< Yoweeri 3 >
1 “Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo, Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.
2 Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati, ne mbasalira omusango olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange. Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga, ne bagabana ensi yange.
3 Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu; ne batunda abalenzi olw’abakazi bamalaaya, n’abawala ne babatundamu omwenge ne beenywera.
4 “Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago.
5 Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe.
6 Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.
7 “Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola.
8 Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.
9 Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti, Mwetegekere olutalo! Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi, buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
10 Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala, n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu; omunafu agambe nti, “Ndi wa maanyi.”
11 Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde, mukuŋŋaanire mu kiwonvu. Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.
12 “Amawanga geeteeketeeke gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati; kubanga eyo gye ndisinzira ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.
13 Kozesa oluwabyo lwo, kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse. Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero okutuusa envinnyo lw’ekulukuta, ekibi kyabwe kinene nnyo.”
14 Abantu bukadde na bukadde abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango! Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
15 Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi, n’emmunyeenye tezikyayaka.
16 Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni; alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi. Eggulu n’ensi birikankana. Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be, era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
17 “Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe, abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni. Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu, nga ne bannamawanga tebakyakirumba.
18 “Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya, n’obusozi bulikulukusa amata, n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi. Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
19 Misiri erifuuka amatongo n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda, ensi mwe battira abantu abatalina musango.
20 Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna, ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.
21 Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa, era teriba mutemu asonyiyibwa.