< Yoswa 15 >
1 Omugabo gw’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali bwe baakuba akalulu, baaweebwa ekitundu okutuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku nkomerero y’oluuyi olw’obukiikaddyo.
2 N’ensalo yaabwe ey’oluuyi olwo okuva ku Nnyanja ey’Omunnyo w’eva, ku kikono ekitunudde mu bukiikaddyo;
3 n’esala wansi w’ekkubo eririnnya ku Akkulabimu n’eyita okutuuka ku Zini n’erinnya okuyita wansi wa Kadesubanea, n’eyita kumpi ne Kezulooni, n’erinnya ku Addali, n’ekyamira ku Kaluka;
4 n’eyita ku Azumoni n’ekoma ku mugga ogw’e Misiri, n’eryoka esibira ku nnyanja. Eno ye yali ensalo yaabwe ey’obukiikaddyo.
5 N’ensalo yaabwe ey’obuvanjuba yali nnyanja ey’obukiikakkono. Kyali kikono kya Yoludaani we guyiyira ku Nnyanja ey’Omunnyo. N’ensalo ey’obukiikakkono kyali kikono kya nnyanja Yoludaani we guyiyiramu.
6 N’eyambuka n’eyita ku Besukogula n’eyita ku luuyi lw’ebuvanjuba bwa Besualaba n’eyambuka okutuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni.
7 Era n’erinnya ku Debiri okuva mu kiwonvu Akoli, n’egenda ku luuyi olw’obukiikakkono, n’edda e Girugaali emitala w’ekkubo eryambuka ku Adummimu, ekiri emitala w’omugga mu bukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ku mazzi ag’e Ensemesi, n’esala n’ekoma ku Enerogeri. Awo n’eryoka eyita ku kiwonvu kya Kinomu ku luuyi lw’ebugwanjuba ekyali ku nkomerero ey’ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw’obukiikakkono.
8 Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono;
9 ne yeeyongera okuva ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku luzzi olw’amazzi ga Nefutoa, ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga eby’oku lusozi Efuloni, n’etuuka ku Baala, ye Kiriyasuyalimu,
10 n’ewetamu okuva e Baala ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku lusozi Sayiri n’eyita n’etuuka ku mabbali g’olusozi Yealimu ku luuyi olw’omu bukiikakkono, ye Kyesaloni, n’ekka ku Besusemesi, n’eyita ku Timuna,
11 n’egenda ku mabbali ag’e Ekuloni mu bukiikakkono, n’ekka ku Sikkeroni n’etuuka ku lusozi Baala, n’ekoma ku Yabuneeri, ne ku nnyanja.
12 Ensalo ey’ebugwanjuba yali Ennyanja Ennene n’olubalama lwayo. Eyo ye yali ensalo y’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’enju zaabwe bwe zaali.
13 Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki.
14 Kalebu n’agobamu abaana abasatu aba Anaki: Sesayi ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki.
15 N’ava eyo n’alumba abaali mu Debiri, edda eyayitibwanga Kiriasuseferi.
16 Kalebu n’agamba nti, “Anaakuba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa amuwase.”
17 Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akikuba, Kalebu n’amuwa Akusa muwala we amuwase.
18 Awo bwe yajja gy’ali, n’amugamba asabe kitaawe ennimiro. Bwe yava ku ndogoyi ye, Kalebu n’amubuuza nti, “Kiki kyoyagala nkukolere?”
19 N’addamu nti, “Nsaba onnyambe nga bwe wampa ettaka mu Negebu, ompe n’ensulo z’amazzi.” Kalebu n’amuwa ensulo ez’engulu n’ez’emmanga.
20 Guno gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali.
21 Ebibuga ebyali bisemberayo ddala mu bukiikaddyo mu Negebu eri ensalo ya Edomu byali, Kabuzeeri, n’e Ederei n’e Yaguli,
22 n’e Kina n’e Dimona, n’e Adada,
23 n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Isunani,
24 n’e Zifu, n’e Teremu n’e Beyaloosi,
25 n’e Kazolukadatta, n’e Keriosukezulooni, ye Kazoli,
26 n’e Amamu n’e Sema, n’e Molada,
27 n’e Kazalugadda n’e Kesuboni, n’e Besupereti
28 n’e Kazalusuwali, n’e Beeruseba n’e Biziosia
29 n’e Baala n’e Yimu, n’e Ezemu,
30 n’e Erutoladi n’e Kyesiri n’e Koluma,
31 n’e Zikulagi, n’e Madumanna, n’e Samusanna,
32 n’e Lebaosi, n’e Sirukimu, n’e Ayini, n’e Limmoni. Ebibuga byonna awamu amakumi abiri mu mwenda, n’ebyalo byabyo.
33 Era ne mu nsi ey’ensenyi Esutaoli, n’e Zola, n’e Asuna,
34 n’e Zanowa n’e Engannimu, n’e Tappua, n’e Enamu,
35 n’e Yalamusi n’e Adulamu, n’e Soko, n’e Azeka
36 n’e Saalayimu, n’e Adisaimu, n’e Gedera, n’e Gederosaimu, ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.
37 Zenani, n’e Kadasa, n’e Migudalugadi,
38 n’e Dirani, n’e Mizupe, n’e Yokuseeri,
39 n’e Lakisi, n’e Bozukasi, n’e Eguloni,
40 n’e Kabboni, n’e Lamamu, n’e Kitulisi,
41 n’e Gederosi, Besudagoni, n’e Naama, n’e Makkeda, ebibuga kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
42 Libuna n’e Eseri, n’e Asani,
43 n’e Ifuta n’e Asuna, n’e Nezibu,
44 n’e Keira, n’e Akuzibu, n’e Malesa, ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.
45 Ekuloni n’ebibuga byamu n’ebyalo byakyo,
46 okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, ebibuga byonna ebiriraanye Asudodi n’ebyalo byabyo;
47 Asudodi, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo okutuuka ku mugga ogw’e Misiri, n’ennyanja ennene, n’ensalo yaayo.
48 Ne mu nsi ey’ensozi, Samiri, n’e Yattiri, n’e Soko,
49 ne Danna, ne Kiriasusanna, ye Debiri,
50 ne Anabu, n’e Esutemoa, n’e Animu,
51 n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.
52 Alabu, n’e Duma, n’e Esani,
53 n’e Yanimu, n’e Besutappua, n’e Afeka,
54 n’e Kumuta n’e Kiriasualuba, ye Kebbulooni, n’e Zioli ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.
55 Mawoni, n’e Kalumeeri, n’e Zifu, n’e Yuta,
56 n’e Yezuleeri, n’e Yokudeamu, n’e Zanoa,
57 Kaini, n’e Gibea, n’e Timuna, ebibuga kkumi n’ebyalo byabyo.
58 Kalukuli, Besuzuli, n’e Gedoli;
59 n’e Maalasi, n’e Besuanosi, n’e Erutekoni, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.
60 Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, n’e Laaba ebibuga bibiri n’ebyalo byabyo.
61 Mu ddungu: Besualaba, n’e Middini, n’e Sekaka,
62 n’e Nibusani, n’ekibuga eky’omunnyo, n’e Engedi, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.
63 Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu; Abayebusi ne babeera wamu n’abaana ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.