< Yobu 41 >

1 “Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo, oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?
תמשך לויתן בחכה ובחבל תשקיע לשנו
2 Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo, oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo?
התשים אגמן באפו ובחוח תקב לחיו
3 Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa? Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu?
הירבה אליך תחנונים אם-ידבר אליך רכות
4 Eneekola naawe endagaano ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna?
היכרת ברית עמך תקחנו לעבד עולם
5 Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi, oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo?
התשחק-בו כצפור ותקשרנו לנערותיך
6 Abasuubuzi banaagiramuza, oba banaagibala ng’ekyamaguzi?
יכרו עליו חברים יחצוהו בין כנענים
7 Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo, oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja?
התמלא בשכות עורו ובצלצל דגים ראשו
8 Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira, toliddayo kukikola!
שים-עליו כפך זכר מלחמה אל-תוסף
9 Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu, okugirabako obulabi kimalamu amaanyi.
הן-תחלתו נכזבה הגם אל-מראיו יטל
10 Teri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga. Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange?
לא-אכזר כי יעורנו ומי הוא לפני יתיצב
11 Ani alina kye yali ampoze musasule? Byonna ebiri wansi w’eggulu byange.
מי הקדימני ואשלם תחת כל-השמים לי-הוא
12 “Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike, amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo.
לא- (לו-) אחריש בדיו ודבר-גבורות וחין ערכו
13 Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu? Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri?
מי-גלה פני לבושו בכפל רסנו מי יבוא
14 Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo? Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa.
דלתי פניו מי פתח סביבות שניו אימה
15 Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo ezisibiddwa okumukumu.
גאוה אפיקי מגנים סגור חותם צר
16 Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita.
אחד באחד יגשו ורוח לא-יבא ביניהם
17 Zakwatagana, ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa.
איש-באחיהו ידבקו יתלכדו ולא יתפרדו
18 Bw’eyasimula, ebimyanso bijja, n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa.
עטישתיו תהל אור ועיניו כעפעפי-שחר
19 Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka. Kavaamu ensasi ez’omuliro.
מפיו לפידים יהלכו כידודי אש יתמלטו
20 Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka.
מנחיריו יצא עשן-- כדוד נפוח ואגמן
21 Omukka oguva mu nnyindo zaayo gukoleeza Amanda.
נפשו גחלים תלהט ולהב מפיו יצא
22 Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi, n’entiisa eri mu maaso gaayo.
בצוארו ילין עז ולפניו תדוץ דאבה
23 Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse; gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya.
מפלי בשרו דבקו יצוק עליו בל-ימוט
24 Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi, kigumu ng’olubengo.
לבו יצוק כמו-אבן ויצוק כפלח תחתית
25 Bwesituka ab’amaanyi batya. Badduka olw’okubwatuka kwayo.
משתו יגורו אלים משברים יתחטאו
26 Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako, oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu.
משיגהו חרב בלי תקום חנית מסע ושריה
27 Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro, ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu.
יחשב לתבן ברזל לעץ רקבון נחושה
28 Akasaale tekayinza kugiddusa, amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri.
לא-יבריחנו בן-קשת לקש נהפכו-לו אבני-קלע
29 Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri. Esekerera amafumu agakasukibwa.
כקש נחשבו תותח וישחק לרעש כידון
30 Amagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa. Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula.
תחתיו חדודי חרש ירפד חרוץ עלי-טיט
31 Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera. Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa.
ירתיח כסיר מצולה ים ישים כמרקחה
32 Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru; ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi.
אחריו יאיר נתיב יחשב תהום לשיבה
33 Tewali kigyenkana ku nsi; ekitonde ekitatya.
אין-על-עפר משלו העשו לבלי-חת
34 Enyooma buli kisolo. Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.”
את-כל-גבה יראה הוא מלך על-כל-בני-שחץ

< Yobu 41 >