9Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu.
11Awo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja n’abo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, n’empeta ya zaabu.
12Awo Mukama n’awa Yobu omukisa mu nnaku ze ezaasembayo n’okusinga entandikwa ye bwe yali: yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n’eŋŋamira kakaaga, ne ziseddume z’ente lukumi, n’endogoyi enkazi lukumi.