< Yokaana 9 >
1 Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso.
2 Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”
3 Yesu n’addamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye.
4 Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola.
5 Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”
6 Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo.
7 N’amugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.
8 Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?”
9 Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye n’abagamba nti, “Ye nze ddala.”
10 Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?”
11 N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”
12 Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.”
13 Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe w’amaaso eri Abafalisaayo.
14 Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka n’azibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti.
15 Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”
16 Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.
17 Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?” Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”
18 Ne batakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be,
19 ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”
20 Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso.
21 Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.”
22 Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro.
23 Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”
24 Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”
25 Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”
26 Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”
27 Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”
28 Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa.
29 Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gy’ava.”
30 Ye n’addamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso.
31 Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala.
32 Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. (aiōn )
33 Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”
34 Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggw’oyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.
35 Yesu n’ategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga n’amugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana w’Omuntu?”
36 Omusajja n’amubuuza nti, “Ssebo, y’aluwa mmukkirize?”
37 Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”
38 Omusajja n’agamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” N’amusinza.
39 Awo Yesu n’agamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”
40 Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”
41 Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”