< Yona 3 >
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti,
Puis la parole de l'Eternel fut [adressée] à Jonas une seconde fois, en disant:
2 “Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.”
Lève-toi, et t'en va à Ninive la grande ville; et y publie à haute voix ce que je t'ordonne.
3 Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna.
Jonas donc se leva, et s'en alla à Ninive, suivant la parole de l'Eternel. Or Ninive était une très-grande ville, de trois journées de chemin.
4 Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.”
Et Jonas commença d'entrer dans la ville le chemin d'une journée, et il cria et dit: Encore quarante jours, et Ninive sera renversée.
5 Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.
Et les hommes de Ninive crurent à Dieu, et publièrent le jeûne, et se vêtirent de sacs, depuis le plus grand d'entre eux jusqu'au plus petit.
6 Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu.
Car cette parole était parvenue jusqu'au Roi de Ninive, lequel se leva de son trône, et ôta de dessus soi son vêtement magnifique, et se couvrit d'un sac, et s'assit sur la cendre.
7 Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi;
Puis il fit faire une proclamation, et on publia dans Ninive par le décret du Roi et de ses Princes, en disant: Que ni homme, ni bête, ni bœuf, ni brebis, ne goûtent d'aucune chose, qu'ils ne se repaissent point, et qu'ils ne boivent point d'eau.
8 naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe.
Et que les hommes soient couverts de sacs, et les bêtes aussi; et qu'ils crient à Dieu de toute leur force, et que chacun se convertisse de sa mauvaise voie, et des actions violentes qu'ils ont commises.
9 Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”
Qui sait si Dieu viendra à se repentir, et s'il se détournera de l'ardeur de sa colère, en sorte que nous ne périssions point.
10 Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.
Et Dieu regarda à ce qu'ils avaient fait, [savoir] comment ils s'étaient détournés de leur mauvaise voie, et Dieu se repentit du mal qu'il avait dit qu'il leur ferait, et ne le fit point.