< Yokaana 10 >

1 “Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.
Verily, verily, I say unto you, He that entereth not by the door into the sheepfold, but climbeth up some other way, the same is a thief and a robber.
2 Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga.
But he that entereth in by the door is the shepherd of the sheep.
3 Era oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru.
To him the porter openeth; and the sheep hear his voice: and he calleth his own sheep by name, and leadeth them out.
4 Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye.
And when he putteth forth his own sheep, he goeth before them, and the sheep follow him: for they know his voice.
5 Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.”
And a stranger will they not follow, but will flee from him: for they know not the voice of strangers.
6 Yesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.
This parable spake Jesus unto them: but they understood not what things they were which he spake unto them.
7 Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga.
Then said Jesus unto them again, Verily, verily, I say unto you, I am the door of the sheep.
8 Abalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza.
All that ever came before me are thieves and robbers: but the sheep did not hear them.
9 Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro.
I am the door: by me if any man enter in, he shall be saved, and shall go in and out, and find pasture.
10 Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.
The thief cometh not, but for to steal, and to kill, and to destroy: I am come that they might have life, and that they might have [it] more abundantly.
11 “Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga.
I am the good shepherd: the good shepherd giveth his life for the sheep.
12 Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya.
But he that is an hireling, and not the shepherd, whose own the sheep are not, seeth the wolf coming, and leaveth the sheep, and fleeth: and the wolf catcheth them, and scattereth the sheep.
13 Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.
The hireling fleeth, because he is an hireling, and careth not for the sheep.
14 “Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi.
I am the good shepherd, and know my [sheep], and am known of mine.
15 Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga.
As the Father knoweth me, even so know I the Father: and I lay down my life for the sheep.
16 Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu.
And other sheep I have, which are not of this fold: them also I must bring, and they shall hear my voice; and there shall be one fold, [and] one shepherd.
17 Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize.
Therefore doth my Father love me, because I lay down my life, that I might take it again.
18 Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
No man taketh it from me, but I lay it down of myself. I have power to lay it down, and I have power to take it again. This commandment have I received of my Father.
19 Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto.
There was a division therefore again among the Jews for these sayings.
20 Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
And many of them said, He hath a devil, and is mad; why hear ye him?
21 Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
Others said, These are not the words of him that hath a devil. Can a devil open the eyes of the blind?
22 Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti.
And it was at Jerusalem the feast of the dedication, and it was winter.
23 Yesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani.
And Jesus walked in the temple in Solomon’s porch.
24 Awo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti, “Olituusa ddi okutubuusisabuusisa? Obanga ggwe Kristo kale tubuulirire ddala.”
Then came the Jews round about him, and said unto him, How long dost thou make us to doubt? If thou be the Christ, tell us plainly.
25 Yesu n’addamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gy’emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange.
Jesus answered them, I told you, and ye believed not: the works that I do in my Father’s name, they bear witness of me.
26 Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange.
But ye believe not, because ye are not of my sheep, as I said unto you.
27 Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.
My sheep hear my voice, and I know them, and they follow me:
28 Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, (aiōn g165, aiōnios g166)
And I give unto them eternal life; and they shall never perish, neither shall any [man] pluck them out of my hand. (aiōn g165, aiōnios g166)
29 kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange.
My Father, which gave [them] me, is greater than all; and no [man] is able to pluck [them] out of my Father’s hand.
30 Nze ne Kitange tuli omu.”
I and [my] Father are one.
31 Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba.
Then the Jews took up stones again to stone him.
32 Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
Jesus answered them, Many good works have I shewed you from my Father; for which of those works do ye stone me?
33 Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”
The Jews answered him, saying, For a good work we stone thee not; but for blasphemy; and because that thou, being a man, makest thyself God.
34 Yesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti, Katonda yagamba nti, ‘Muli bakatonda’?
Jesus answered them, Is it not written in your law, I said, Ye are gods?
35 Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ng’Ebyawandiikibwa tebidiba,
If he called them gods, unto whom the word of God came, and the scripture cannot be broken;
36 ate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda?
Say ye of him, whom the Father hath sanctified, and sent into the world, Thou blasphemest; because I said, I am the Son of God?
37 Obanga sikola ebyo Kitange by’ayagala nkole, kale temunzikiriza;
If I do not the works of my Father, believe me not.
38 naye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.”
But if I do, though ye believe not me, believe the works: that ye may know, and believe, that the Father [is] in me, and I in him.
39 Awo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.
Therefore they sought again to take him: but he escaped out of their hand,
40 N’addayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, n’abeera eyo.
And went away again beyond Jordan into the place where John at first baptized; and there he abode.
41 Abantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.”
And many resorted unto him, and said, John did no miracle: but all things that John spake of this man were true.
42 Bangi ne bamukkiririza eyo.
And many believed on him there.

< Yokaana 10 >