< Yobu 9 >

1 Yobu n’alyoka addamu nti,
ויען איוב ויאמר׃
2 “Ddala nkimanyi nga kino kituufu. Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
אמנם ידעתי כי כן ומה יצדק אנוש עם אל׃
3 Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye, tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
אם יחפץ לריב עמו לא יעננו אחת מני אלף׃
4 Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo; ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
חכם לבב ואמיץ כח מי הקשה אליו וישלם׃
5 Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde era n’azivuunika ng’asunguwadde.
המעתיק הרים ולא ידעו אשר הפכם באפו׃
6 Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo era n’akankanya empagi zaayo.
המרגיז ארץ ממקומה ועמודיה יתפלצון׃
7 Ayogera eri enjuba ne teyaka, akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
האמר לחרס ולא יזרח ובעד כוכבים יחתם׃
8 Ye yekka abamba eggulu era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
נטה שמים לבדו ודורך על במתי ים׃
9 Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga, n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
עשה עש כסיל וכימה וחדרי תמן׃
10 Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola, n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
עשה גדלות עד אין חקר ונפלאות עד אין מספר׃
11 Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba, bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
הן יעבר עלי ולא אראה ויחלף ולא אבין לו׃
12 Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza? Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
הן יחתף מי ישיבנו מי יאמר אליו מה תעשה׃
13 Katonda taziyiza busungu bwe; n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
אלוה לא ישיב אפו תחתו שחחו עזרי רהב׃
14 Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye? Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
אף כי אנכי אעננו אבחרה דברי עמו׃
15 Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu, mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
אשר אם צדקתי לא אענה למשפטי אתחנן׃
16 Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba, sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
אם קראתי ויענני לא אאמין כי יאזין קולי׃
17 Yandimenyeemenye mu muyaga nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
אשר בשערה ישופני והרבה פצעי חנם׃
18 Teyandindese kuddamu mukka naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
לא יתנני השב רוחי כי ישבעני ממררים׃
19 Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi. Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
אם לכח אמיץ הנה ואם למשפט מי יועידני׃
20 Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde. Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.
אם אצדק פי ירשיעני תם אני ויעקשני׃
21 “Wadde nga sirina kyakunenyezebwa, sikyefaako, obulamu bwange mbunyooma.
תם אני לא אדע נפשי אמאס חיי׃
22 Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti, Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
אחת היא על כן אמרתי תם ורשע הוא מכלה׃
23 Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo, Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
אם שוט ימית פתאם למסת נקים ילעג׃
24 Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi. Abikka ku maaso g’abagiramula. Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
ארץ נתנה ביד רשע פני שפטיה יכסה אם לא אפוא מי הוא׃
25 Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi, zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
וימי קלו מני רץ ברחו לא ראו טובה׃
26 Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo agadduka ennyo, ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
חלפו עם אניות אבה כנשר יטוש עלי אכל׃
27 Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange, oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
אם אמרי אשכחה שיחי אעזבה פני ואבליגה׃
28 ne neekokkola okubonaabona kwange, mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
יגרתי כל עצבתי ידעתי כי לא תנקני׃
29 Omusango gunsinze, lwaki nteganira obwereere?
אנכי ארשע למה זה הבל איגע׃
30 Ne bwe nandinaabye sabbuuni n’engalo zange ne nzitukuza,
אם התרחצתי במו שלג והזכותי בבר כפי׃
31 era wandinsudde mu kinnya, n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
אז בשחת תטבלני ותעבוני שלמותי׃
32 Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu, era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
כי לא איש כמני אעננו נבוא יחדו במשפט׃
33 Tewali mutabaganya ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
לא יש בינינו מוכיח ישת ידו על שנינו׃
34 eyandizigyeko omuggo gwa Katonda entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
יסר מעלי שבטו ואמתו אל תבעתני׃
35 Olwo nno nandyogedde nga simutya; naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”
אדברה ולא איראנו כי לא כן אנכי עמדי׃

< Yobu 9 >