< Yokaana 2 >

1 Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo.
Tres días después se celebró una boda en Caná de Galilea, y la madre de Jesús estaba allí.
2 Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa.
Jesús y sus discípulos también fueron invitados a la boda.
3 Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”
Cuando se acabó el vino, la madre de Jesús le dijo: No tienen vino.
4 Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
Jesús le respondió: Mujer, ¿qué [nos toca] a Mí y a ti? Aún no [llega ] mi hora.
5 Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”
Su madre dijo a los que servían: Hagan lo que [Él] les diga.
6 Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
Estaban allí colocadas seis tinajas de piedra con agua que usaban para purificarse. Cada una tenía capacidad como para cien litros.
7 Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo.
Jesús les mandó: Llenen las tinajas de agua. Y las llenaron hasta el borde.
8 Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.” Ne basena ne bamutwalira.
También les dijo: Ahora saquen agua y lleven al director de la fiesta. Y se la llevaron.
9 Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja
Cuando el director de la fiesta probó el agua convertida en vino sin saber de donde salió, aunque los servidores lo sabían, llamó al esposo
10 n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”
y le dijo: Todo hombre sirve primero el buen vino, y cuando estén embriagados, el inferior. Pero tú guardaste el buen vino hasta ahora.
11 Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.
Jesús realizó este primer milagro en Caná de Galilea, donde manifestó su gloria, y sus discípulos creyeron en Él.
12 Embaga bwe yaggwa Yesu n’adda e Kaperunawumu n’abayigirizwa be n’amalayo ennaku ntono ng’ali eyo ne nnyina ne baganda be.
Después de esto Él descendió a Cafarnaúm con su madre, [sus] hermanos y sus discípulos. Permanecieron allí pocos días.
13 Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako bwe yali eneetera okutuuka Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi.
Cuando se acercaba la Pascua de los judíos, Jesús subió a Jerusalén.
14 N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi.
Encontró en el Templo a los que vendían bueyes, ovejas y palomas, y a los cambistas sentados.
15 Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe.
Después de arreglar un azote de cuerdas, echó a todos del Templo, y también las ovejas y los bueyes. Desparramó la moneda de los cambistas, volcó las mesas
16 N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale.”
y dijo a los que vendían palomas: ¡Quiten éstas de aquí! ¡No conviertan la Casa de mi Padre en casa de mercado!
17 Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”
Recordaron sus discípulos que está escrito: El celo de tu Casa me consumirá.
18 Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, “Kabonero ki k’otulaga nti olina obuyinza okukola bino?”
Los judíos intervinieron: Ya que haces estas cosas, ¿qué señal nos muestras?
19 Yesu kwe kuddamu nti, “Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu.”
Jesús respondió: Destruyan este Templo y en tres días lo levantaré.
20 Ne bamuddamu nti, “Kiki ky’otegeeza? Yeekaalu eno yatwalira ddala emyaka amakumi ana mu mukaaga okuzimba oyinza otya okugizimbira ennaku essatu?”
Los judíos dijeron: Este Templo fue edificado durante 46 años, ¿y Tú lo levantarás en tres días?
21 Kyokka Yeekaalu gye yali ayogerako gwe mubiri gwe.
Pero Él hablaba del Templo de su cuerpo.
22 Yesu bwe yamala okuzuukira abayigirizwa ne bajjukira nti kino kye yali ayogerako. Ne bakkiriza ebyawandiikibwa n’ebigambo Yesu bye yayogerako.
Cuando [Él] fue resucitado de entre [los] muertos, sus discípulos recordaron que dijo esto y creyeron en la Escritura y en la Palabra de Jesús.
23 Awo Yesu bwe yali mu Yerusaalemi mu kiseera eky’Embaga ey’Okuyitako, bangi baalaba obubonero bwe yali akola ne bakkiriza erinnya lye.
Mientras [Jesús] estaba en Jerusalén en la fiesta de la Pascua, muchos creyeron en su Nombre cuando vieron las señales que hacía.
24 Kyokka Yesu teyabeesiga, kubanga amanyi abantu bonna,
Pero Jesús no confiaba en ellos porque conocía a todos.
25 kubanga yamanya bw’afaanana, nga teyeetaaga kubuulirwa muntu kyali.
No tenía necesidad de que alguien le diera testimonio acerca del hombre, porque sabía [lo] que había en él.

< Yokaana 2 >