< Yoswa 19 >

1 N’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda.
西默盎,西默盎支派子孫,按照家族得了第二籤,他們的士地是在猶大子孫的產業內。
2 Kyali kitwaliramu Beeruseba, oba Seba, ne Molada,
他們分得的產業:是貝爾舍巴、舍瑪、摩拉達、
3 ne Kazalusuwali ne Bala, ne Ezemu,
哈匝爾叔阿耳、巴拉、厄會、
4 ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma,
厄爾托拉得、貝突耳、曷爾瑪、
5 ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa
漆刻拉格、貝特瑪爾加波特、哈匝爾穌撒、
6 ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo.
特肋巴敖特和沙魯恒:共計十三座城笸所屬村鎮;
7 Ayini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina n’ebyalo byabyo,
阿殷、黎孟、厄特爾和巴商:共計四座城和所屬村鎮;
8 n’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo. Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
尚有這些城市四週所有的村鎮,直到巴阿拉特貝爾即乃革布的辣瑪:以上是西默盎支派子孫,按照家族分得的產業。
9 Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.
西默盎子孫的產業,取自猶大子孫的土地,是因為猶大子孫分得的地區,過於廣大,因此西默盎子孫在他們的境內,分得了產業。
10 Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi.
則步隆子孫,按照家族,得了第三籤,他們領域的界限直達沙杜得。
11 Ensalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu.
由此西上,直達瑪阿拉,路經達巴舍特和約刻乃罕前面的小河,
12 Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gy’eva ng’egendera ku nsalo y’e Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya.
再由沙杜得向東轉向日出之地,直到基斯羅特大博爾,經多貝辣特,直上至雅非亞;
13 Okuva eyo n’edda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, n’edda ku luuyi oluliko Nea.
由此折東,經加特赫費爾,至依塔卡親,出黎孟直到乃阿;
14 Ne yeebungulula mu bukiikakkono n’etuuka ku Kannasoni n’ekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri;
再由此北上,轉向哈納通,直達依費塔赫耳山谷。
15 ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu, ebibuga kkumi na bibiri, n’ebyalo byabyo.
境內有....卡塔特、哈拉耳、史默龍、依德哈拉和貝特肋恒:共計十二座城和所屬村鎮。
16 Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Zebbulooni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.
這些城和村鎮是則步隆子孫按照家族所分得的產業。
17 Akalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali:
依撒加爾,即依撒加爾子孫,按照家族,得了第四籤。
18 Omugabo gwabwe gwalimu Yezuleeri ne Kesulosi ne Sunemu,
他們的領域是:依次辣耳、革穌羅特、叔能、
19 ne Kafalaimu ne Sioni ne Anakalasi,
哈法辣殷、史雍、阿納哈辣特、
20 ne Labbisi ne Kisioni ne Ebezi,
多貝辣特、克史雍、厄貝茲、
21 ne Lemesi ne Engannimu ne Enkadda ne Besupazzezi.
勒默特、恩加寧、恩哈達、貝特帕責茲。
22 Ensalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani. Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
邊界上還有大博爾、沙哈漆瑪、貝特舍默士、直達約旦河:計共共十六座城和所屬村鎮。
23 Ogwo gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
這些城和所屬村鎮,是依撒加爾支派子孫,按照家族分得的產業。
24 N’akalulu akookutaano ne kagwa ku kika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
阿協爾支派子孫,按照家族,得了第五籤。 2
25 Ekitundu kyabwe kyalimu Kerukasi ne Kali ne Beteni ne Akusafu,
他們得的領域是:赫爾卡特、哈里、貝騰、阿革沙弗、
26 ne Alammereki ne Amadi ne Misali ne kituuka ku Kalumeeri ku luuyi olw’ebuvanjuba ne ku Sikolulibunasi,
阿拉默協客、阿瑪得、米沙爾;西至加爾默耳笸里貝納特河,
27 ne kidda ebuvanjuba ne kyeyongerayo ku Besudagoni ne kituuka ku Zebbulooni ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw’omu bukiikakkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri ne kikoma ku Kabuli mu bukiikakkono.
