< Yokaana 7 >
1 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’alaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta.
Derefter vandrede Jesus omkring i Galilæa; thi han vilde ikke vandre i Judæa, fordi Jøderne søgte at slå ham ihjel.
2 Naye embaga y’Abayudaaya eyitibwa ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka.
Men Jødernes Højtid, Løvsalsfesten, var nær.
3 Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola.
Da sagde hans Brødre til ham: "Drag bort herfra og gå til Judæa, for at også dine Disciple kunne se dine Gerninger, som du gør.
4 Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.”
Thi ingen gør noget i Løndom, når han selv ønsker at være åbenbar; dersom du gør dette, da vis dig for Verden!"
5 Baganda be nabo tebaamukkiriza.
Thi heller ikke hans Brødre troede på ham.
6 Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira.
Da siger Jesus til dem: "Min Tid er endnu ikke kommen; men eders Tid er stedse for Hånden.
7 Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye Nze enkyawa kubanga ngitegeeza ebikolwa byayo ebibi.
Verden kan ikke hade eder; men mig hader den, fordi jeg vidner om den, at dens Gerninger ere onde.
8 Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sijja kwambuka ku mbaga eno, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
Drager I op til Højtiden; jeg drager endnu ikke op til denne Højtid, thi min Tid er endnu ikke fuldkommet."
9 Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala mu Ggaliraaya.
Da han havde sagt dette til dem, blev han i Galilæa.
10 Baganda be bwe bamala okwambuka ku mbaga naye n’ayambuka, mu kyama so si mu lwatu.
Men da hans Brødre vare dragne op til Højtiden, da drog han også selv op, ikke åbenlyst, men lønligt.
11 Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga nga beebuuza nti, “Omusajja oli, ali ludda wa?”
Da ledte Jøderne efter ham på Højtiden og sagde: "Hvor er han?"
12 Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.”
Og der blev mumlet meget om ham iblandt Skarerne; nogle sagde: "Han er en god Mand;" men andre sagde: "Nej, han forfører Mængden."
13 Kyokka olw’okutya Abayudaaya, tewaaliwo amwogerako mu lwatu.
Dog talte ingen frit om ham af Frygt for Jøderne.
14 Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza.
Men da det allerede var midt i Højtiden. gik Jesus op i Helligdommen og lærte.
15 Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”
Jøderne undrede sig nu og sagde: "Hvorledes kan denne have Lærdom, da han ikke er oplært?"
16 Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma.
Da svarede Jesus dem og sagde: "Min Lære er ikke min, men hans, som sendte mig.
17 Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda.
Dersom nogen vil gøre hans Villie, skal han erkende, om Læren er fra Gud, eller jeg taler af mig selv.
18 Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka?
Den, der taler af sig selv, søger sin egen Ære; men den, som søger hans Ære, der sendte ham, han er sanddru, og der er ikke Uret i ham.
19 Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?”
Har ikke Moses givet eder Loven? Og ingen af eder holder Loven. Hvorfor søge I at slå mig ihjel?"
20 Ekibiina ky’abantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?”
Mængden svarede: "Du er besat; hvem søger at slå dig ihjel?"
21 Yesu n’addamu nti, “Nakola ekikolwa kimu ku Ssabbiiti buli muntu ne yeewuunya.
Jesus svarede og sagde til dem: "Een Gerning gjorde jeg, og I undre eder alle derover.
22 Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu.
Moses har givet eder Omskærelsen, (ikke at den er fra Moses, men fra Fædrene) og I omskære et Menneske på en Sabbat.
23 Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala?
Dersom et Menneske får Omskærelse på en Sabbat, for at Mose Lov ikke skal brydes, ere I da vrede på mig, fordi jeg har gjort et helt Menneske rask på en Sabbat?
24 Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.”
Dømmer ikke efter Skinnet, men dømmer en retfærdig Dom!"
25 Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta?
Da sagde nogle af dem fra Jerusalem: "Er det ikke ham, som de søge at slå ihjel?
26 Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo!
Og se, han taler frit, og de sige intet til ham; mon Rådsherrerne virkelig skulde have erkendt, at han er Kristus?
27 Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.”
Dog vi vide, hvorfra denne er; men når Kristus kommer, kender ingen, hvorfra han er."
28 Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi.
