< Yoswa 11 >

1 Awo Yabini kabaka w’e Kazoli bwe yakimanya, n’atumya Yobabu kabaka w’e Madoni n’eri kabaka w’e Simuloni n’eri kabaka w’e Akusafu,
quae cum audisset Iabin rex Asor misit ad Iobab regem Madon et ad regem Someron atque ad regem Acsaph
2 ne bakabaka abaali mu bukiikakkono mu nsi ey’ensozi, ne mu Alaba mu bukiikaddyo e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez’e Doli ku luuyi olw’ebugwanjuba.
ad reges quoque aquilonis qui habitabant in montanis et in planitie contra meridiem Cheneroth in campestribus quoque et in regionibus Dor iuxta mare
3 N’atumya Abakanani ebuvanjuba n’ebugwanjuba, n’Abamoli, n’Abakiiti n’Abaperezi, n’Abayebusi mu nsi ey’ensozi, n’Abakiivi wansi wa Kerumooni mu nsi ey’e Mizupa.
Chananeumque ab oriente et occidente et Amorreum atque Hettheum ac Ferezeum et Iebuseum in montanis Eveum quoque qui habitabat ad radices Hermon in terra Masphe
4 Ne bajja, n’amaggye gaabwe gonna, nga bangi nnyo nga bali ng’omusenyu gw’ennyanja, era ne bajja n’embalaasi nnyingi nnyo n’amagaali mangi nnyo.
egressique sunt omnes cum turmis suis populus multus nimis sicut harena quae est in litore maris equi quoque et currus inmensae multitudinis
5 Awo bakabaka bano bonna ne beegatta ne bakuba olusiisira olwa awamu ku nzizi ez’e Meromu, balwanyise Isirayiri.
conveneruntque omnes reges isti in unum ad aquas Merom ut pugnarent contra Israhel
6 Awo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga obudde nga bwe buti enkya nzija kubawaayo bonna eri Isirayiri, bafumitibwe, battibwe, embalaasi muziteme enteega n’amagaali gookebwe.”
dixitque Dominus ad Iosue ne timeas eos cras enim hac eadem hora ego tradam omnes istos vulnerandos in conspectu Israhel equos eorum subnervabis et currus igne conbures
7 Awo Yoswa n’abalwanyi be bonna ne balumba abalabe ku nzizi ez’e Meromu.
venitque Iosue et omnis exercitus cum eo adversum illos ad aquas Merom subito et inruerunt super eos
8 Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Isirayiri ne babawangula ne babagobera ddala, okubatuusa mu Sidoni ekinene ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu kye Mizupa ebuvanjuba, ne babazikiririza ddala obutalekaawo n’omu.
tradiditque illos Dominus in manu Israhel qui percusserunt eos et persecuti sunt usque ad Sidonem magnam et aquas Maserefoth campumque Masphe qui est ad orientalem illius partem ita percussit omnes ut nullas dimitteret ex eis reliquias
9 Yoswa n’abakolako nga Mukama bwe yamulagira, embalaasi zaabwe nazitema enteega, n’amagaali gaabwe n’agookya omuliro.
fecit sicut praeceperat ei Dominus equos eorum subnervavit currusque conbusit
10 Mu kiseera ekyo Yoswa n’addako emabega n’awamba Kazoli, kabaka waakyo n’amutta n’ekitala kubanga emabegako Kazoli kye kyali ekitebe ky’obwakabaka obwo bwonna.
reversusque statim cepit Asor et regem eius percussit gladio Asor enim antiquitus inter omnia regna haec principatum tenebat
11 Era ne batta buli muntu yenna eyakirimu ne watasigalawo n’omu ne Kazoli n’akyokya omuliro.
percussitque omnes animas quae ibidem morabantur non dimisit in ea ullas reliquias sed usque ad internicionem universa vastavit ipsamque urbem permisit incendio
12 Yoswa n’awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baabyo, n’abatta n’ebitala n’abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira.
