< Yobu 8 >

1 Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti,
וַיַּעַן בִּלְדַּד הַשּׁוּחִי וַיֹּאמַֽר׃
2 “Onookoma ddi okwogera ebintu bino? Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?
עַד־אָן תְּמַלֶּל־אֵלֶּה וְרוּחַ כַּבִּיר אִמְרֵי־פִֽיךָ׃
3 Katonda akyusakyusa mu nsala ye? Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?
הַאֵל יְעַוֵּת מִשְׁפָּט וְאִם־שַׁדַּי יְעַוֵּת־צֶֽדֶק׃
4 Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama, n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.
אִם־בָּנֶיךָ חָֽטְאוּ־לוֹ וַֽיְשַׁלְּחֵם בְּיַד־פִּשְׁעָֽם׃
5 Kyokka bw’onoonoonya Katonda, ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,
אִם־אַתָּה תְּשַׁחֵר אֶל־אֵל וְאֶל־שַׁדַּי תִּתְחַנָּֽן׃
6 bw’onooba omulongoofu era ow’amazima, ddala ddala anaakuddiramu n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.
אִם־זַךְ וְיָשָׁר אָתָּה כִּֽי־עַתָּה יָעִיר עָלֶיךָ וְשִׁלַּם נְוַת צִדְקֶֽךָ׃
7 Wadde ng’entandikwa yo yali ntono, embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.
וְהָיָה רֵאשִׁיתְךָ מִצְעָר וְאַחֲרִֽיתְךָ יִשְׂגֶּה מְאֹֽד׃
8 Buuza ku mirembe egy’edda, era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;
כִּֽי־שְׁאַל־נָא לְדֹר רִישׁוֹן וְכוֹנֵן לְחֵקֶר אֲבוֹתָֽם׃
9 kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi, era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.
כִּֽי־תְמוֹל אֲנַחְנוּ וְלֹא נֵדָע כִּי צֵל יָמֵינוּ עֲלֵי־אָֽרֶץ׃
10 Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe oba by’okutegeera kwabwe?
הֲלֹא־הֵם יוֹרוּךָ יֹאמְרוּ לָךְ וּמִלִּבָּם יוֹצִאוּ מִלִּֽים׃
11 Ebitoogo biyinza okumera awatali bitosi?
הֲיִֽגְאֶה־גֹּמֶא בְּלֹא בִצָּה יִשְׂגֶּה־אָחוּ בְלִי־מָֽיִם׃
12 Biba bikyakula nga tebinnasalibwa, bikala mangu okusinga omuddo.
עֹדֶנּוּ בְאִבּוֹ לֹא יִקָּטֵף וְלִפְנֵי כׇל־חָצִיר יִיבָֽשׁ׃
13 Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda, essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula.
כֵּן אׇרְחוֹת כׇּל־שֹׁכְחֵי אֵל וְתִקְוַת חָנֵף תֹּאבֵֽד׃
14 Ebyo bye yeesiga byatika mangu, ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!
אֲשֶׁר־יָקוֹט כִּסְלוֹ וּבֵית עַכָּבִישׁ מִבְטַחֽוֹ׃
15 Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.
יִשָּׁעֵן עַל־בֵּיתוֹ וְלֹא יַעֲמֹד יַחֲזִיק בּוֹ וְלֹא יָקֽוּם׃
16 Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana, nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;
רָטֹב הוּא לִפְנֵי־שָׁמֶשׁ וְעַל גַּנָּתוֹ יֹנַקְתּוֹ תֵצֵֽא׃
17 emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja, nga ginoonya ekifo mu mayinja.
עַל־גַּל שׇׁרָשָׁיו יְסֻבָּכוּ בֵּית אֲבָנִים יֶחֱזֶֽה׃
18 Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo, ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.
אִם־יְבַלְּעֶנּוּ מִמְּקֹמוֹ וְכִחֶשׁ בּוֹ לֹא רְאִיתִֽיךָ׃
19 Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo, ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.
הֶן־הוּא מְשׂוֹשׂ דַּרְכּוֹ וּמֵעָפָר אַחֵר יִצְמָֽחוּ׃
20 Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango, era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.
הֶן־אֵל לֹא יִמְאַס־תָּם וְלֹֽא־יַחֲזִיק בְּיַד־מְרֵעִֽים׃
21 Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko, n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.
עַד־יְמַלֵּה שְׂחוֹק פִּיךָ וּשְׂפָתֶיךָ תְרוּעָֽה׃
22 Abalabe bo balijjula obuswavu, era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”
שֹׂנְאֶיךָ יִלְבְּשׁוּ־בֹשֶׁת וְאֹהֶל רְשָׁעִים אֵינֶֽנּוּ׃

< Yobu 8 >