< Yokaana 14 >
1 “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize.
« Ne laisse pas ton cœur se troubler. Croyez en Dieu. Croyez aussi en moi.
2 Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye.
Dans la maison de mon Père, il y a plusieurs maisons. S'il n'en était pas ainsi, je vous l'aurais dit. Je vais vous préparer une place.
3 Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.
Si je m'en vais et que je vous prépare une place, je reviendrai et je vous recevrai chez moi, afin que là où je suis, vous y soyez aussi.
4 Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”
Vous savez où je vais, et vous connaissez le chemin. »
5 Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
Thomas lui dit: « Seigneur, nous ne savons pas où tu vas. Comment pouvons-nous connaître le chemin? »
6 Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze.
Jésus lui dit: « Je suis le chemin, la vérité et la vie. Personne ne vient au Père, si ce n'est par moi.
7 Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”
Si vous m'aviez connu, vous auriez aussi connu mon Père. Désormais, vous le connaissez et vous l'avez vu. »
8 Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”
Philippe lui dit: « Seigneur, montre-nous le Père, et cela nous suffira. »
9 Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’
Jésus lui dit: « Il y a si longtemps que je suis avec toi, et tu ne me connais pas, Philippe? Celui qui m'a vu a vu le Père. Comment dis-tu: « Montre-nous le Père »?
10 Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze.
Ne crois-tu pas que je suis dans le Père, et que le Père est en moi? Les paroles que je vous dis, je ne les dis pas de moi-même; mais le Père qui vit en moi fait ses œuvres.
11 Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.
Croyez-moi que je suis dans le Père, et que le Père est en moi; ou bien croyez-moi à cause des œuvres mêmes.
12 “Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange.
Je vous le dis en vérité, celui qui croit en moi fera aussi les œuvres que je fais, et il en fera de plus grandes, parce que je vais vers mon Père.
13 Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana.
Tout ce que vous demanderez en mon nom, je le ferai, afin que le Père soit glorifié dans le Fils.
14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
Si vous demandez quelque chose en mon nom, je le ferai.
15 “Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,
Si vous m'aimez, gardez mes commandements.
16 nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe, (aiōn )
Je prierai le Père, et il vous donnera un autre conseiller, afin qu'il demeure avec vous pour toujours: (aiōn )
17 Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.
l'Esprit de vérité, que le monde ne peut recevoir, parce qu'il ne le voit pas et ne le connaît pas. Vous, vous le connaissez, car il habite avec vous et il sera en vous.
18 Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli.
Je ne vous laisserai pas orphelins. Je viendrai à vous.
19 Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga Nze ndi mulamu, era nammwe muliba balamu.
Encore un peu de temps, et le monde ne me verra plus; mais vous, vous me verrez. Parce que je vis, vous vivrez aussi.
20 Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe.
En ce jour-là, vous saurez que je suis en mon Père, que vous êtes en moi et que je suis en vous.
21 Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
Celui qui a mes commandements et qui les garde, celui-là est celui qui m'aime. Celui qui m'aime sera aimé de mon Père, et je l'aimerai, et je me révélerai à lui. »
22 Yuda, atali Isukalyoti n’amugamba nti, “Mukama waffe, lwaki oyagala okweraga eri ffe so si eri ensi?”
Judas (et non Iscariote) lui dit: « Seigneur, qu'est-il arrivé pour que tu te révèles à nous, et non au monde? »
23 Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye.
Jésus lui répondit: « Si un homme m'aime, il gardera ma parole. Mon Père l'aimera, et nous viendrons à lui, et nous ferons notre demeure chez lui.
24 Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma.
Celui qui ne m'aime pas ne garde pas mes paroles. La parole que vous entendez n'est pas la mienne, mais celle du Père qui m'a envoyé.
25 Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe.
« Je vous ai dit ces choses pendant que je vivais encore avec vous.
26 Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
Mais le conseiller, l'Esprit Saint, que le Père enverra en mon nom, vous enseignera toutes choses et vous rappellera tout ce que je vous ai dit.
27 Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.
Je vous laisse la paix. C'est ma paix que je vous donne; ce n'est pas celle que donne le monde que je vous donne. Que votre cœur ne soit pas troublé et qu'il ne s'effraie pas.
28 “Mujjukire kye n’abagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange y’ansinga ekitiibwa.
Vous avez entendu comment je vous ai dit: « Je m'en vais, et je reviendrai vers vous ». Si vous m'aimiez, vous vous réjouiriez de ce que j'ai dit: « Je vais vers mon Père », car le Père est plus grand que moi.
29 Kaakano mbabuulidde ebintu bino nga tebinnabaawo, bwe birituukirira mulyoke munzikirize.
Or, je vous l'ai dit avant que cela n'arrive, afin que, quand cela arrivera, vous croyiez.
30 Sikyayogera bintu bingi nammwe, kubanga omufuzi omubi ow’ensi eno ajja. Naye Nze tanninaako buyinza.
Je ne parlerai plus beaucoup avec vous, car le prince du monde vient, et il n'a rien en moi.
31 Kyokka ensi eryoke emanye nti njagala Kitange, nzija kukola Kitange ky’andagidde. “Musituke tuve wano.”
Mais afin que le monde sache que j'aime le Père, et que je fais ce que le Père m'a commandé. Levez-vous, partons d'ici.