et omnes per circuitum civitates regesque earum cepit percussit atque delevit sicut praeceperat ei Moses famulus Domini
13 Okuggyako Kazoli, ebibuga ebirala byonna ebyali bizimbiddwa ku bifunvu, Yoswa teyabyokya.
absque urbibus quae erant in collibus et in tumulis sitae ceteras succendit Israhel unam tantum Asor munitissimam flamma consumpsit
14 Abaana ba Isirayiri ne beetwalira omunyago gwonna ogw’ebibuga bino n’ente, era ne batta buli muntu yenna ne babazikiriza awatali kusigala n’omu assa omukka.
omnemque praedam istarum urbium ac iumenta diviserunt sibi filii Israhel cunctis hominibus interfectis
15 Nga Mukama bwe yalagira omuddu we Musa, bw’atyo Musa bwe yalagira Yoswa era ne Yoswa bwe yakola; talina kye yaleka takoze ku byonna Mukama bye yalagira Musa.
sicut praeceperat Dominus Mosi servo suo ita praecepit Moses Iosue et ille universa conplevit non praeteriit de universis mandatis ne unum quidem verbum quod iusserat Dominus Mosi
16 Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi yonna, n’ensi ey’ensozi n’ey’obugwanjuba yonna, n’ekitundu kya Goseni kyonna, ensi ey’ensenyi ne Alaba, n’ensi yaayo yonna ey’ensenyi.
cepit itaque Iosue omnem terram montanam et meridianam terramque Gosen et planitiem et occidentalem plagam montemque Israhel et campestria eius
17 Okuva ku lusozi Kalaki, okulinnya okutuuka e Seyiri, n’okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w’olusozi Kerumooni ne bakabaka baayo bonna n’abawamba, n’abafumita, n’abatta.
et partem montis quae ascendit Seir usque Baalgad per planitiem Libani subter montem Hermon omnes reges eorum cepit percussit occidit
18 Yoswa n’alumba n’alwana ne bakabaka abo bonna okumala ebbanga.
multo tempore pugnavit Iosue contra reges istos
19 Tewali kibuga kyakola ndagaano ya mirembe n’abaana ba Isirayiri okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni; byonna baabilwanyisa ne babiwangula,
non fuit civitas quae se non traderet filiis Israhel praeter Eveum qui habitabat in Gabaon omnes bellando cepit
20 kubanga Mukama yennyini ye yakakanyaza emitima gyabwe balwane ne Isirayiri, alyoke abazikiririze ddala, abamalirewo ddala awatali kubakwatirwa kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Domini enim sententiae fuerat ut indurarentur corda eorum et pugnarent contra Israhel et caderent et non mererentur ullam clementiam ac perirent sicut praeceperat Dominus Mosi
21 Mu kiseera ekyo Yoswa n’agenda n’azikiriza n’amalawo Abanaki mu nsi ey’ensozi, mu Kebbulooni, ne mu Debiri, ne mu Anabu, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Isirayiri. Yoswa n’abazikiririza ddala, bonna n’ebibuga byabwe.
in tempore illo venit Iosue et interfecit Enacim de montanis Hebron et Dabir et Anab et de omni monte Iuda et Israhel urbesque eorum delevit
22 Tewali Banaki baasigalawo mu nsi y’abaana ba Isirayiri, okuggyako mu Gaza, ne mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigalako abamu.
non reliquit ullum de stirpe Enacim in terra filiorum Israhel absque civitatibus Gaza et Geth et Azoto in quibus solis relicti sunt
23 Yoswa bw’atyo bwe yatwala ensi yonna nga Mukama bwe yalagira Musa, n’agiwa abaana ba Isirayiri okuba omugabo nga bwe yayawulibwa mu bika byabwe. Olwo ensi n’ewummula entalo.
cepit ergo Iosue omnem terram sicut locutus est Dominus ad Mosen et tradidit eam in possessionem filiis Israhel secundum partes et tribus suas quievitque terra a proeliis

< Yoswa 11 >