< Yoswa 14 >
1 Bino by’ebitundu Abayisirayiri bye baafuna ng’omugabo mu nsi y’e Kanani, Eriyazaali kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika by’abaana ba Isirayiri bye baabagabira.
2 Emigabo baagifunanga nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa olw’ebika omwenda n’ekitundu,
3 kubanga Musa yali agabidde ebika ebibiri n’ekitundu omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani, naye Abaleevi bo teyabagabira;
4 kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu, bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe.
5 Abantu ba Isirayiri ne bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.
6 Abantu ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa e Girugaali, ne Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi n’amugamba nti, “Omanyi Mukama kye yayogera ne Musa omusajja wa Katonda e Kadesubanea ekikwata ku ggwe nange.
7 Nalina emyaka amakumi ana, Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi, era namuleteera ekigambo nga bwe kyali mu mutima gwange.
8 Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna.
9 Era Musa yandayirira nti, ‘Ensi ebigere byo kwe biririnnya, mugabo gwo n’abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogoberedde Mukama Katonda wange n’omutima gwo gwonna.’
10 “Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana!
11 Nkyalina amaanyi leero nga ge nalina Musa bwe yantuma, amaanyi ge nnina leero galinga ge nalina mu kulwana, mu kufuluma ne mu kuyingira.
12 Kale noolwekyo mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogera ku lunaku luli, kubanga wawulira ku olwo ng’Abanaki kwe baali n’ebibuga ebinene ebiriko enkomera. Mukama nga ye mubeezi wange, nnaabagoba nga Mukama bwe yayogera.”
13 Yoswa n’amusabira omukisa n’awa Kalebu omwana wa Yefune Omukenezi Kebbulooni okuba omugabo gwe.
14 Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri.
15 Kebbulooni edda kyayitibwanga Kiriasualuba era Aluba ye yali omukulu asingayo mu Banaki. Olwo ensi n’eryoka ewummula n’etebaamu ntalo.