< Yoweeri 2 >
1 Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni. N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu. Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa, kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde, era lunaatera okutuuka.
Blow the trumpet in Zion, and sound an alarm in my holy mountain! Let all the inhabitants of the land tremble, for the day of the LORD comes, for it is close at hand:
2 Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza; olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte. Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo, ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi. Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda, era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.
A day of darkness and gloominess, a day of clouds and thick darkness. As the dawn spreading on the mountains, a great and strong people; there has never been the like, neither will there be any more after them, even to the years of many generations.
3 Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu, n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro. Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni, naye gye ziva buli kimu zikiridde; ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
A fire devours before them, and behind them, a flame burns. The land is as the garden of Eden before them, and behind them, a desolate wilderness. Yes, and no one has escaped them.
4 Zifaanana ng’embalaasi, era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
Their appearance is as the appearance of horses, and they run as horsemen.
5 Zigenda zibuuka ku nsozi nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera; ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.
Like the noise of chariots on the tops of the mountains, they leap, like the noise of a flame of fire that devours the stubble, like a strong people set in battle array.
6 Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi, era bonna beeraliikirivu.
At their presence the peoples are in anguish. All faces have grown pale.
7 Zirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi, ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi. Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi awatali kuwaba n’akamu.
They run like mighty men. They climb the wall like warriors. They each march in his line, and they do not swerve off course.
8 Tezirinnyaganako, buli emu ekumbira mu kkubo lyayo. Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna, ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
One does not jostle another. They each march in their own path. They burst through the defenses and do not break ranks.
9 Zifubutuka ne zigwira ekibuga. Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo. Zirinnya amayumba ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.
They rush on the city. They run on the wall. They climb up into the houses. They enter in at the windows like thieves.
10 Zikankanya ensi era n’eggulu ne lijugumira. Zibuutikira enjuba n’omwezi, era n’emmunyeenye tezikyayaka.
The earth quakes before them. The heavens tremble. The sun and the moon are darkened, and the stars withdraw their shining.
11 Mukama akulembera eggye lye n’eddoboozi eribwatuuka. Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi. Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi. Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu era lwa ntiisa nnyo. Ani ayinza okulugumira?
The LORD thunders his voice before his army, for his forces are very great; for he is strong who obeys his command; for the day of the LORD is great and very awesome, and who can endure it?
12 Mukama kyava agamba nti, “Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna. Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”
“Yet even now,” says the LORD, “turn to me with all your heart, and with fasting, and with weeping, and with mourning.”
13 Muyuze emitima gyammwe so si byambalo byammwe. Mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira, era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo; n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
Tear your heart and not your garments, and turn to the LORD, your God; for he is gracious and merciful, slow to anger, and abundant in loving kindness, and relents from sending calamity.
14 Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa, n’abawa omukisa gwe ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
Who knows? He may turn and relent, and leave a blessing behind him, even a meal offering and a drink offering to the LORD, your God.
15 Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mulangirire okusiiba okutukuvu. Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
Blow the trumpet in Zion! Sanctify a fast. Call a solemn assembly.
16 Mukuŋŋaanye abantu bonna. Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye. Muyite abakulu abakulembeze. Muleete abaana abato n’abo abakyali ku mabeere. N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye, n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
Gather the people. Sanctify the assembly. Assemble the elders. Gather the children, and those who nurse from breasts. Let the bridegroom go out of his room, and the bride out of her chamber.
17 Bakabona abaweereza ba Mukama bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto, bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama; abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga era n’okubasekerera. Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’”
Let the priests, the ministers of the LORD, weep between the porch and the altar, and let them say, “Spare your people, LORD, and do not give your heritage to reproach, that the nations should rule over them. Why should they say among the peoples, ‘Where is their God?’”
18 Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa, n’asaasira abantu be.
Then the LORD was jealous for his land, and had pity on his people.
19 N’ayanukula abantu be nti, “Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta, ebimala okubakkusiza ddala, era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume, bannaggwanga amalala ne babasekerera.
The LORD answered his people, “Behold, I will send you grain, new wine, and oil, and you will be satisfied with them; and I will no more make you a reproach among the nations.
20 “Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo. Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba, n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba. Ekivundu n’okuwunya birituuka wala okusinga ebyo byonna bye libakoze.”
But I will remove the northern army far away from you, and will drive it into a barren and desolate land, its front into the eastern sea, and its back into the western sea; and its stench will come up, and its bad smell will rise.” Surely he has done great things.
21 Mwe abali mu nsi, temutya. Musanyuke era mujaguze; kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
Land, do not be afraid. Be glad and rejoice, for the LORD has done great things.
22 Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya; kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde. Emiti gibaze ebibala byagyo, era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
Do not be afraid, you animals of the field; for the pastures of the wilderness spring up, for the tree bears its fruit. The fig tree and the vine yield their strength.
23 Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni; mujagulize Mukama Katonda wammwe. Kubanga abawadde enkuba esooka mu butuukirivu. Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo mu mwaka ng’obw’edda.
“Be glad then, you children of Zion, and rejoice in the LORD, your God; for he gives you the early rain in just measure, and he causes the rain to come down for you, the early rain and the latter rain, as before.
24 Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano, n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.
The threshing floors will be full of wheat, and the vats will overflow with new wine and oil.
25 “Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo. Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera, n’enzige ezisala obusazi, awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
I will restore to you the years that the swarming locust has eaten, the great locust, the grasshopper, and the caterpillar, my great army, which I sent among you.
26 Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga. Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo. Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
You will have plenty to eat and be satisfied, and will praise the name of the LORD, your God, who has dealt wondrously with you; and my people will never again be disappointed.
27 Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri, era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe, so tewali mulala; n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
You will know that I am among Israel, and that I am the LORD, your God, and there is no one else; and my people will never again be disappointed.
28 “Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso; abakadde baliroota ebirooto, n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
“It will happen afterward, that I will pour out my Spirit on all flesh; and your sons and your daughters will prophesy. Your old men will dream dreams. Your young men will see visions.
29 Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
And also on the servants and on the handmaids in those days, I will pour out my Spirit.
30 Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu ne ku nsi: omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
I will show wonders in the heavens and in the earth: blood, fire, and pillars of smoke.
31 Enjuba erifuuka ekizikiza, n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
The sun will be turned into darkness, and the moon into blood, before the great and terrible day of the LORD comes.
32 Awo olulituuka buli alikoowoola erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka. Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abaliwona nga Mukama bw’ayogedde, ne mu abo abalifikkawo mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”
It will happen that whoever will call on the LORD’s name shall be saved; for in Mount Zion and in Jerusalem there will be those who escape, as the LORD has said, and among the remnant, those whom the LORD calls.