Derfor råbte Jesus, idet han lærte i Helligdommen, og sagde: "Både kende I mig og vide, hvorfra jeg er! Og af mig selv er jeg ikke kommen, men han, som sendte mig, er sand, han, hvem I ikke kende.
29 Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.”
Jeg kender ham; thi jeg er fra ham, og han har udsendt mig."
30 Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka.
De søgte da at gribe ham; og ingen lagde Hånd på ham, thi hans Time var endnu ikke kommen.
31 Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”
Men mange af Folket troede på ham, og de sagde: "Når Kristus kommer, mon han da skal gøre flere Tegn, end denne har gjort?"
32 Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata.
Farisæerne hørte, at Mængden mumlede dette om ham; og Ypperstepræsterne og Farisæerne sendte Tjenere ud for at gribe ham.
33 Awo Yesu n’agamba nti, “Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma.
Da sagde Jesus: "Endnu en liden Tid er jeg hos eder, så går jeg bort til den, som sendte mig.
34 Mulinnoonya, naye temugenda kundaba, nga gye ndi, mmwe temuyinza kutuukayo.”
I skulle lede efter mig og ikke finde mig, og der, hvor jeg er, kunne I ikke komme."
35 Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani?
Da sagde Jøderne til hverandre: "Hvor vil han gå hen, siden vi ikke skulle finde ham? Mon han vil gå til dem, som ere adspredte iblandt Grækerne, og lære Grækerne?
36 Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mulinnoonya, naye temulindaba?’ Era nti, ‘Gye ndaga temuyinza kutuukayo?’”
Hvad er det for et Ord, han siger: I skulle lede efter mig og ikke finde mig, og der, hvor jeg er, kunne I ikke komme?"
37 Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe!
Men på den sidste, den store Højtidsdag stod Jesus og råbte og sagde: "Om nogen tørster, han komme til mig og drikke!
38 Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!”
Den, som tror på mig, af hans Liv skal der, som Skriften har sagt, flyde levende Vandstrømme:"
39 Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
Men dette sagde han om den Ånd, som de, der troede på ham, skulde få; thi den Helligånd var der ikke endnu, fordi Jesus endnu ikke var herliggjort.
40 Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.”
Nogle af Mængden, som hørte disse Ord, sagde nu: "Dette er sandelig Profeten."
41 Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ng’ava mu Ggaliraaya.”
Andre sagde: "Dette er Kristus;" men andre sagde: "Mon da Kristus kommer fra Galilæa?
42 Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali.
Har ikke Skriften sagt, at Kristus kommer af Davids Sæd og fra Bethlehem, den Landsby, hvor David var?"
43 Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu.
Således blev der Splid iblandt Mængden om ham.
44 Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako.
Men nogle af dem vilde gribe ham; dog lagde ingen Hånd på ham.
45 Awo abaweereza b’abakabona abakulu n’Abafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?”
Tjenerne kom nu til Ypperstepræsterne og Farisæerne, og disse sagde til dem: "Hvorfor have I ikke ført ham herhen?"
46 Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo by’ayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.”
Tjenerne svarede: "Aldrig har noget Menneske talt således som dette Menneske."
47 Abafalisaayo ne babagamba nti, “Era nammwe abakyamizza?
Da svarede Farisæerne dem: "Ere også I forførte?
48 Waliwo n’omu ku bakulembeze wadde ku Bafalisaayo eyali akkiririzza mu muntu oyo?
Mon nogen af Rådsherrerne har troet på ham, eller nogen af Farisæerne?
49 Naye ekibiina ky’abantu bano abatamanyi mateeka, bakolimiddwa!”
Men denne Hob, som ikke kender Loven, er forbandet."
50 Awo Nikodemo, omu ku bo eddako eyagenda eri Yesu, n’abuuza nti,
Nikodemus, han, som var kommen til ham om Natten og var en af dem, sagde til dem:
51 “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tannaba kuwozesebwa okutegeera ky’akoze?”
"Mon vor Lov dømmer et Menneske, uden at man først forhører ham og får at vide, hvad han gør?"
52 Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.”
De svarede og sagde til ham: "Er også du fra Galilæa? Ransag og se, at der ikke fremstår nogen Profet fra Galilæa."
53 Awo ne baabuka, buli omu n’addayo eka.
Og de gik hver til sit Hus.