< Yokaana 17 >

1 Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’ayimusa amaaso ge n’atunula eri eggulu, n’ayogera nti, “Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, n’omwana alyoke akugulumize,
耶稣讲完了这些话,就举目望天,说:“父啊,时候到了,求你让你的儿子获得荣耀,你的儿子就会让你获得荣耀,
2 nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
正如你把管理全人类的权力给了他,让他可以将永生赐给你所给予他的人。 (aiōnios g166)
3 Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo. (aiōnios g166)
知道你是独一的真上帝,并且认识你所派来的耶稣基督,这就是永生。 (aiōnios g166)
4 Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza.
现在我已在这世间给了你荣耀,完成了你交给我的任务。
5 Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ng’ensi tennabeerawo.”
父啊,现在让我在你面前获得荣耀,就是在创世纪前我与你同享的荣耀。
6 “Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye n’obampa. Baali babo n’obampa era bakkirizza ekigambo kyo.
你从世上分别出来赐给我的人,我已经把你的身份显示给他们了。他们是你的,你把他们赐给了我,他们也遵守了你的道。
7 Bategedde nga buli kye nnina kiva gy’oli,
现在他们知道,你给我的,无论是什么,都是从你那里来,
8 kubanga buli kye wandagira nkibayigirizza ne bakitegeera era bategeeredde ddala nga nava gy’oli, era ne bakkiriza nga ggwe wantuma.
你赐给我的话,我已经给了他们,他们也领受了,确定知道我是从你那里来的,并且信你差了我来。
9 Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo.
我为他们祈祷,我不为世人祈祷,而是为你赐给我的人祈祷,因为他们是你的。
10 Ng’ebintu byonna bwe biri ebyange ate era nga bibyo, era ne bibyo nga byange, bampeesa ekitiibwa.
属于我的一切都属于你,你的一切也是我的,并且我因为他们获得了荣耀。
11 Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.
我要离开这世界了,他们却仍留在这里,我要到你那里去了。圣父啊,求你凭着赐给我的名,保护他们,让他们成为一体,就像我们一样。
12 Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana ow’okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.”
我跟他们在一起的时候,因你赐给我的名,我看护他们,除了那‘迷失之子’以外,其他人都没有迷失,这就应验了经文上的话。
13 “Nange kaakano nzija gy’oli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe n’essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.
现在我到你那里去,我在世上说这些话,就是要他们充分分享我的欢喜。
14 Mbawadde ekigambo kyo, ensi n’ebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi.
我把你的道赐给他们,世人恨他们,因为他们不属于这世界,像我不属于这世界一样。
15 Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi.
我不求你让他们离开这个世界,只求你保护他们远离恶人。
16 Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi.
他们不属于这世界,像我不属于这世界一样。
17 Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.
求你用真理让他们变得神圣,你的道就是真理。
18 Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo mbatuma mu nsi.
就像你派我到这世上来,我也将同样派他们到世界各地。
19 Era neetukuza ku lwabwe nabo balyoke batukuzibwe mu mazima.”
我为他们奉献自己,让他们能够真正成为神圣之人。
20 “Sisabira bano bokka naye nsabira n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe,
我不但为他们祈求,也为那些因他们传递的福音而信我的人求,
21 bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bw’oli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma.
祈求他们都能合而为一,就像天父你与我同在,我与你同在。求他们也与我们同在,让世人相信是你派我前来。
22 Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.
你赐给我的荣耀,我已经赐给了他们,使他们合而为一,像我们合而为一。
23 Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala.”
我与他们同在,你与我同在,使他们完完全全合而为一,让世人知道你派我前来,知道你爱他们,好像爱我一样。
24 “Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.
父啊,我在哪里,希望你赐给我的那些人,也能到我所在的地方,让他们看见你赐给我的荣耀,因为在创立世界以前,你就已经爱我了。
25 “Ayi Kitange Omutukuvu, ensi teyakumanya, kyokka Nze nkumanyi era n’abayigirizwa bano bamanyi nga ggwe wantuma.
善良的天父啊,世人虽然不认识你,我却认识你,与我一起的这些人也知道你派我前来。
26 Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kw’onjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”
我已经把你的性格显示给他们,还要再显示,让他们也能拥有你对我的爱,我将与他们同在。”

< Yokaana 17 >