< Yona 2 >
1 Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba
2 nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama n’anziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era n’owulira eddoboozi lyange! (Sheol )
3 Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja, ne nzika, amayengo gonna, ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta ne bimbikka ne binneetooloola.
4 Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go; Ddala ndiddayo nate okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
5 Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi; Amazzi nga ganneetoolodde era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
6 Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo, ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe. Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya, Ayi Mukama Katonda wange.
7 “Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda. Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka mu yeekaalu yo entukuvu.
8 “Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
9 Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza, ndikuwa ssaddaaka. Ddala ndituukiriza obweyamo bwange kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”
10 Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.