< Yobu 6 >

1 Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,
ויען איוב ויאמר׃
2 “Singa okweraliikirira kwange, n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
לו שקול ישקל כעשי והיתי במאזנים ישאו יחד׃
3 Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa; ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
כי עתה מחול ימים יכבד על כן דברי לעו׃
4 Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo: entiisa ya Katonda erwana nange.
כי חצי שדי עמדי אשר חמתם שתה רוחי בעותי אלוה יערכוני׃
5 Entulege ekaaba awali omuddo, oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
הינהק פרא עלי דשא אם יגעה שור על בלילו׃
6 Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo, oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
היאכל תפל מבלי מלח אם יש טעם בריר חלמות׃
7 Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako, biri ng’emmere etangasa.
מאנה לנגוע נפשי המה כדוי לחמי׃
8 “Singa Katonda ampa kye nsaba, n’ampa kye nsuubira,
מי יתן תבוא שאלתי ותקותי יתן אלוה׃
9 yandisiimye okumbetenta ne mmalibwawo omukono gwe.
ויאל אלוה וידכאני יתר ידו ויבצעני׃
10 Kino kyandikkakkanyizza obulumi obutakoma kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
ותהי עוד נחמתי ואסלדה בחילה לא יחמול כי לא כחדתי אמרי קדוש׃
11 Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi? Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
מה כחי כי איחל ומה קצי כי אאריך נפשי׃
12 Amaanyi gange ga mayinja oba omubiri gwange gwa kikomo?
אם כח אבנים כחי אם בשרי נחוש׃
13 Mu mazima sirina maanyi n’obusobozi bwanzigwako.
האם אין עזרתי בי ותשיה נדחה ממני׃
14 Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe tafaayo kutya Ayinzabyonna.
למס מרעהו חסד ויראת שדי יעזוב׃
15 Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga ate ne kakalira,
אחי בגדו כמו נחל כאפיק נחלים יעברו׃
16 akaddugalirira buli lwe kakwata, ng’omuzira,
הקדרים מני קרח עלימו יתעלם שלג׃
17 ate ne kaggwaawo buli lwe wabaawo ebbugumu.
בעת יזרבו נצמתו בחמו נדעכו ממקומם׃
18 Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
ילפתו ארחות דרכם יעלו בתהו ויאבדו׃
19 Abatambuze b’e Teema banoonya, bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
הביטו ארחות תמא הליכת שבא קוו למו׃
20 Baalina essuubi naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
בשו כי בטח באו עדיה ויחפרו׃
21 Kaakano bwe mundabye ne mutya ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
כי עתה הייתם לא תראו חתת ותיראו׃
22 Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’ oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
הכי אמרתי הבו לי ומכחכם שחדו בעדי׃
23 okumponya nve mu mukono gw’omulabe, n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’?
ומלטוני מיד צר ומיד עריצים תפדוני׃
24 “Njigiriza nange n’aba musirise; ndaga we nsobezza.
הורוני ואני אחריש ומה שגיתי הבינו לי׃
25 Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi! Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
מה נמרצו אמרי ישר ומה יוכיח הוכח מכם׃
26 Mugezaako okugolola ebigambo byange, ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
הלהוכח מלים תחשבו ולרוח אמרי נאש׃
27 Mukubira ne bamulekwa akalulu ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.
אף על יתום תפילו ותכרו על ריעכם׃
28 “Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire. Ndabika ng’omulimba?
ועתה הואילו פנו בי ועל פניכם אם אכזב׃
29 Mufumiitirize, temusuula bwenkanya; Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe.
שבו נא אל תהי עולה ושבי עוד צדקי בה׃
30 Emimwa gyange girabika ng’egirimba? Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”
היש בלשוני עולה אם חכי לא יבין הוות׃

< Yobu 6 >