< Yoweeri 1 >
1 Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.
2 Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri, buli ali mu nsi naye awulirize. Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe, oba mu biseera bya bakitammwe?
3 Mukibuulire abaana bammwe, nabo balikibuulira abaana baabwe, nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.
4 Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde, enzige eziddirira zibirumbye, ate ezo bye zireseewo, enzige ento bye ziridde, ate zino bye zireseewo, enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!
5 Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga; mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge, mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe katuuse okwerabira omwenge omusu.
6 Eggwanga lirumbye ensi yange, ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika. Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma, n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
7 Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange, ne limalawo emitiini gyange. Lisusumbudde ebikuta byagyo, byonna biri ku ttaka, amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.
8 Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba, ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
9 Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama. Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda bakungubaga.
10 Ennimiro ziweddemu ebirime; ettaka likaze, Emmere ey’empeke eweddewo, omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.
11 Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa, mmwe abalima emizabbibu mukaabe. Mukaabire eŋŋaano ne sayiri, kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 Omuzabbibu gukaze n’omutiini guyongobedde. Omukomamawanga, n’olukindu ne apo n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose. Abantu tebakyalina ssanyu.
13 Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage. Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto, mweyale wansi awali ekyoto, musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe, kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna, eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
14 Mulangirire okusiiba okutukuvu n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda. Muyite abakulu abakulembeze n’abantu bonna ababeera mu nsi, bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe bamukaabirire.
15 Zitusanze olw’olunaku luli! Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde. Lulijja, ng’okuzikiriza okuva eri Ayinzabyonna.
16 Emmere tetuweddeeko nga tulaba? Essanyu n’okujaguza mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
17 Ensigo ziwotokedde mu ttaka, amawanika makalu n’ebyagi by’emmere bikaze, kubanga emmere ey’empeke eweddewo.
18 Ensolo nga zisinda! Amagana gabuliddwa amagezi; kubanga tewali muddo, n’endiga nazo zidooba.
19 Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira, kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira, n’emiti gyonna egy’omu nnimiro nagyo giyidde.
20 Ensolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba, emigga gikalidde, ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.