< Yokaana 13 >

1 Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.
Прежде же праздника Пасхи, ведый Иисус, яко прииде Ему час, да прейдет от мира сего ко Отцу, возлюбль Своя сущыя в мире, до конца возлюби их.
2 Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe.
И вечери бывшей, диаволу уже вложившу в сердце Иуде Симонову Искариотскому, да Его предаст,
3 Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda,
ведый Иисус, яко вся даде Ему Отец в руце, и яко от Бога изыде и к Богу грядет:
4 n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato,
воста от вечери и положи ризы, и приемь лентион, препоясася:
5 n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.
потом влия воду во умывалницу и начат умывати ноги учеником и отирати лентием, имже бе препоясан.
6 Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”
Прииде же к Симону Петру, и глагола Ему той: Господи, Ты ли мои умыеши нозе?
7 Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”
Отвеща Иисус и рече ему: еже Аз творю, ты не веси ныне, уразумееши же по сих.
8 Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.” (aiōn g165)
Глагола Ему Петр: не умыеши ногу моею во веки. Отвеща ему Иисус: аще не умыю тебе, не имаши части со Мною. (aiōn g165)
9 Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”
Глагола Ему Симон Петр: Господи, не нозе мои токмо, но и руце и главу.
10 Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.”
Глагола ему Иисус: измовенный не требует, токмо нозе умыти, есть бо весь чист: и вы чисти есте, но не вси.
11 Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”
Ведяше бо предающаго Его: сего ради рече, яко не вси чисти есте.
12 Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde?
Егда же умы ноги их, прият ризы Своя, возлег паки, рече им: весте ли, что сотворих вам?
13 Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi.
Вы глашаете Мя Учителя и Господа, и добре глаголете: есмь бо.
14 Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere.
Аще убо Аз умых ваши нозе, Господь и Учитель, и вы должни есте друг другу умывати нозе:
15 Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze.
образ бо дах вам, да, якоже Аз сотворих вам, и вы творите.
16 Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye.
Аминь, аминь глаголю вам: несть раб болий господа своего, ни посланник болий пославшаго его.
17 Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola.
Аще сия весте, блажени есте, аще творите я.
18 Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’
Не о всех вас глаголю: Аз (бо) вем, ихже избрах: но да Писание сбудется: ядый со Мною хлеб воздвиже на Мя пяту свою.
19 Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize.
Отселе глаголю вам, прежде даже не будет, да, егда будет, веру имете, яко Аз есмь.
20 Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma.”
Аминь, аминь глаголю вам: приемляй, аще кого послю, Мене приемлет: а приемляй Мене приемлет Пославшаго Мя.
21 Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
Сия рек Иисус возмутися духом и свидетелствова и рече: аминь, аминь глаголю вам, яко един от вас предаст Мя.
22 Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako.
Сзирахуся убо между собою ученицы, недоумеющеся, о ком глаголет.
23 Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu,
Бе же един от ученик Его возлежя на лоне Иисусове, егоже любляше Иисус:
24 Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, “Mutubuulize gw’ayogerako.”
поману же сему Симон Петр вопросити, кто бы был, о немже глаголет.
25 Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?”
Напад же той на перси Иисусовы, глагола Ему: Господи, кто есть?
26 Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni.
Отвеща Иисус: той есть, емуже Аз омочив хлеб подам. И омочь хлеб, даде Иуде Симонову Искариотскому.
27 Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu. Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!”
И по хлебе тогда вниде в онь сатана. Глагола убо ему Иисус: еже твориши, сотвори скоро.
28 Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo.
Сего же никтоже разуме от возлежащих, к чесому рече ему.
29 Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu.
Нецыи же мняху, понеже ковчежец имяше Иуда, яко глаголет ему Иисус: купи, еже требуем на праздник: или нищым да нечто даст.
30 Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.
Приим же он хлеб, абие изыде: бе же нощь. Егда изыде,
31 Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye.
глагола Иисус: ныне прославися Сын Человеческий, и Бог прославися о Нем:
32 Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.
аще Бог прославися о Нем, и Бог прославит Его в Себе, и абие прославит Его.
33 “Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
Чадца, еще с вами мало есмь: взыщете Мене, и якоже рех Иудеом, яко аможе Аз иду, вы не можете приити: и вам глаголю ныне.
34 “Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala.
Заповедь новую даю вам, да любите друг друга: якоже возлюбих вы, да и вы любите себе:
35 Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
о сем разумеют вси, яко Мои ученицы есте, аще любовь имате между собою.
36 Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?” Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”
Глагола Ему Симон Петр: Господи, камо идеши? Отвеща ему Иисус: аможе (Аз) иду, не можеши ныне по Мне ити: последи же по Мне идеши.
37 Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”
Глагола Ему Петр: Господи, почто не могу ныне по Тебе ити? (ныне) душу мою за Тя положу.
38 Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
Отвеща ему Иисус: душу ли твою за Мя положиши? Аминь, аминь глаголю тебе: не возгласит алектор, дондеже отвержешися Мене трищи.

< Yokaana 13 >