然後轉向東方,直達貝特達貢與責布隆和北方的依費塔赫耳山谷相接;再經貝特厄默克和乃乃耶耳,至加步耳北部;
28 Ne kyeyongerayo ku Ebuloni ne Lekobu ne Kammoni ne Kana okutuuka ku Sidoni Ekinene.
再經阿貝冬、勒曷布、哈孟、卡納、直達漆冬大城,
29 Ensalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu,
由此轉向拉瑪直至左爾堅城,再轉向拉瑪,直達於海。此外尚有瑪哈曷布、阿革齊布、
30 ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri n’ebyalo byabyo.
阿苛、阿費克和勒曷布:共計二十二座城和所屬村鎮。
31 Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
這些城和村鎮,是阿協爾子孫,照按家族分得的產業。
32 Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
納斐塔里,即納斐塔里支派子孫,按照家族,得了第六籤。
33 N’ensalo yaabwe n’eva ku mwera oguli mu Zaanannimu e Kerefu ne Adaminekebu ne Yabuneeri okutuuka ku Lakkumu n’eryoka ekoma ku mugga Yoludaani.
他們的邊界,是起自赫肋弗和匝納寧橡樹,經阿達米乃刻布和雅貝乃耳,直到拉孔,迄於約旦河。
34 N’ewetera ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Azunnosutaboli ne yeeyongerayo ku Kukkoki, ne yeeyongerayo e Zebbulooni mu bukiikaddyo, n’ekwata ku Aseri mu bugwanjuba, ne ku Yuda ekiri ku Yoludaani ebuvanjuba.
西方邊界,由阿次諾特大博爾,直達胡科克,南接則步隆,西接阿協爾。東方以約旦河為界。
35 N’ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, ne Zeri, ne Kammasi, ne Lakkasi, ne Kinneresi,
設防的城市有漆丁、責爾、哈瑪特、辣卡特、基乃勒特、
36 ne Adama ne Laama ne Kazoli,
阿達瑪、哈祚爾、
37 ne Kasedi ne Ederei, ne Enkazoli,
卡德士、厄德勒、恩哈祚爾、
38 ne Ironi ne Migudaleri, ne Kolemu ne Besuanasi ne Besusemesi, ebibuga kkumi na mwenda n’ebyalo byabyo.
依郎、米革達肋耳、曷楞、貝特阿納特和貝特舍默士:共計十九座城和所屬村鎮。
39 Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
這些城和村鎮,是納斐塔里支派子孫,按照家族分得的產業。
40 Akalulu akoomusanvu kaagwa ku kika ky’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
丹支派子孫,按照家族,得了第七籤。
41 N’ekitundu ky’omugabo gwabwe ne kitwaliramu Zola ne Esutaoli ne Irusemesi
他們分得的領域是:祚辣、厄市陶耳、依爾舍默士、
42 ne Saalabbini ne Ayalooni ne Isula
沙阿拉賓、阿雅隆、依特拉、
43 ne Eroni ne Timuna ne Ekuloni
厄隆、提默納、厄刻龍、
44 ne Eruteke ne Gibbesoni ne Baalasi
厄耳特刻、基貝通、巴拉特、
45 ne Yekudi ne Beneberaki ne Gasulimmoni
耶胡得、貝乃貝辣克、加特黎孟、
46 ne Meyalakoni ne Lakoni n’ensalo etunuulidde Yafo.
默雅爾孔、辣孔和對面的地區。
47 Naye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu n’ekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani ly’erinnya lya jjajjaabwe.
但是這地區為丹的子孫過於窄狹,因而丹的子孫上去攻佔了肋笙,屠殺了城中的人民,據為己有,住在那裏,以他們的祖先丹的名字,稱肋笙為丹。
48 Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
這些城和村鎮,是丹支派子孫按照家族分得的產業。
49 Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu eby’enjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo
以色列子民,依照界限分完了產業以後,又在他們中間,分給了農的兒子若蘇厄一分產業。
50 ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.
他們照上主的吩咐,將若蘇厄要求的城市,即厄弗辣因山地的提默納特色辣黑給了他;若蘇厄便重建了那城,住在那裏。
51 Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.
以上是司祭厄肋阿責爾和農的兒子若蘇厄,以及以色列子民各支派的族長,在史羅會幕門口,於上主面前,抽籤劃分土地的記述;分地的事,就這樣完成了。

< Yoswa 19 >