Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.