< Yobu 40 >
1 Awo Mukama n’agamba Yobu nti,
2 “Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna? Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”
3 Awo Yobu n’addamu Mukama nti,
4 “Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu? Emimwa kangibikkeko n’engalo.
5 Njogedde omulundi gumu, so siddemu; weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”
6 Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,
7 “Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja. Ka nkubuuze, naawe onziremu.
8 “Onojjulula ensala yange ey’emisango; ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?
9 Olina omukono ng’ogwa Katonda, eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
10 Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume.
11 Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo otunuulire buli wa malala omusse wansi.
12 Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
13 Bonna baziikire wamu mu nfuufu, emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.
14 Nange kennyini ndyoke nzikirize, ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”
15 “Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu kye natonda nga ggwe, erya omuddo ng’ente,
16 nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo.
17 Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo.
18 Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo; amagulu n’emikono ng’emitayimbwa.
19 Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka, ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye.
20 Weewaawo ensozi zikireetera emmere, eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira.
21 Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka, ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi.
22 Ebisiikirize by’emiti bikibikkako, emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako.
23 Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga; kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga.
24 Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata, oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?”